Victoria Sekitoleko
Template:Infobox OfficeholderVictoria Sekitoleko Yali Minisita w'Ebyobulimi mu Gavumenti ya Uganda,[1] yabeera mu kifo kino okuva mu 1986 okutuuka mu 1995.[2] Yaliko akiikirira ekitongole ky'emmere n'ebyobulimi eky'ensi yonna mu mawanga nga China, Mongolia, n'e South Korea (okuva mu Gwekkumi 2006 – Gwokuna 2011)[3] Era yakolako ng'akiikirira ekitongole ky'amawanga amagatte mu ekitongole ky'ebyemmere n'ebyobulimi eri Omukago gw'amawanga ga Afrika ekya African Union (AU) mu Ethiopia. Yakoalako ne mu kitongole kya Economic Community for Africa (ECA) (2005–2006). Ye yali akiikirira FAO mu bitundu by'Obuvanjuba n'Amaserengeta ga Afrika ng'abeera mu kibuga Harare ekya Zimbabwe.(1995–2004).[4] Gye buvuddeko yalondebwa ng'omu ku batuula ku bboodi ya kkampuni erunda enkoko ku mutindo ogw'ensi yonna eya Biyinzika Poultry International Limited (BPIL) mu Gwomukaaga, 2017.
Sekitoleko yasomera mu Makerere University mu Kampala, gye yasomera Ddiguli mu Byobulimi eya BSc in Agriculture majoring in Farm Management and Extension (1970–1973).[5] Mu 1983, yasomayo satifikeeti endala mu byobulimi ng'eri ku kuzuula n'okuddukanya polojekiti z'ebyobulimi mu ttendekero lta Eastern and Southern Africa Management Institute (ESAMI). Mu 2003 Yasomayo satifikeeti endala bwe yali e Zimbabwe, nga yo eyitibwa Certificate in Systemic Counselling nga yagisomera mu ttendekero lya Zimbabwe Institute of Systemic Counseling. Mu 2004, yeetaba mu ttabamiruka w'ebyobulimi eyatuumibwa Limpopo University RSA (in conjunction with University of southern Hampshire USA) n'afunaye Satifikeeti eya Micro Enterprise and Development.
Bwe yali mu Paalamenti, Sekitoleko yali mmemba National Resistance Council (NRC).[6]
Victoria Sekitoleko is currently Chairperson of the governing board of Uganda Agribusiness Alliance. The purpose of the Uganda Agribusiness Business Alliance is to unite all those involved in the industry to best optimize their ability to profitably and sustainably pursue the many global opportunities that present themselves as part of competing in the world's largest industry.
Mu 2013, Victoria Sekitoleko yeegatta ku kibiina ky'abakyala aabakozi ba bizinensi ekya Business and Professional Women Kampala (BWP). Era yeegatta ne ku kibiina kya Uganda Women Entrepreneurs Association Limited (UWEAL) mu mwaka gwe gumu.
Mu 2010 Victoria Sekitoleko yatandikawo ekitongole ka Uganda Community Cultural Center. Nga'ayita mu kibiina kino agenze asomesa abantu mu byobulimi n'okusomesa abantu okwogera mu bantu. Ofiisi ze ziri ku Victoria House e Bukoto nga zitunudde me ddwaliro lya Kadic Hospital. Yateekawo omukutu guno n'ekigendererwa eky'okuyigiriza abantu okubeera aboogezi ab'omulembe. Okutuusa kati ateeka nnyo obudde bwe mu kutendeka abantu butya bwe boogera oba bwe bayinza okufuuka aboogezi abalungi. Abateerawo ekyanya we bafunira emiramwa ne bakubaganya ebirowoozo. Ku mukutu guno oguyitibwa 'speakers forum' abantu ab'engeri ezitali zimu baku ng'aana ne bawaanyisiganya amagezi n'okukubaganya ebirowoozo ku nsonga ezikwata ku bulamu bwabwe.
Mu kiseerakye bwe yabanga akiikirira Uganda e China, Sekitoleko yasikirizibwa era ne yeegomba empisa z'Abachina ng'ayagala nnyo okutambulako n'okunyuma bya'alabye eyo gy'aba eyise.
Ng'ayita mu kibiina kya Speakers Forum, Victoria Sekitoleko yateekawo ne ayibulale omuli ebitabo eby'enjawulo abavubuka abato bye basoma ne bongera okunyweza empisa y'okusoma n'okuba abamanyi. Emu ku layibulale zino eri Bukoto, ku nkingizzi z'ekibuga Kampala.
Layibulale eno ey'e Bukoto era erimu n'ebitabo ebisomesa ku mbeera y'Abachina omuli obuwangwa bwabwe wamu n'obw'e Uganda. Layibulale endala ziri Budondo, Namulesa, Wanyange, n'eri ku Life Skills Center, e Bugembe abayizi ba Sinia gye bagenda okukoocingibwa mu biseera by'oluwummula. Omukyala ono era ayambyeko mu kutongoza layibulale endala nnyingi, okugeza eya Uphill Nursery and Primary School e Bugobya mu Disitulikitiy'e Jinja , Namaganga, Kigalagala community libraries mu ggombolola y'e Busede - Jinja, e Bugodi mu Disitulikiti y'e Mayuge, e Kasambira mu Distulikiti y'e Kamuli n'awalala.
Abeera Ntinda mu maka ge. Ekirooto kye kwe kukulaakulanya abantu mu mbeera z'obulamu zonna n'okubazzaamu amaanyi okulaba nga batangaaza ebiseera byabwe eby'omumaaso.
Egimu ku mirimu gy'akola ku Community Cultural Center
Ebijuliziddwamu
[kyusa | edit source]
- ↑ https://web.archive.org/web/20140917113305/http://www.nytimes.com/1992/10/09/news/09iht-agri.html
- ↑ http://conferences.ifpri.org/2020africaconference/biosketches.asp
- ↑ http://www.chinadaily.com.cn/cndy/2009-04/22/content_7701456.htm
- ↑ http://www.accessmylibrary.com/coms2/summary_0286-18518245_ITM
- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2011-07-18. Retrieved 2021-04-09.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ http://allafrica.com/stories/200803181168.html