Adolf Mwesige
| Ekikula | musajja |
|---|---|
| Ensi y’obutuuze | Yuganda |
| Erinnya eriweereddwa | Adolf |
| Yazaalibwa nga | 4 Gwakuna(Kafuumuulampawu) 1966 |
| Gy'azaalwa | Yuganda |
| Ennimi z'amanyi | Lungereza |
| Omulimu | lawyer, munnabyabufuzi |
| Ekifo ky'alimu | Omubaka wa Palamenti ya Uganda, Minister of Defence and Veterans Affairs |
| Gyeyasomera | Ssettendekero wa Makerere, Nyakasura School |
| Gyabeera | Kampala |
| Ebbanga ly'akoledde (okutandika) | 1992 |
Adolf Kasaija Mwesige (yazaalibwa nga 4 Ogwokuna 1966) munnamateeka, munnabyabufuzi, era Munnayuganda, Mwesige aweerezzaako mu bifo eby'enjawulo mu Gavumenti ya Uganda era nga yaliko Minisita avunaanyizibwa ku By'okwerinda n'Ensonga z'Abaazirwanako mu kabineti ya Uganda okuva nga 6 Ogwomukaaga 2016 okutuuka nga 8 Ogwomukaaga 2021.[1] Emabegako yaweerezaako nga Minisita wa Gavumenti ez’ebitundu okuva nga 18 Ogwokubiri 2009 okutuuka nga 6 Ogwomukaaga 2016. Era yeyali Omubaka wa Paalamenti omulonde ow'e Ssaza ly'e Bunyangabu mu disitulikiti y'e Kabarole okuva mu 1996.[2] Mu Ogwomusaavu 2017, Essaza ly'e Bunyangabu lyakutulwa ku Disitulikiti y’e Kabarole okukola Disitulikiti y’e Bunyangabu.[3]
Obuvo bwe n'okusoma kwe.
[kyusa | kolera mu edit source]Yasomera Siniya y'ey'omukaaga kusomere lya Nyakasura e Fort Portal. Mwesige alina Ddiguli y'esooka mu mateeka okuva ku Yunivasite y'e Makerere, yunivasite esinga obukadde mu Uganda. Alina ne dipulooma mu by'amateeka okuva mu ttendekero lya bannamateeka erya (Law Development Centre) mu Kampala . Alina ne dipulooma mu mateeka agali ku mutendera gwensi yonna okuva mu kitongole kya Public Administration Promotion Center e Berlin mu Germany ne dipulooma mu mateeka agakwata ku ddembe ly’obuntu okuva mu kitongole ky’amawanga amagatte ekivunaanyizibwa ku ddembe ly’obuntu e Geneva, mu Switzerland.[2]
Obumanyirivu bwe ku mirimu
[kyusa | kolera mu edit source]Mwesige yali yakkirizibwa okubeera Omuwolereza mu Kkooti enkulu eya Uganda okuva mu 1994. Wakati wa 1992 ne 1996, yali mukozi mu minisitule y’ensonga z’ebweru ng’omukungu avunaanyizibwa ku nsonga z’amateeka ne n'ebitebe by'amawanga amalala. Wakati wa 1996 ne 2001, yali akola ng'omukulembeze addukkanya enkolagana mu kkampuni eya bannamateeka mu Uganda eya Mwesige, Egunyu & Company Advocates.[4]
Yasooka okulondebwa okugenda mu paaalamenti mu 1996, okukiikirira Essaza lya Bunyangabu mu Disitulikiti y’e Kabarole. Nga 2009 tegunnatuuka, Mwesige yaweereza nga Minisita wa guno na guli mu Ofiisi ya Ssabaminisita.[2] Yalondebwa nga minisita wa Gavumenti ez'Ebitundu nga 18 Ogwokubiri 2009. Mu nkyukakyuka za kabineeti ezaakolebwa nga 27 Ogwokutaano 2011, Mwesige yasigaza ekifo kye ekya Gavumenti ez’Ebitundu.[5] Yakola ng’omumyuka wa ssentebe mu kakiiko akafuga Ebitundu mu Gavumenti za mawanga omwegattira ensi zamatwale ga Bungereza akayitibwa Commonwealth Local Government Forum okuva 2011 okutuusa lweyazzibwa ku kifo ky'Obwaminisita W'ebyokwerinda nga 6 Ogwomukaaga 2016, ng'adda mu bigere bya Crispus Kiyonga, eyasuulibwa okuva mu kabbineeti.[6] Yasikizibwa Vincent Ssempijja mu kifo kino nga 8 Ogwomukaaga 2021.[7]Mwesige ye Mulabirizi w'ebiwandiiko bya Paalamenti ya Uganda okuva lweyasisiinkana n'omukulembeze w'Eggwanga Yoweri Museveni natandika okukola emirimu gye mu butongole nga 18 Ogwomunaana 2021.mu kifo kino yasikira Jane Kibirige.[8][9]
Okunoonyereza ku nguzi mu paalamenti ya 2026
[kyusa | kolera mu edit source]Mu Ogwokutaano 2026, Mwesige yali mu kwekenneenya kwa bonna bwe baali banoonyereza ku bigambibwa nti waliwo obuli bw’enguzi n’obutali butebenkevu mu by’ensimbi mu Paalamenti ya Uganda. Emikutu gy’amawulire gyategeeza nti ebibuuzo byali bibuuzibwa ku mulimu gwe nga Omulabirizi w'ebiwandiiko (Clerk) eri Paalamenti, kubanga kimanyiddwa nti Omulabirizi w'ebiwandiiko avunaanyizibwa ku kubala ebitabo era n’avunaanyizibwa ne ku kuwa olukusa n’okubala ensaasaanya y'ensimbi mu Paalamenti.[10]
