Zaitun Driwaru

Bisangiddwa ku Wikipedia

Zaitun Driwaru yazaalibwa 10 Ogwekkuminebiri 1977, munayuganda omusomesa w'essomero era munnabyabufuzi. Yaweerezako ng'omubaka Omukyala owa disitulikiti eye Yumbe mu palamenti ya Uganda ey'omulundi ogw'ekkumi (2016-2021).

Ebyafaayo n'okusoma[kyusa | edit source]

Driwaru yazaalibwa 10 Ogwekkuminebiri 1977. Yasomera mu Arua Hill Primary School, mu kibuga Arua, ekibuga ekisinga obunene mu kitundu kya West Nile. Yatikirwa mu 1991 era n'aweebwa ekifo ku Mvara Secondary School mu Arua. Yafuna Uganda Certificate of Education (O-Level) ne Uganda Advanced Certificate of education (A-Level), okuva mu Mvara, mu 1995 ne 1999.

Yaweebwa ekifo ku Muni National Teachers College, gye yafunira Diploma mu Secondary Education, mu 2002. Mu 2005, yattikirwa mu Islamic University mu Uganda, ne diguli esooka mu Public Administartion.

Emirimu[kyusa | edit source]

Nga tannagenda mu by'obufuzi[kyusa | edit source]

Okuva mu 1999 okutuuka mu 2001, yali avunaanyizibwa ku bitundibwa mu Bata Uganda. Oluvannyuma yakolako ng'omusomesa owa sekendule ku Aringa Secondary School, mu kibuga Yumbe. Oluvannyuma yaweereza ng'omukugu ow'enkulaakulana mu gavumenti z'ebitundu mu disitulikiti eye Yumbe okuva mu 2006 okutuuka mu 2011.

Nga munnabyabufuzi[kyusa | edit source]

Mu kulonda kw'olukiiko lw'eggwangaolukulu okwa 2016, Zaitun Driwaru yavuganya ku kifo ky'omubaka Omukyala akiikirira disitulikiti eye Yumbe. Yavuganya nga atalina kibiina kyabyabufuzi. Driwaru yawangula Avako Naima Gule, ow'ekibiina ekifuzi ekya National Resistance Movement, eyali omubaka wa palamenti mu kiseera ekyo. Driwaru yafuna obululu 32,504 ate Naima n'afuna obululu 24,394.

Mu Palamenti ey'ekkumi, ali ku kakiiko k'ebyenjigiriza n'ebyemizannyo n'akakiiko ka Palamenti akalondoola ebisuubizo bya gavumenti. Era memba mu Uganda Women Parliamentary Association (UWOPA). Zaitun Driwaru memba omujuvu mu kibiina ekyatandikawo Uganda Muslim Supreme Council (UMSC).

Laba era[kyusa | edit source]

Ebyawandiikibwa[kyusa | edit source]


Enkolagana ez'ebweru[kyusa | edit source]