Aisha Sekindi

Bisangiddwa ku Wikipedia

Aisha Sekindi (yazaalibwa 4 December 1970 ) musomesa era omubaka wa Palamenti mu Uganda. Mu February 2022, yakola nga Minisita omubeezi ow’eby'amazzi era nga ye mubaka omukyala akiikirira disitulikiti y’e Kalungu mu palamenti ya Uganda ey’ekkumi n’emu . Yadda mu bigere bya Hon. Ronald Kibuule eyamukwasa ofiisi eno mu July wa 2021. Yalina ekifo kye kimu mu palamenti ya Uganda ey'ekkumi . Mu byobufuzi, ali mu kibiina kya National Resistance Movement nga yesimbira ku tikiti yaakyo mukuvuganya mu kulonda kwa bonna okwa 2016, olwo n'awangula Aisha Naluyati Waligo owa Democratic Party Uganda (DP).

GYenvudde n’Okusoma[kyusa | edit source]

Aisha Sekindi yasomera mu ssomero lya Kyato Muslim Primary School lye yavaamu mu 1984 neyeegatta ku Kadugala Secondary School okusoma O Levels ( Uganda Certificate of Education ), gye yafuna mu 1988. Oluvannyuma mu 1995, yafuna satifikeeti y’abasomesa okuva mu ttendekero e Kibuli Teacher Training College.

Emirimu[kyusa | edit source]

Wadde Aisha Sekindi yatandika ng’omumyuka w’akulira essomero lya Saint Kizito Primary School, Lwengo (1997 okutuuka 2001), yagenda mu maaso n’afuuka kansala ku we Lwabenge ku disitulikiti era Omuwandiisi w'ekikula ky'abantu ne gavumenti z'ebitundu mu disitulikiti eye Masaka wakati wa 2001 ne 2007 [1]

Nga tannafuuka mubaka wa palamenti, Aisha Sekindi yaliko omumyuka w;omubaka wa Pulezidenti mu disitulikiti y’e Lira wakati wa 2013 ne 2014. Ekyo nga tekinnatuuka, yali aweereza mu kifo kye kimu mu Disitulikiti y’e Tororo (2011 okutuuka 2013) ne Disitulikiti y’e Kamuli (2007 okutuuka 2011). Wakati wa 2010 ne 2011, yali mubaka wa Pulezidenti mu disitulikiti y’e Buyende .

Ng’omubaka omukyala mu palamenti ya Uganda ey’ekkumi, yali wa kibiina kya Uganda Women Parliamentary Association (UWOPA) era y'omu mmemba w’akakiiko akavunaanyizibwa ku by’obulimi .

Obutakwatagana[kyusa | edit source]

Waliggo Aisha Nuluyati owa DP yagguddewo omusango ku Aisha Sekindi mu kkooti enkulu ku bigambibwa nti Sekindi teyalina bisaanyizo by'okusoma byetaagisa ku kifo ky’omubaka wa Palamenti omukyala (MP) kye yalondebwa. Wadde nga bino byogerwako, Sekindi yalangirirwa ng’omubaka omutuufu omukyala owa Disitulikiti y’e Kalungu oluvannyuma lw’okulonda kwa 2016. Mu March 2023, erinnya lya Aisha Sekindi era lyafulumizibwa nga lyekuusa mu mabaati ge Karamoja agabibbwa, ng'omu ku babaka 30 aba Palamenti (ababaka ba Palamenti) abaali bakwatibwako. Emivuyo gino gyabaddemu ebigambibwa nti ensimbi ezaali zigendereddwamu okugula n’okugabira abantu abawejjere mu bitundu by’e Karamoja mu Uganda. [2]

Laba ne[kyusa | edit source]

Ebijulizidwa[kyusa | edit source]

  1. Cite error: Invalid <ref> tag; no text was provided for refs named :1
  2. Cite error: Invalid <ref> tag; no text was provided for refs named theafricareport.com

Ebiyungo eby’ebweru[kyusa | edit source]