Wilson Muruli Mukasa

Bisangiddwa ku Wikipedia

Wilson Muruli Mukasa yazaalibwa nga 5 ogwomusanvu 1952, Munnayuganda ate munnabyabufuzi. Abadde minisita wa Public Service mu Kabinenti ya Uganda okuva nga 6 ogwomukaaga 2016.[1] Emabegako akoze nga Kabinenti Minisita w'ekikula ky'abantu okuva nga 1 ogwokusatu 2015, okutuuka nga 6 ogwomukaaga 2016. Emabegako akoze nga Minisita w'ebyokwerinda okuva nga 27 ogwokutaano 2011 okutuuka nga 1 ogwokusatu 2015.[2] Muruli Mukasa era yakola nga Mmemba wa paalamenti akiikirira Budyebo County mu Nakasongola Disitulikiti.[3]

Obuto n'okusoma[kyusa | edit source]

Yazaalibwa mu Nakasongola Disitulikiti nga 5 Ogwomusanvu 1952. Yasoma Pulayimale ne Siniya. Yasomera ku e Makerere University n'afuna Diguli eya Bachelor of Arts ne Diploma in Education (BA.Dip.Ed.) mu 1975. Mu 1987, yafuna Certificate mu Hotel Management, okuva mu ttendekero eritamanyiddwa mu Tripoli, Libya.[4]

Emirimu[kyusa | edit source]

Okumala myaka kkumi na gumu, wakati wa 1975 ne 1986, Muruli Mukasa yali musomesa; emyaka ebiri egiyise yali Pulinsipo w'essomero gye yali asomesa. Okuva mu 1989, abadde mubaka wa Paalamenti, nga akiikirira ekitundu ky'ewaabwe. Yalondebwa ku bwa Minisita ow'ebyokwerinda mu Gwokutaano 2011.[5][6] Yadda mu bigere bya Amama Mbabazi, eyalondebwa ku bwa Ssaabaminisita wa Uganda.[5] okwongereza ku mirimu gye egy'obyokwerinda, Mukasa yaweerezaako nga Minisita wa Kampala, nga Minisita ow'enkalakkalira tannalondebwa mu 2011,[7] mu 2014, nga Minisita, Frank Tumwebaze, taliiwo.[8] Mu kukyusa kwa Kabinenti empya nga 1 Ogwokusatu 2015, Yakyusibwa nadda ku kifo kya Minisita ow'ekikula ky'abantu, ng'adda mu bigere bya Mary Karooro Okurut, eyafuulibwa Minisita ow'ebyokwerinda.[9] Nga 6 Ogwomukaaga 2016, yafuulibwa Minisita ow'abakozi ba Gavumenti, mu lukalala lwa Baminisita olwalangirirwa ku lunaku olwo.[10]

Laba[kyusa | edit source]

Ebijuliziddwa[kyusa | edit source]

 

  1. "Archive copy" (PDF). Archived from the original (PDF) on 2020-06-25. Retrieved 2021-09-05.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  2. https://www.newvision.co.ug/D/8/12/755941
  3. "Archive copy". Archived from the original on 2016-08-22. Retrieved 2021-09-05.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  4. "Archive copy". Archived from the original on 2016-08-22. Retrieved 2021-09-05.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  5. 5.0 5.1 https://www.newvision.co.ug/D/8/12/755941
  6. "Archive copy". Archived from the original on 2016-08-22. Retrieved 2021-09-05.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  7. https://www.monitor.co.ug/News/National/-/688334/1296378/-/bfjd3xz/-/index.html
  8. "Archive copy". Archived from the original on 2021-09-05. Retrieved 2021-09-05.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  9. "Archive copy" (PDF). Archived from the original (PDF) on 2017-07-09. Retrieved 2021-09-05.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  10. https://www.scribd.com/document/314964607/New-Cabinet

Ebijuliziddwamu ebirala[kyusa | edit source]