Adonia Katungisa

Bisangiddwa ku Wikipedia

  Adonia Katungisa munnayuganda omukuumi w'amatterekero g'ebitabo era omuddukanya w'emirimu amanyikiddwa olw'okuyamba mu by'amaterekero g'ebitabo ne Sayansi mu by’obubaka . Abadde Dayirekita w’etterekero ly’ebitabo ekulu mu ggwanga lya Yuganda okuva mu 2018, era abadde akola kinene nnyo mu kutereza embeera y’etterekero ly’ebitabo mu ggwanga. [1] [2] [3] [4] Katungisa yaliko mu kifo ky'omumyuka wa dayirekita mu tterekero ly'ebitabo erya ekulu erya Yuganda . Okugatta ku ekyo, akola ku by’ensoma ng’omusomesa ow’ekiseera mu by'amaterekero g'ebitabo ne ssaayansi w’amawulire mu Yunivasite ye'Kyambogo. [5] [6] Abadde yeenyigira nnyo mu nteekateeka z’okuyunga enjawukana mu ngeri ya digito mu Yuganda, okussa mu nkola enteekateeka z’okutendeka abantu mu by’enjigiriza mu ngeri ya digito okusobola okufuula kompyuta okutuukirika eri abantu. [7]

Ensibuko N'ebyenjigiriza[kyusa | edit source]

Alina diguli eyookubiri mu Sayansi mu by’obubaka okuva mu yunivasite y’e Makerere gye yafuna mu 2005, Dipuloma ya dipulooma eyookubiri mu Sayansi wa Kompyuta mu 2001, ne diguli ya esooka mu by'amaterekero g'ebitabo ne Sayansi mu by’obubaka okuva mu Yunivasite y’emu mu 1997. Adonia era yali muyizi wa African Leadership Academy (AfLAc), Enteekateeka y’okutendeka obukulembeze eri abaddukanya amaterekero g’ebitabo mu African Middle Library etegekebwa era eddukanyizibwa AfLIA. [8]

Omulimu[kyusa | edit source]

Nga tannafuuka Dayirekita wa w’etterekero ly’ebitabo ekulu mu ggwanga lya Yuganda, Adonia yaliko omumyuka wa Dayirekita w’ettendekero lye limu okuva mu 2010 nga Gertrude Kayaga Mulindwa ye Dayirekita. [9]

Ebiwandiiko ebikozesebwa[kyusa | edit source]

  1. "Uganda hosts a seminar on Preventive Conservation and Disaster Reduction of Documentary Heritage in Africa – Uganda National Commission for UNESCO" (in American English). 2023-07-31. Retrieved 2023-11-21.
  2. "Over 1,000 new books were registered during the COVID period". Bukedde (in Lungereza). Retrieved 2023-11-21.
  3. "Uganda authors call for a law on Artificial Intelligence". Monitor (in Lungereza). 2023-04-27. Retrieved 2023-11-21.
  4. Caroline, Ritta (2023-05-18). "NITA-UGANDA LAUNCHES A NATIONAL LIBRARY MANAGEMENT INFORMATION SYSTEM (MIS)". Nexus Media (in American English). Retrieved 2023-11-21.
  5. "Mobile book-box. Books anywhere". African Library & Information Associations & Institutions (in American English). 2019-01-24. Retrieved 2023-11-21.
  6. "Webinar - AfLIA membership: What's in it for me and my library?". African Library & Information Associations & Institutions (in American English). 2021-07-28. Retrieved 2023-11-21.
  7. "New project to close the digital divide in Uganda | EIFL". www.eifl.net. Retrieved 2023-11-21.
  8. "Webinar - AfLIA membership: What's in it for me and my library?". African Library & Information Associations & Institutions (in American English). 2021-07-28. Retrieved 2023-11-21.
  9. OGWANG, DANIEL (2012-09-23). "50 years of no reading culture". The Observer - Uganda (in British English). Archived from the original on 2023-09-07. Retrieved 2023-11-21.