Ťhomas B. Ťayebwa

Bisangiddwa ku Wikipedia

Template:Infobox officeholder Thomas Bangirana Tayebwa (eyazaalibwa nga 10 Ogwekkuminoogumu 1980) munnayuganda, munnamateeka ate era munnabyabufuzi. Tayebwa Yalondebwa Yoweri Kaguta Museveni nga nnampala wa gavumenti.[1] Okuva mu mwaka gwa 2016 aweereza ng’omubaka akiikirira Ruhinda North County (esangibwa mu ddisitulikiti ya Mitooma) mu lukiiko lw’eggwanga olukulu. Tayebwa mmemba mu kibiina ekiri mu buyinza mu Uganda, ekya NRM. Yaweerezaako nga mmemba ku kakiiko k’ebyenfuna by’eggwanga wamu ne ku Natural Resources Committee.[2]

Gye nvudde we n'obuyigirize[kyusa | edit source]

Tayebwa yazaalibwa Bangirana Daudi ne Betty Komuhangi ab'omu kyalo ekimanyiddwa nga Bitereko mu ddisitulikiti ya Mitooma.[3] Yasomera ku Kigarama Primary School, Kigarama Senior Secondary School ne Ruyonza School gye yafunira UACE mu mwaka gwa 2000. Mu 2005, yafuna ddiguli esooka mu Social Sciences ku Makerere University, ate era n'afuna ddiguli mu mateeka (Bachelor of Law degree) mu mwaka gwa 2012 ku yunivaasite y'emu.

Ebifo ebirala[kyusa | edit source]

Tayebwa aweereza nga ssenkulu wa Cholmat Investments.[4]

Ebyobufuzi[kyusa | edit source]

Mu Gwekkumi gwa 2015, Tayebwa yeesogga ebyobufuzi ku kkaadi ya NRM, n'awangula akamyufu k'ekibiina n'obululu 15092 wamu n'akalulu ka Uganda aka bonna aka 2016 olwo n'afuuka omubaka akiikirira Ruhinda North County, Mitooma ddisitulikiti mu lukiiko lw'ebbona lya Africa olukulu olw'ekkumi. [5][6] Yaweerezaako nga mmemba ku kakiiko k’ebyenfuna by’eggwanga wamu ne ku Natural Resources Committee (2016-2021).[7][8][9]

Obulamu bwe obw'omunda[kyusa | edit source]

Nga 14 Ogwokubiri 2009 Tayebwa yawasa Anita Rukundo ku St Augustine Chapel e Makerere[10] (Kampala, UG). Balina omwana omu.[11]

Ebijulizo[kyusa | edit source]

 

Obulandira obulala[kyusa | edit source]

  1. https://www.aa.com.tr/en/africa/ugandas-president-appoints-82-ministers/2267875
  2. https://theyworkforyou.github.io/uganda-parliament-watch/mp/738cff3b-1d64-4788-9421-2d36741dcb16/
  3. "Archive copy". Archived from the original on 2022-03-31. Retrieved 2021-08-11.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  4. https://theinsider.ug/index.php/2019/01/14/top-10-richest-mps-in-the-10th-parliament-named/
  5. http://ugblizz.com/winners-and-losers-of-uganda-member-of-parliament-mps-elections/
  6. https://www.pmldaily.com/news/2019/10/mps-assure-mitooma-residents-on-water-electricity.html
  7. http://governance.mak.ac.ug/members/20/hon-thomas-tayebwa
  8. https://www.monitor.co.ughttps//www.monitor.co.ug/uganda/news/national/makerere-to-extend-semester-over-strike-1807302
  9. https://chimpreports.com/mp-tayebwa-transfers-shs-20m-to-home-district/
  10. https://en.wikipedia.org/wiki/Makerere
  11. "Archive copy". Archived from the original on 2021-01-18. Retrieved 2021-08-11.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)