Omubaka wa Paalamenti Yorke Odria Alioni mu Ssaza lya Aringa Mu bugwanjuba bwa Uganda yasaba wabeewo okunoonyereza ku Mwesige n’abakungu abalala ab’oku ntikko mu paalamenti, ng’alumiriza nti waliwo obutali bwenkanya kunoonda ya bakozi, entambula y'e by’ensimbi, n’okuddukanya eby’obugagga bya paalamenti. Ebigambibwa bino tebyavamu musango gwonna guvunana Mwesige mu kiseera amawulire we gafulumira.[11]
Nga 19 Ogwokutaano 2026, kigambibwa nti abasirikale b’ebyokwerinda n'abaanonyereza bagalawo ofiisi ya Mwesige ku Paalamenti ng’omu ku kaweefube w’okunoonya ebiwandiiko n’obuwandiiko obukozesa ebyuma bikalimagezi nga bikwatagana n’okunoonyereza okugenda mu maaso. Lipoota ezaddirira zaategeeza nti ttiimu ey’awamu eya bambega ba poliisi, ekitongole ekivunaanyizibwa ku kulondoola gavumenti n’ababalirizi b’ebitabo baamala essaawa eziwera nga banoonya muzi ofiisi mu Paalamenti, omuli ne ofiisi ya Clerk nga tebannasitula kugenda n’ebikozesebwa okwekenneenya okunoonyereza ku misango. Ab’obuyinza baali tebannaba kulaga mu lujjudde omulimu gwennyini Mwesigye gwe yakola mu kunoonyereza kuno, era nga tewali kusingisibwa musango oba kuzuulibwa mu butongole ku ye.[12][13]
Amaka
[kyusa | kolera mu edit source]Adolf Mwesige musajja mufumbo era alina nabaana
Laba ne
[kyusa | kolera mu edit source]- Kabineti ya Uganda
- Paalamenti ya Uganda
- Yoweri Museveni
- Disitulikiti y'e Bunyangabu
- Yunivasite y'e Makerere
Ebijuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]- ↑ Uganda State House (6 June 2016). "Museveni's new cabinet list At 6 June 2016" (PDF). Daily Monitor. Kampala. Archived from the original (PDF) on 7 October 2016. Retrieved 7 June 2016.
- 1 2 3 Parliament of Uganda (30 June 2017). "Parliament of Uganda Members of The 10th Parliament". Kampala: Parliament of Uganda. Retrieved 14 January 2018.
- ↑ Basiime, Felix (3 March 2017). "Kabarole budgets Shs12 billion for new Bunyangabu District". Daily Monitor. Kampala. Archived from the original on 12 August 2017. Retrieved 14 January 2018.
- ↑ Vision Reporter (25 May 2004). "Who will be the next Attorney General?". New Vision. Kampala. p. 22. Retrieved 15 January 2018.
- ↑ Mukasa, Henry (28 May 2011). "Museveni Names New Cabinet". New Vision (Kampala). Archived from the original on 11 December 2014. Retrieved 19 February 2015.
- ↑ Uganda State House (6 June 2016). "Museveni's new cabinet list At 6 June 2016" (PDF). Daily Monitor. Kampala. Archived from the original (PDF) on 7 October 2016. Retrieved 7 June 2016.
- ↑ New Vision (9 June 2021). "President Museveni names new Cabinet". New Vision. Kampala, Uganda. Retrieved 16 July 2021.
- ↑ "Adolf Mwesige Assumes Office as Clerk to Parliament | The Homeland Newspaper". www.homelandmedia.co.ug. 19 August 2021. Retrieved 2024-09-25.
- ↑ "Clerk to Parliament tips new staff on discipline, innovativeness". 8 December 2021.
- ↑ "Secret Files Opened: Parliament's Top Officials Clerk Adolf Mwesigye, Finance Boss Kunobwa, Communications Obore & Logist". The Investigator News (in American English). 2026-05-18. Retrieved 2026-06-03.
- ↑ Reporter (2014-11-20). "Government apologizes for toddlers' death - 93.3 KFM" (in American English). Retrieved 2026-06-03.
- ↑ Omara, Geoffrey (2026-05-20). "Police, IGG, Auditors Exit Parliament after 16-Hour Search". ChimpReports (in American English). Retrieved 2026-06-03.
- ↑ "27 Years Jail Looms for Among if Investigations, Prove Corruption, Abuse of Office & Illegal Enrichment". mulengeranews.com (in American English). 2026-05-22. Retrieved 2026-06-03.
Ebijuliziddwa wabweru wa Wikipedia
[kyusa | kolera mu edit source]- CS1 American English-language sources (en-us)
- Bannayuganda bannabyabufuzi
- Abaazaalibwa mu 1966
- Abantu abasibuka mu Disitulikiti y'e Bunyangabu
- Ababaka ba Paalamenti ya Uganda ey'omunaana
- Abantu b'e Tooro
- Ababaka ba Paalamenti ya Uganda ey'ekkumi
- Ababaka ba Paalamenti ya Uganda ey'omwenda
- Abantu abalamu
- Abaasomera ku Yunivasite y'e Makerere
- Baminisita ba Gavumenti ya Uganda
- Bugwanjuba bwa Uganda
- Baminisita b'Ebyokwerinda mu Uganda