Yafesi Magulu
Yafesi Magulu (Yazaalibwa - Yafa 1999) yali mulimi wa kooko e Nkokonjeru, Buikwe. Yatandikawo essomero Magulu pulayimale (Magulu Primary School).
Famire
[kyusa | kolera mu edit source]Omugenzi Magulu yali mutabani w'Omugenzi Kamaala era yali yeddira mmamba, ekika ky'emmamba ekulibwa Ggabunga.
Yawasa Rachel Magulu ne bazaala abaana basatu. (Omwana wa Magulu omukulu) Omugenzi Sembuya Christopher Columbus, Omugenzi Buwule Henry Wilberforce n'Omugenzi Mayanja Michael. Omugenzi Yafesi Magulu yazaalayo abaana abalala okwali Omugenzi Waswa Paul, Omugenzi Nsubuga Christopher, Omugenzi Nsubuga Livingstone, Omugenzi James Wamala, Omugenzi Namutebi Ruth, Omugenzi Namubiru Jane, Omugenzi Mubiru Edward Fred, Omugenzi Magulu Godfrey n'Omugenzi Mukasa Charles.
Yasenguka okuva e Ssi (e Ggombolola ya Ssi-Bukunja, mu Bukunja, mu Ssaza lya Kyaggwe) nadda e Nkokonjeru n'oluvannyuma n'asenguka n'azimba amaka e Kikwayi. Baganda be n'abooluganda be n'ebiggya byabwe biri Ssi.
okufa
[kyusa | kolera mu edit source]Yafa mu 1999 ku Sembule Steel Mills Limited e Nalukolongo. Yaziikibwa ku kiggya e Kikwayi, Buikwe.