Amaggunju
| Subclass of | Ugandan folk dance | |
|---|---|---|
| Culture | Baganda | |
| Egwanga | Yuganda | |
| Country of origin | Yuganda | |
Amazina Amaggunju ga kinnansi era gazinibwa mu Baganda, olubu lw'abatu olusinga obunene mu Uganda . [1] [2] Amazina gano gazinibwa ku mikolo emikulu nga okutuuza kabaka ku Nnamulondo, embaga, n’emikolo emirala egy’obuwangwa. [3] Ebikulu ebimanyiddwa ku mazina gano, y'engeri y'omudigido n'amaanyi amazina gano bwe gazinibwamu, nga gazinibwa abazinyi abasajja n’abakazi. [3] [4]
Ebyafaayo
[kyusa | kolera mu edit source]Amazina ga Amaggunju gasibuka mu Baganda era galina amakulu ga'maanyi kuba gaasooka kuyiiyizibwa mu lubiri lwa kabaka. [5] Ebyafaayo by’amazina gano biraga nti gatandikira mu mwaka gwa 1582, ku mulembe gwa Ssekaabaka Mulondo . Yakirira ezzirakkumwa nga talese musika yenna newankubadde nga mu kiseera ekyo bakyalabe abawerako baali mbuto. Abalaguzi n'abasamize bagezaako okuteebereza ku bakyala bano abaali embuto ani yali alina olubuto lw'omwana omulenzi olw'ensonga nti kyali kikontana n'obuwangwa omwana omuwala okutuula ku Nnamulondo.[6][5]
N’ekyavaamu, omu ku bakyala bakabaka, eyali asuubira omwana omulenzi, yatuuzibwa ku ntebe, era abantu bo bakitwala nti omwana eyali mu lubuto yeyali afuga mu kifo kye. Omulangira bwe yazalibwa yatandikirawo obukulembeze. [5] Abaganda bakiriza nti Kabaka talina kulukusa maziga, anti kiwanuzibwa nti kireeta ebikolimo mu bwakabaka. N’olwekyo, okusobola okulaba ng'omulangira asigala musanyufu n’okwewala okukaaba, ba kojja ne bassenga b’omulangira bateekanga endege ku magulu gaabwe okwetaba mu mazina agasanyusa omulangira. [5] [7] Amazina gano agamanyibwa nga ‘amaggunju’, mu kusooka gaali gazinibwa abantu ab’ekika ky‘Obutiko’ (Obutiko) era nga gazinibwa nga mu lubiri mwokka. Mu mulembe guno amazina gano geeyongedde okusaasaana, ng’abantu bangi aba bulijjo bagetaba mu. [5]
Emitendera gy'amazina n'okuyimba
[kyusa | kolera mu edit source]Amazina gano gakolebwa ekibinja ky'abazinyi abatambula mu ngeri ey'enkulungo okwetoloola abakubi b'engooma . Amazina gano gamanyiddwa olw’entambula zaago ez’amaanyi n’ennyimba ezikwatagana obulungi n’abazinyi abasajja n’abakazi. Bakwatagana entambula y’ebigere n’entambula y’emikono n’okuvuga kw’engooma. [8]
Ebivuga ebikubibwa
[kyusa | kolera mu edit source]Amazina gano gawerekerwako n'ebivuga eby’enjawulo, nga obugoma,engoma ennene ez’amaloboozi ag’enjawulo, engalabi n'ensaasi. Engoma zikubibwa mu ngeri ey’ennyimba ezikwatagana ezituukana n’entambula z’abazinyi. Ensaasi zikubibwa okwongera okunyumisa omuddigiddo.[3][8]
Amakulu
[kyusa | kolera mu edit source]Amazina gano makulu nnyo mu buwangwa bw\'a Baganda era gayitibwa mazina gabwakabaka. Amazina gano gazinibwa ku mikolo egy’amaanyi ng’okutuuza Kabaka ku Nnamulondo n’embaga, olw'engeri gye gabiibizibwamu n'enkuba y'engoma esikiriza, amazina gano ag'abalangira gabiibizibwa ku buli mukolo omukulu ogw'obuwangwa ogw'ekitiibwa nga gakola ng’ekkubo eri Abaganda okujaguza eby’obuwangwa byabwe eby’obugagga n’okukuuma empisa zaabwe eri emirembe egijja. Kiyimiridde ng’obujulizi ku nnono za bajjajjaabwe ez’Abaganda. [8][8]
Laba ne
[kyusa | kolera mu edit source]- Baganda music
Ebijuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]- ↑ "Cultural dance: Celebrating unity in diversity". New Vision (in Lungereza). Retrieved 2024-01-23.
- ↑ "Why we dance the way we do". Monitor (in Lungereza). 2021-01-04. Retrieved 2024-01-23.
- 1 2 3 "Amaggunju dance -- [Digital Collection of East African Recordings]". diglib.library.vanderbilt.edu. Retrieved 2024-01-23.
- ↑ "Akadinda Traditional Dances". akadinda1.tripod.com. Retrieved 2024-01-23.
- 1 2 3 4 5 "Music & Dance in Buganda Culture – BEING AFRICAN" (in American English). Archived from the original on 2023-11-30. Retrieved 2024-01-23.
- ↑ "Why we dance the way we do". Monitor (in Lungereza). 2021-01-04. Retrieved 2024-01-23.
- ↑ Thoughts, Angel's (2016-07-27). "WHEN UGANDANS DANCE". AngeI'S THOUGHTS (in Lungereza). Retrieved 2024-01-23.
- 1 2 3 4 Lubwama, Godfrey (Sep 2020). "Visual Narratives of Traditional Royal Dances in Uganda: A case of claymated Amaggunju Dance" (PDF). Kyambogo University. Archived from the original (PDF) on 2024-01-23. Retrieved 2024-01-23.