Assumpta Nnaggenda-Musana

Bisangiddwa ku Wikipedia

Assumpta Nnaggenda-Musana (oba Assumpta Nnaggenda), era nga ye Assumpta Nnaggenda Musana, munayuganda eyakuguka mu kukuba pulaani z'ebizimbe, mukugu mukuteekerateekera ebibuga era munabyanjigiriza akola nga Omusomesa mu Department of Architecture and Physical Planning, mu College of Engineering, Design, Art and Technology, ku Yunivaasite eye Makerere, yunivasite y'eggwanga esinga obunene mu Uganda. Ye mukyala eyasooka mu Uganda okufuna diguli ey'okusatu mu by'okuzimba, era okuva mu Gwokubiri 2019, ye yekka.

Ebyafaayo n'obuyigirize[kyusa | edit source]

Yazaalibwa Grace Nnaggenda, omusonyi w'engoye ne Pulofeesa Francis Nnaggenda eyamanyibwa okusiiga n'okubumba ebifaananyi. Abazadde bombi baasulanga Mengo, mu Kampala, ekibuga ekikulu ekya Uganda.

Yasomera mu Nakasero Primary School omutendera gwe ogwasooka. Mu kusoma O-Level, yagenda ku Trinity College Nabbingo, mu disitulikiti eye Wakiso.. Yamaliriza emisomo ku daala erya A-Level ku Makerere High School, gye yafuna dipulooma ye mu High School, mu 1988.

Atendereza bazadde be, naddala kitaawe, olw'okumuzzaamu amaanyi ng'akolanga olutindo weyakozeseza ekitone kye eky'okusiiga n'akifuula eky'okukuba pulaani z'ebizimbe. Mu myaaka egya 1980 tewaaliwo masomo gaakukuba pulaani mu yunivaasite ze Uganda. Kitaawe yamukubiriza okusaba sikaala. Mu 1989, yafuna sikaala okusoma mu Soviet Union,era yaweebwa ekifo mu Kharkov State University of Civil Engineering and Architecture, kati eyitibwa Ukraine. Mu 1994, yafuna diguli esooka mu Sayansi mu kukuba pulaani z'ebizimbe. Omwaka ogwaddako, yunivaasite y'emu yamuwa diguli ey'okubiri mu Sayansi.

Oluvannyuma, yaweebwa ekifo mu KTH Royal Institute of Technology, mu Stockholm, Sweden, ku sikaala okuva mu Swedish International Development Cooperation Agency. Eyo gye yafunira diguli ku mitendera egy'eby'enjigiriza gyonna mu kuteekerateekera ebibuga mu 2004. Oluvannyuma lw'emyaka ena, yaweebwa diguli ey'okusatu mu mbeera y'eneeyisa z'abantu mu kuteekerateekera ebibuga n'obutonde bwensi, omuyala munayuganda eyasooka okutuuka ku buwanguzi obwo. Okusoma kwe mu Swedish Royal Institute of Technology, kwazingiramu okunoonyereza mu "bitundu ebitalina buyinza" mu Uganda ne Kenya. Alina obukugu mu byalo by'omu bibuga eby'enkalakkalira n'enteekateeka z'okuzimba amayumba ag'ebbeeyi entonotono mu mawanga agakyakula.

Emirimu[kyusa | edit source]

Mu 1995, oluvannyuma lw'okumaliriza diguli ye ey'okubiri, yakomawo mu Uganda n'apangisibwa aba Land Plan Group, ekitongole ekikola ku by'okukuba pulaani z'ebizimbe, ng'omuyiga w'eby'okuzimba. Era yakolanga ng'omusomesa ow'ekiseera ekitono mu Department ey'okukuba pulaani z'ebizimbe mu Makerere University. Mu 2002, yunivaasite yamukozesa ng'omuyambi w'omusomesa.

Bwe yatikkirwa diguli ey'okusatu, yakuzibwa nafuulibwa omusomesa ajjudde mu 2008. Ayogeddenga ku nsonga y'okuteekawo amayumba agasobokwa eri abateesobola era n'akubiriza gavumenti ya Uganda n'akakiiko aka Kampala City Council (kati akasikizibwa Kampala Capital City Authority ), ke yavunaana olw'obulyi bw'enguzi n'obutaba na busobozi, okukola obulungi okulwanyisa omuggotteko.

Okunoonyereza kwe kulaga nti ennyumba ez'ebbeeyi entonotono zandibadde zisinga okwettanirwa okusinga ennyumba ezitali za beeyi nga zirina ebisenge ebiwerako. Kino kiyamba ku nkozesa y'ettaka obulungi n'okuyamba abantu okubeera mu bifo ebituukamu emirimu era nga kyetaagisa ensaasanya ntono kubibera bizimbibwa. Ebiteeso bye biyinza okuba ekitundu ky'enkola y'okuyamba ennyumba ez'ebbeeyi entono ng'okozesa endowooza z'abantu b'omu kitundu n'obumanyirivu obw'omumutwe n'emikono, okusinziira ku Pulofeesa Emeritus Dick Urban Vestbro owa KTH. Y'abadde akulira ttiimu ya yunivasite ekola ebinaabiro ebitambuzibwa nga bya lukale mu bibuga,ebitundu eby'omugotteko awamu n'ebifo ebirina eby'obuyonjo ebitali birungi.

Amaka[kyusa | edit source]

Assumpta Nnaggenda-Musana yafumbirwa Daniel Musana, nga naye mukubi wa pulaani z'ebizimbe nga bombi balina omwana omu Joshua Musana, era bombi balina omwana omu, Joshua Musana.

Ebirala ebitunuulibwa[kyusa | edit source]

Ng'oggyeko obuvunaanyizibwa mu by'enjigiriza, Dr Assumpta Nnaggenda-Musana muwi w'amagezi eri ekitongole ekiteekerateekera eggwanga ekya National Planning Authority era yeenyigidde mu nteekateeka y'enkulaakulana y'eggwanga.

Ebyawandiikibwa[kyusa | edit source]

Enkolagana ez'ebweru[kyusa | edit source]