Winnie Byanyima

Bisangiddwa ku Wikipedia
Winnie Byanyima
Winnie Byanyima

Winifred Byanyima (yazalibwa nga 13 Gatonya 1959), Munna Uganda Yinginiya wenyonyi mulungereza gwe bayita (aeronautical engineer), munna byabufuzi era omukungu. Yy'akulira ekibiina ky'amawanga amagate ku siliimu (UNAIDS) okuva Musenene wa 2019.[1]

Okuva Muzigo wa 2013 okutusa Musenene wa 2019, yali akulira ekiitingole kya Oxfam International.[2] Yawerezako nga omukulu w'ekiibina ekitwala ensonga z'ekikula ky'omuntu mu sige ly'ekibinna ky'amawanga amagate ku byenkulakulana (director of the Gender Team in the Bureau for Development Policy at the United Nations Development Programme (UNDP) okuva 2006.[3]

Gyenvudde we[kyusa | edit source]

Byanyima bamuzalira mu Mbarara District mu bugwa njuba bwa Uganda. Kitaawe y'omugenzi Boniface Byanyima, eya kulemberako ekibina ky'ebyobufuzi ekya DP (Democratic Party), maama we ye Gertrude Byanyima, eyali omusoomesa w'esomero eyafa mu musenene wa 2008.[4] Winnie Byanyima yasomera Mount Saint Mary's College Namagunga mu Mukono District. yagenda mumaso natikirwa diguli mu bwa yinginiya bw'enyonyi okuva mu University of Manchester mu bungereza nafuka munna Uganda eyali asose okuba yinginiya w'enyonyi. Yamala nasooma ne diguli eyokubiri mu bwa Yinginiya bw'okukanika obukatiriza ebyuma o'kutereka amanyi (masters degree in mechanical engineering specializing in energy conservation) okuva mu Cranfield University.[5]

Obukugu bwe[kyusa | edit source]

Nga yakamaliliza okusooma obwa yinginiya bwenyonyi, Byanyima yakola nga yinginiya w'enyonyi (flight engineer) ow'ekitongole ky'enyonyi za Uganda ekya Uganda Airlines. Yoweri Museveni bweyatandika olutalo lw'obuyekera okuva 1981 paaka 1986, Byanyima yalekawo omulimu gwe nayingira obuyekera. Museveni ne Byanyima bali bakuzibwa wamu ewaaka w'omugenzi Boniface Byanyima eyasasulila okusooma kwa Museveni.

Museveni, Byanyima, ne bba wa byanyima Kizza Besigye boona bali bayekera ba National Resistance Army (NRA) mu lutalo. Byanyima wamu ne bba we' kati tebakyakolagana bulungi n'omukulembeze w'egwanga Museveni kulw'efuga bbi ekintu ekikotana n'ebyabatwala mu nsiko.[6]

Nga NRA emaze okuwangula olutalo, Byanyima yawereza ng'omukungu wa Uganda mu gwanga lya France okuva 1989 okutusa 1994. Yamala nakomawo mu Uganda okwetaba mu byobufuzi bya Uganda. Yawereza ng'omubaka wa Constituent Assembly eyanonyereza n'okuwandika ebyatekebwa mu ssemateka wa Uganda owa 1995 . Yawereza ng'omubaka wa palamenti akkikirira Mbarara Municipality okuva 1994 okutusa 2004. yamala nalondebwa nga akulira ekitongole ekikola ku nsonga z'abakyala,ekikula kyomuntu wamu nenkulakulana (director of the Directorate of Women, Gender and Development) ku kiteebe ekikulu eky'omukago gwa Africa (African Union) mu Addis Ababa, Ethiopia. Yawereza mukifo ekyo okutusa lwe bamulonda ng'omukulu w'ekkibina ekiikola ku nsonga z'ekikula ky'omuntu mu siga ly'ekibina ky'amawanga amagatte ku nkulakulana (director of the Gender Team in the Bureau for Development Policy at UNDP) mu musenene wa 2006.[7]

Okukulira ekitongole kya Oxfarm 2013-2019[kyusa | edit source]

mu Gatonya wa 2013, Byanyima yalangirirwa ng'omukulu wa Oxfam International,[8] ng'adda mu bigere bya Jeremy Hobbs. Byanyima yatandika omulimu guno ogw'emyaka etaano nga 1 Muzigo 2013.[9] mu ntenvu wa 2017, yakiriza okuwereza ekisanja eky'okubiri ku Oxfam ng'okusaba kw'abakulu ba Oxfarm bwekwali.[10]

