Vanessa Erogbogbo, omuwandiisi w’ebitabo

Bisangiddwa ku Wikipedia

Vanessa Erogbogbo Munnayuganda eyakuguka mu by'enkulaakulana by'ebitongole by'obwannanyini era nga essira asinga kulissa ku kukuuma byabusuubuzi. ye mukulu weekikonge kya Green and Inclusive Value Chains Section ku Kitongole Ky'ensi yonna ekya International Trade Centre (ITC).[1]

Obuto bwe n'okusoma kwe[kyusa | edit source]

Vanessa Erogbogbo yazaalibwa mu Kampala esangibwa mu Uganda era abadde mu mawanga agenjawulo. Alina obutuuze bwa mirundi ebiri omuli obwa Uganda n'obwa Bungereza. Erogbogbo yafuna Diguli Ey'okubiri Mu By'enfuna nga yagifunira mu London Business School, nedala mu By'empuliziganya Ne Tekinilogiya nga eno yagifunira mu Loughborough University, ne Diguli Esooka mu bya Inginiya mu Bwa Yinginiya W'obuzimbi era neeno yagiggya mu Loughborough University.

Emirimu gye[kyusa | edit source]

Nga tannafuna kifo ekiddukanya e By'enfuna By'ensi Yonna, nga eno akoleddeyo okuva mu mwaka gwa 2011, yali akolera mu kitongole Ky'ebyensimbi Eky'ensi Yonna, mu bbanka ya Standard Chartered Bank, era nga Omuyiiya Mu byensimbi .Kaakati abeera mu Kibuga kya Geneva, ekiri mu Switzerland nga Ekitongole gyekirina Ettabi ekkulu.[2]

Abakyala n,okukola[kyusa | edit source]

Frank Matsaert, Vanessa Erogbogbo ne Minisita Amelia Kyambadde ku lukungaana olwali ku Biyamba okutambuza Eby'obusuubuzi Mu nsi Yonna mu 2017

Ekitongole kino kirina ekiruubirirwa eky'okuteekawo obumu n'okukuuma eby'enkulaakulana nga bayita mu By'obusuubuzi, era nookuteeka ettaffaali mu kutuukiriza Ebigendererwa By'ekibiina Ky'amawanga Gonna eby'okukuuma eby'enkulaakulana.[3][4] Erogbogbo ye Mukulu wa nga Green and Inclusive Value Chains nga kino kitundu kya Kitundu mu Kifo Ekiddukanya Eby'obusuubuzi mu nsi yonna, nga kino kitongole kya wamu Ekyekitongole Ky'ebyobusuubuzi Mu Nsi Yonna ne Ekibiina Ky'amawanga Gonna. Ekitundu ekyo kitumbula obumu n'okukuuma omuwendo mu bintu okuyambako mu okuteekawo okukulaakulana mu byenfuna nga yaakulwawo. [5][6] Essira lisinze kuteekebwa mu kukuuma obutonde bw'ensi n'enkyukakyuka mu mbeera y'obudde. [7] Erogbogbo yatandikawo ekitongole kya #shetrades, nga kino kiyambako okuwa abakyala amaanyi nga bayita mu by'obusuubuzi nga kino kyatongozebwa mu 2015.[6][8][5][3][9]

Okuwandiika kwe[kyusa | edit source]

Erogbogbo yayambako nga ali wamu ne Ester Eghobamien ne Elizabeth Pimentel, yayambako mu kuwandiika Akatabo akakwata mu Kikula Ky'abantu Okwenyigira mu kusiga ensimbi: Akatabo kaali koogera ku biziyiza Abakazi okutandika wo ebintu ebivaamu Ensimbi.[10] Omulimu guno gukwatagana bulungi #negyekibiina ky'abakyala eky'obusuubuzi Erogbogbo kyakulembera .[10][5] Nga ojjeeko kino,azza awandiika ebiwandiiko ebyenjawulo ku nsonga z'abakyala n'ebyobusuubuzi.[11]

Ebyamawulire n'enkungaana zaabaddemu[kyusa | edit source]

