Bakisimba
| Subclass of | Ugandan folk dance |
|---|---|
| Culture | Baganda |
| Egwanga | Yuganda |
| Country of origin | Yuganda |
Amazina ga Bakisimba agabiibizibwa wamu ne Nankasa oba Muwogola mazina ga kinnansi agasibuka mu Baganda mu Bwakabaka bwa Buganda mu masekkati ga Uganda . [1] [2] gakkirizibwa okuba nga gaasibuka mu ntambula za Kabaka Ssuuna owa Bwakabaka bwa Buganda eyali atamidde . [3] [4]Amazina gano gaasooka kuzannyibwa mu Lubiri lwa mu biffo by'abalangila babuganda mu biseera eby’edda nga galina obukulu obw’amaanyi mu by’obuwangwa n’embeera z’abantu mu kitundu era gatera okubiibizibwa mu mikolo gy’ebika, ebikujjuko, n’emikolo gy’ennaku enkulu. [3] [5] [6]
Ebyafaayo
[kyusa | kolera mu edit source]Ensibuko y’amazina ga Bakisimba elondolwa okuva mu byasa ebiwerako emabega, era emirandira gyago gisimbye nnyo mu nnono z’Abaganda . Amazina gano gabadde kitundu kikulu mu buwangwa bwa Baganda okumala ebyasa. Gani g'egamu ku mazina g'ekinnansi agasinga okumanyibwa era agasinga okukolebwa mu Uganda . [7] Kiteeberezebwa nti amazina gano gasibuka mu ntambula za Kabaka Ssuuna owa Buganda Kingdom eyali atamidde . Mu kusooka gaali mazina ga mubiffo by'abalangila babuganda mu biseera eby’edda era kirowoozebwa nti amazina gano gaasooka kukolebwa kussa kitiibwa mu mizimu ne bajjajja, nga banoonya emikisa n’obukuumi okuva gye bali. Ekiseera bwe kigenze kiyitawo, gazze g'eyubula negafuuka akabonero ak’obumu, ekitiibwa, n’okukuuma obuwangwa. [8]
Engeri amazina gano gye gabiibizibwamu
[kyusa | kolera mu edit source]Amazina ga Bakisimba gamanyiddwa olw’entambuza y'ekiwato ey’amaanyi, omudigido n'entambuza y'ebigere ey'amaanyi ebikolebwa abasajja n’abakazi. Abazinyi batera okukola omwetoloolo nga buli muzinnyi afunayo akadde okugenda mu makkati okwolesa obukugu bwe mu mazina nga abalala bakuba mu ngalo, okuyimba n’okubawerekeza ebivuga. Amazina gano galimu obubonero obw’enjawulo obw’emikono, okubuuka n’okutambuza ekiwato nga kino kiletawo okunyumisa n'aokusamaliriza abalabi nga guwerekerwako ebivuga eby’enjawulo nga ensaasi, engalabi n’engooma ez’enjawulo nga empuunyi, Nankasa n'embuutu. [7]
Amakulu n’omugaso gw’obuwangwa
[kyusa | kolera mu edit source]Amazina ga Bakisimba galina omugaso mu buwangwa bwa Baganda ogutagambika.[9] Gakola ng’engeri y’okunyumya emboozi, okulaga empulira y'omuntu, n’okujaguza ebikulu ebituuse ku bulamu bw’abantu ssekinnoomu oba ekitundu okutwaliza awamu. Amazina gano galimu omwoyo gw’okubeera awamu, okutumbula enkolagana, n’okunyweza omukwano wakati w’emirembe egy'enjawulo. Era gakola ng’ensibuko y’endagamuntu, okusobozesa abantu b’omu kitundu okukwatagana n’obusika bwabwe n’okukuuma ennono zaabwe ez’obuwangwa.
Amaanyi
[kyusa | kolera mu edit source]Amazina ga Bakisimba makulu nnyo mu buwangwa bwa Baganda . Gakolebwa ku mikolo egy'enjawulo gamba ng’embaga, okutuuza Kabaka ku Nnamulondo, n’emikolo emirala egy’obuwangwa. Amazina gano era gakozesebwa okujaguza sizoni y’amakungula. Amazina gano kirowoozebwa nti galeeta emikisa n’okugaggawala mu kitundu. Mu myaka egiyise, amazina ga Bakisimba gafunye ettutumu okusukka abantu ba Buganda era gafuuse ekitundu ekikulu mu by’obuwangwa bya Uganda. Gatera okubiibizibwa ku mikolo gy’Eggwanga, ku bikujjuko by'ensi yonna, ne ku myoleso, nga gakiikirira eby’obuwangwa by’Eggwanga lino eby'enjawulo. Amazina gano era gasikirizza abayimbi ab’omulembe guno, abakozesa amaloboozi ga Bakisimba mu nnyimba zaabwe, ne bongera okugabunyisa.
Ebijuliziddwa
[kyusa | kolera mu edit source]- ↑ "Off to dance". New Vision (in Lungereza). Archived from the original on 2022-04-28. Retrieved 2024-01-09.
- ↑ "Traditional Dance of the Uganda people - text in English". www.face-music.ch. Retrieved 2024-01-12.
- 1 2 "Traditional Dances of Uganda - Popular Dances | Guide to Uganda" (in American English). 2017-08-26. Archived from the original on 2023-06-25. Retrieved 2024-01-09.
- ↑ https://www.guidetouganda.com/about-uganda/culture/traditional-dances/
- ↑ Nannyonga-Tamusuza, Sylvia A. (2005). Baakisimba: gender in the music and dance of the Baganda people of Uganda. Current research in ethnomusicology. New York: Routledge. ISBN 978-0-415-96776-1. Archived from the original on 2024-01-10. Retrieved 2024-01-09.
- ↑ "Bakisimba dance inspired by the drunkard's quick steps". Monitor (in Lungereza). 2021-01-05. Archived from the original on 2024-01-10. Retrieved 2024-01-09.
- 1 2 Makanga, Samuel (2014-03-19). "The Baganda Bakisimba Traditional Dance - Uganda safaris News". Prime Uganda Safaris (in American English). Archived from the original on 2024-01-10. Retrieved 2024-01-09.
- ↑ "Why we dance the way we do". Monitor (in Lungereza). 2021-01-04. Archived from the original on 2024-01-07. Retrieved 2024-01-09.
- ↑ "Rhythms that beat with true Ugandan spirit". New Vision (in Lungereza). Archived from the original on 2022-04-28. Retrieved 2024-01-09.
Soma Ebisingawo
[kyusa | kolera mu edit source]- Smith, Yokaana. "Amazina ga Bakisimba: Okukuza eby'obuwangwa by'Abaganda". Journal of Okunoonyereza ku Afirika . 42 (2): 45-62.
- Johnson, Maria, ne muwandiisi w’ebitabo. "Ennono mu ntambula: Enkulaakulana y'amazina ga Bakisimba." Olukungaana lw’ensi yonna ku kukuuma eby’obuwangwa, 2017, pp. 123-136.
- Ntanda, Yusufu. "Amakulu g'amazina ga Bakisimba mu Baganda." Journal of Okunoonyereza ku by’obuwangwa bwa Afirika, vol. 28, nnamba. 4, 2015, olupapula 89-102.
- Ennyimba N'amazina Ez'ekinnansi Okuva mu Africa okuva eri Adzido