Anne Mary Kobugabe Tumwine
Anne Mary Kobugabe Tumwine (yazaalibwa 9 September 1973) munyuganda Omusomesaera munnabyabufuzi era Omubaka Omukyala mu Palamenti ya Uganda ey'ekkumi n'ekkumi n'ekimu ng'omukiise okuva mu disitulikiti y'e Ntoroko era nga yeegatta ku kibiina ky'ebyobufuzi ekya National Resistance Movement .
Gyenvudde n'okusoma
[kyusa | edit source]Yatandika okusoma mu 1990 era n’afuna ebigezo bye ebya Pulayimale Leaving Examinations (PLE) okuva mu St. Peter and Paul Primary School oluvannyuma n’afuna Uganda Certificate of Education (UCE) mu 1995 okuva mu St. Maria Gorretti, Fort Portal. Yafuna satifikeeti mu by’okuddukanya wooteeri n’ebitongole mu YWCA mu 1996 olwo n’afuna dipulooma eya bulijjo mu by’obusuubuzi okuva mu yunivasite y’e Ndejje mu 2003. Mu 2005 era yafuna satifikeeti mu by'okuddukanya ofiisi za Gavumenti mu yunivasite y'e Makerere ne diguli esooka mu by'obusuubuzi okuva mu Bishop Stuart University, Mbarara mu 2012.
Emirimu
[kyusa | edit source]Mu 1997–2000 yali Receptionist/Cashier mu Nile Hotel international omukungu w’okutunda n’okulabirira bakasitoma mu Excel logistics 2000–2006. Mu 2007,2008 ne 2009 yali dayirekita w’essomero lya Ebenezer Hope Primary School, Nakivale Hope Primary School ne Trust Primary School, Mbarara era kati ye nga ye Project Administrator mu RWCA/Trust Children Centre.
Emirimu gy’eby'obufuzi
[kyusa | edit source]Yali mukyala mubaka wa Palamenti ya Uganda ey'ekkumi ng'omukiise okuva mu disitulikiti y'e Ntoroko era nga yali mu kibiina kya National Resistance Movement . Ye mukyala omubaka wa palamenti eyalondebwa mu Palamenti ya Uganda ey’omulundi ogwa 11 okuva mu disitulikiti y’e Ntoroko mu mwaka gwa 2021–2026.
Obulamu bwe
[kyusa | edit source]Yafumbirwa Omutume Willy Tumwine ow’ekkanisa ya Holy Spirit Fire esangibwa mu kibuga Mbarara. Omutume Tumwine mutuuze w’e Rwanyamehembe mu ggombolola eya Kashari- disitulikiti eye Mbarara era Okusomesa abavubuka; embeera z'abakyala n’okulungamizibwa bye bimu ku by’ayagala ennyo.
Laba ne
[kyusa | edit source]- Olukalala lw’abakiise mu Palamenti ya Uganda ey’ekkumi n’emu
- Olukalala lw'abakiise mu Palamenti ya Uganda ey'ekkumi
- Ekibiina ky’eggwanga eky’okuziyiza
- Disitulikiti y’e Ntoroko
- Palamenti ya Uganda