Erogbogbo yakulemberamu olukungaana lw'abakyala olwali ku TEDx mu Lausanne nga muno yayanjula engero ze zaalina eziraga obuwanguzi bwe naddala mu by'enfuna bye era naayogera ku byetaagisa okwongera abakyala amaanyi okukuza ebyenfuna mu biseera by'omu maaso mu kisaawe ky'ebyensimbi.[12]

Erogbogbo yeetabye mu nkungaana nnyingi ne bannamawulire nga muno mulimu, olwali ku mutimbagano gwa WTO ku bibanja kyabwe. Mu 2016, Erogbogbo yali omu ku boogezi abakulu nga bali wamu naaboogezi abalala omwali Katherine Hagen ne Caitlin Kraft-Buchman nga bali ku mulamwa ogugamba nti “Okuwa Abakyala amaanyi Mu By'enfuna N'ebyobusuubuzi: Nga kino kyayambako mu kwongera kwebyo ebyali byogeddwa Omuwandiisi W'ekibiina Ky'ensi Yonna ku kuwa abakyala amaanyi Mu By'enfuna" byonna nga biri ku Busuububuzi bwa bonna.[13] Bweyali ayogerako eri abantu ku nsonga ezikwata kwebyo ebiziyiza okukulaakulana n'omwenkanonkano mu kikula ky'abantu,nga ensonga enkulu mu by'obusubuzi, yannyonnyola nti tewali nsonga yonna egaana ku ludda olutunda eby'amaguzi oba okugonjoola okwangu ennyo wabula naategeeza nti ekintu ky'okuba nga ebitongole eby'awamu tebikyakulira ky'akugatta ebitongole by'obwanannyini mu by'abusuubuzi kikulu nnyo mu kuyamba abakyala okufuna obutale. Mu kwongerezaako, yategeeza nti abakyala basangiddwa balina amagezi g'okutandikawo emirimu naye ekizibu kirabika kiva ku kuba nga tebalina mikisa nga abasajja gyebalina oba nga tebalina bumanyirivu bubasobozesa okufuna emikisa gino. Erogbogbo awaagira eky'okukula kwa tekinologiya mu nkola z'abakyala okubasobozesa okufuna omukisa okufuna obutale nga tebafunye buzibu bungi.[13][6] Omwaka ogwaddako, Erogbogbo yakola nga omwogezi mu nkungaana Z'ekitongole Ky'ebyobusuubuzi Mu Nsi Yonna zaaaliwo mu 2017.[14]

Ebijuliziddwa[kyusa | edit source]

  1. https://www.graphic.com.gh/business/business-news/afcfta-must-offer-equal-opportunities-for-all-trade-expert.html
  2. {{cite web}}: Empty citation (help)
  3. 3.0 3.1 http://www.intracen.org/itc/about/
  4. http://www.intracen.org/news/US-Secretary-of-State-Hillary-Clinton-recognizes-ITC%E2%80%99s-work-with-women-entrepreneurs/
  5. 5.0 5.1 5.2 https://www.shetrades.com/en/about#commitment
  6. 6.0 6.1 6.2 https://doi.org/10.18356%2F3374e34b-en
  7. http://www.intracen.org/sectors/Inclusive-agribusiness-value-chains/
  8. http://www.intracen.org/news/UK-announces-7m-support-for-ITCs-SheTrades-Initiative/
  9. http://www.intracen.org/news/ITC-GroFin-issue-call-for-women-entrepreneurs-to-join-SheTrades-Invest/
  10. 10.0 10.1 https://en.wikipedia.org/wiki/ISBN_(identifier)
  11. (58). {{cite journal}}: Cite journal requires |journal= (help); Missing or empty |title= (help)
  12. https://www.youtube.com/watch?v=8IBfCK5xPAs
  13. 13.0 13.1 https://www.wto.org/english/forums_e/public_forum16_e/wrksesions_e/session38_e.htm
  14. https://www.wto.org/english/tratop_e/devel_e/a4t_e/gr17_e/gr17speakers_e.htm