Mu Gatonya wa 2015, Byanyima yali omu ku yakubiriza olukiiko lw'ensi yona (World Economic Forum) mu Davos. Yakozesa olukiiko luno okusaba wabewo okwongera amanyi mukulwanyisa obutenkanakana wakati w'abagaga n'abaavu. okunonyereza kwa Oxfam kwali kulaga nti ekitundu kimu ku buli kikumi kya ba'nagaga mu nsi yona basinga ebintundu ataano ku buli kikumi by'abantu abali mu nsi yona obugaga mu 2014.[11][12][13] okunonyereza kwa Oxfarm kuno kwakubwamu ebituli abasooma eby'esente.[14]

Mu Musenene wa 2016, Byanyima yalondebwa omuwandisi w'amawanga amagate Ban Ki-moon ku kakiiko ku mpereza nokutukibwako eddagala (High-Level Panel on Access to Medicines), akakubilizibwa Ruth Dreifuss, eyaliko omukulembeze w'egwanga lya Switzerland, ne Festus Mogae, eyaliko omukulembeze w'egwanga lya Botswana.[15]

Obukulembeze bwe ku UNAIDS 2019 paaka kati[kyusa | edit source]

Byanyima yalondebwa ku bukulembeze bwa UNAIDS[16] mu Muwakanya wa 2019, ng'alondebwa Ssabawandisi w'ekibbina ky'awanga amagate, António Guterres, nga abakulu ba UNAIDS bamaze okunonyereza ku muntu asanira ekifo kino. Era mukifo kino, akola natte ng'omumyuka wa sabawandisi w'ekkibina ky'amawanga amagate.[17]

Ng'ogase ku mirimu gye ku UNAIDS, Byanyima awereza natte ng'obmubaka ku kakkiko akawa amagezi banka yensi yena ku ntonda y'omuntu nenkulakulana ku kisangya ky'emyaka ebiri .[18]

Ebilara byakola[kyusa | edit source]

  • mukiise ku kakiiko ka Global Fund to Fight AIDS, Tuberculosis and Malaria,[19]
  • mukiise ku kakiiko akawa amagezi ku Equality Now,[20]
  • mukiise ku International Gender Champions (IGC),[21]

ebimukwatako ng'omuntu[kyusa | edit source]

nga 7 Kasambula 1999, Byanyima yafumbirwa Kizza Besigye e Nsambya, mu Kampala. Besigye yaliko omukulembeze w'ekiibina ky'ebyobufuzi eya Forum for Democratic Change (FDC) . Byanyima ne Besigye balina omwana omu Anselm Besigye. Byanyima wa kiibina kya FDC, naye ebyobufuzi by'ebibina yakendezako okubyetabamu okuva lwe yafuka omukungu mu 2004.[22] Byanyima alina baganda be bataano okuli: Edith, Anthony, Martha, Abraham, ne Olivia.[23]

Ebijulizo[kyusa | edit source]

  1. https://www.monitor.co.ug/News/National/Besigye-wife-Winnie-charge-UNAIDS-Geneva-OXFAM/688334-5334992-15iii4m/index.html
  2. "Archive copy". Archived from the original on 2021-04-07. Retrieved 2021-03-29.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  3. https://www.afdb.org/en/news-and-events/article/interview-with-undp-gender-team-director-winnie-byanyima-incorporating-gender-perspective-in-all-steps-of-economic-policy-management-process-7373
  4. https://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1177083/byanyima-eur-wife-dead
  5. https://www.oxfam.org/en/winnie-byanyima-oxfam-international-executive-director
  6. https://www.monitor.co.ug/News/National/-/688334/1157272/-/c22kvez/-/index.html
  7. https://www.newvision.co.ug/D/8/13/535097
  8. "Archive copy". Archived from the original on 2021-12-03. Retrieved 2021-03-29.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  9. https://www.herald.co.zw/income-inequalities-threaten-africa/
  10. https://www.oxfam.org/en/press-releases/winnie-byanyima-serve-second-5-year-term-leading-oxfam
  11. https://www.theguardian.com/business/2015/jan/19/global-wealth-oxfam-inequality-davos-economic-summit-switzerland
  12. https://www.theguardian.com/business/2014/jan/20/oxfam-85-richest-people-half-of-the-world
  13. https://www.bbc.com/news/business-30875633
  14. https://www.newyorker.com/business/currency/critics-oxfams-poverty-statistics-missing-point
  15. https://www.un.org/press/en/2015/sga1608.doc.htm
  16. https://www.monitor.co.ug/News/National/Besigye-wife-Winnie-charge-UNAIDS-Geneva-OXFAM/688334-5334992-15iii4m/index.html
  17. https://www.unaids.org/en/resources/presscentre/pressreleaseandstatementarchive/2019/august/20190814_unaids-exd
  18. https://www.worldbank.org/en/topic/gender/publication/world-bank-advisory-council-on-gender-and-development
  19. https://www.theglobalfund.org/en/board/members/
  20. https://www.equalitynow.org/equality_now_advisory_board
  21. https://genderchampions.com/champions?page=2
  22. https://www.newvision.co.ug/D/9/803/745788
  23. http://www.newvision.co.ug/D/8/18/659964