Jump to content

Alengot Oromait

Bisangiddwa ku Wikipedia

 

Alengot Oromait
omuntu
Ekikulamukyala Kyusa
Ensi y’obutuuzeYuganda Kyusa
Yazaalibwa nga1 Gusooka 1993 Kyusa
Gy'azaalwaKatakwi Kyusa
Ennimi z'amanyiLungereza Kyusa
Omulimumunnabyabufuzi Kyusa
Ekifo ky'alimumubaka wa palamenti, Omubaka wa Palamenti ya Uganda Kyusa
Ebbanga ly'akoledde (okutandika)2012 Kyusa
Mmemba w’ekibiina ky’ebyobufuziEkibiina kya National Resistance Movement Kyusa

Proscovia Alengot Oromait yazaalibwa mu gwoluberyeberye nga 1 1993 Munnayuganda, muyizi mu Yunivasite era munnabyabufuzi. Yaweereza ng'omubaka wa Paalamenti (MP) ow'e Ssaza lya Usuk, mu Disitulikiti y'e Katakwi okuva mu 2011 okutuuka mu 2016. Ng'aweza emyaka 19, ye yali omubaka asinga obuto mu Paalamenti ya Uganda[1] ne ku Ssemazinga wa Afirika.[2]

Yazaalibwa mu Disitulikiti y'e Katakwi nga 1 Ogwoluberyeberye 1993. Kitaawe, Michael Oromait, yaweereza ng'omubaka wa Paalamenti ku kifo kye kimu nga tannafa nga 21 Ogwoluberyeberye 2012.[3]

Yamaliriza emisomo gye egya siniya ey'omukaaga ku St. Kalemba Senior Secondary School mu Disitulikiti y'e Kayunga mu gwokumunebiri 2011.[4] Yaweebwa ekifo mu Uganda Christian University e Mukono, okutandika mu gwomunaana 2012.[5]

Obumanyirivu mu mirimu

[kyusa | kolera mu edit source]

Oluvannyuma lw'okufa kwa Kitaawe, Alengot Oromait yasalawo okuvuganya mu kulonda kwa National Resistance Movement okudda mu kifo kya kitaawe, eyali aweereza nga talina kibiina. Yawangula empaka z'okusunsulwamu era mu kulonda okw'awamu mu gwomwenda 2012, yaziwangula n'ebitundu 54.2% eby'okulonda. Asuubirwa okukwasaganya okusoma kwe okw'omutendera n'emirimu gye egy'obukiise mu lukiiko lw'eggwanga okumala emyaka esatu egiddako.[6]

Ebimukwatako eby'omunda

[kyusa | kolera mu edit source]

Alengot Oromait ssi mufumbo era ali mu kibiina kya National Resistance Movement, ekibiina ky'eby'obufuzi ekiri mu buyinza mu Uganda. Akola ku nsonga nga ez'obutonde bw'ensi, eby'enjigiriza, enkola z'ebyobulamu n'ensonga z'ekikula ky'abantu. Omu ku basomesa be ye Jessica Alupo, eyali Minisita ow'ebyenjigiriza era nga mubaka wa Paalamenti (MP) akiikirira abakyala aba Disitulikiti y'e Katakwi.[7] [8]

Ebijuliziddwa

[kyusa | kolera mu edit source]
  1. http://www.monitor.co.ug/News/National/MP+at+19+++Alengot+writes+history/-/688334/1506628/-/mbbij7z/-/index.html
  2. https://web.archive.org/web/20140519064810/http://www.newvision.co.ug/news/635260-oromait-is-youngest-mp-in-africa.html
  3. https://web.archive.org/web/20140519065027/http://www.newvision.co.ug/news/633217-michael-oromait-mp-katakwi-passes-on.html
  4. http://www.newvision.co.ug/news/635524-alengot-s-victory-excites-teachers-at-former-school.htm
  5. https://www.voanews.com/a/in-uganda-mixed-reactions-to-africas-youngest-mp/1512624.html
  6. https://web.archive.org/web/20140519065414/http://www.newvision.co.ug/news/650419-mp-alengot-on-forbes-list-of-most-powerful-women.html
  7. Wandera, Dennis; Namusimni, Esther (2 October 2012). "Alengot, 19 Year Old MP Joins UCU". The Standard (Uganda Christian University). Archived from the original on 19 May 2014. Retrieved 18 May 2014.
  8. Wandera, Dennis; Namusimni, Esther (2 October 2012). "Alengot, 19 Year Old MP Joins UCU". The Standard (Uganda Christian University). Archived from the original on 19 May 2014. Retrieved 18 May 2014.

Ebijuliziddwamu wabweru wa Wikipedia

[kyusa | kolera mu edit source]