Annet Nandujja
Annet Nandujja Munnayuganda omuyimbi ow'ennyimba z'ekinnansi, muwandiisi wa nnyimba era muzinyi.[1][2][3] Ayimba mu lulimi Luganda[4] era ayimba n'ekibinja kye ekiyitibwa, The planets.[5]
Ebyafaayo bye
[kyusa | edit source]Nandujja yazaalibwa mu 1959, ku kyalo Kanoni mu Disitulikiti y'e Ggomba eyakutulwa ku Disitulikiti y'e Wakiso. Yakulira ku kyalo Kibinge ekisangibwa mu Disitulikiti y'eMasaka.[6] Bbandi ya planets yagitondawo ng'ali wamu ne Kiyimba Musisi wamu ne Erasmus Ssebunya ku ntandikwa y'emyaka gya 1990. Ekibinja kino kati kirimu bammemba: abayimbi n'abazinyi abasoba mu 45.[7] Bayimba n'okuzina nga bakozesa ebivuga eby'ekinnansi ebya Buganda.[8]
Awaadi z'azze awangula
[kyusa | edit source]Aba 'The Planets' mu 2005 baawangula engule ya bbandi esinze okuyimba ennyimba z'ekinnansi mu mpaka za Pearl of Africa Music Awards. Nandujja yawangula awaadi ye eyasooka mu 2018 mu mpaka za National Cultural Heritage Awards.[7] Yawangulira mu awaadi y'ebyobuwangwa era n'asiimibwa olw'okuyamba okukuuma amazina amaganda omuli aga Bakisimba, Aamaggunju ne Nankasa.[9]Alubaamu ze mulimu eya "Etooke", "Obufumbo bwaleero", "Akalagaane Kukuuma Butonde" ne "Tuli mu kuzunga".[10][11]
Ezimu ku nnyimba ze
[kyusa | edit source]- Etooke
- Obufumbo bwaleero
- Tulimukuzunga
- Akalagaane Kukuuma Butonde
Ebijuliziddwamu
[kyusa | edit source]- ↑ https://allafrica.com/stories/200903270133.html
- ↑ https://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1455962/musevenis-dance-nandujja
- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2022-11-13. Retrieved 2022-11-13.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ https://www.musicinafrica.net/magazine/three-women-who-defined-traditional-music-east-africa
- ↑ https://books.google.co.ug/books?id=rMnkcZsv_eEC&pg=PA131&lpg=PA131&dq=annet+nandujja+and+the+planets&source=bl&ots=rdO-jRJOwU&sig=9eSIe6ZB-EEpaf4RkgIACjKSAJQ&hl=en&sa=X&ved=2ahUKEwiCr57dsercAhVMWxoKHZRICnc4HhDoATABegQICRAB#v=onepage&q=annet%20nandujja%20and%20the%20planets&f=false
- ↑ http://www.monitor.co.ug/Magazines/Life/The-hobby-that-got-her-canes-now-earns-Nandujja-bread/689856-1486530-w4bqfc/index.html
- ↑ 7.0 7.1 "Nandujja fine-tunes her drums for gala" March 27, 2009 observer.ug. Retrieved August 13, 2018.
- ↑ https://www.musicinafrica.net/directory/annet-nanduja-and-planets
- ↑ https://www.theeastafrican.co.ke/magazine/2018-cultural-heritage-awards-winners-named/434746-4591188-whfmdv/index.html
- ↑ "Nandujja wins hearts with traditional beat" Monday October 8 2007 monitor.co.ug. Retrieved August 15, 2018.
- ↑ "Nandujja launches her 6th album" October 25, 2012 observer.ug. Retrieved August 15, 2018.