Buddu

Bisangiddwa ku Wikipedia
Buddu
County
CountryUganda
RegionCentral

Buddu ssaza mu bwakabaka bwa Buganda obusangibwa mu ggwanga lya Uganda.

Obusange[kyusa | edit source]

Essaza lya Buddu lisangibwa mu bukiikakkono-ggwanjuba (Northwest) bw'ennyanja Nnalubaale mu masekkati ga Uganda. Omugga Katonga gwe gwawula essaza lya Buddu ku bitundu bya Buganda ebirala. wadde ng'embeera y'obudde y'emu. Lirina ettaka eggimu era nga lyalina abantu abawerako mu kiseera Buganda mwe yaliwambira ku nkomerero y'ekyasa ky'ekkuminoomunaana. [1] Mu mwaka gwa 2010, Buddu yayawulwamu ddisitulikiti nnya: ddisitulikiti ya Bukomansimbi, ddisitulikiti ya Kalungu, ddisitulikiti ya Lwengo ne ddisitulikiti ya Masaka. Akaseera kano Buddu ezingiramu ddisitulikiti ya Bukomansimbi, Lwengo, Kalungu, Masaka ne Kyotera (eyali mu ddisitulikiti ya Rakai).

Ekitundu ekibeeramu Abaganda[kyusa | edit source]

Ku nkomerero y'ekyasa ky'ekkuminoomunaana, Kabaka Jjunju owa Buganda (r. 1780 - 1797) yawangula eggye lya Bunyoro n'awamba Buddu, ekyali ekitundu kya Bunyoro. Buddu ly'essaza eryasembayo okuwambibwa Buganda ng'Abazungu tebannajja.[2] Mu 1892, Buddu ly'essaza mu bwakabaka bwa Buganda eryali likira ku masaza amalala mu byenkulaakulana.[3] Olutalo wakati w'abawagizi b'abakatuliki n'abo abaali bawagira abangiriiko lwayinda mu Uganda mu mwaka ogwo. Abawagizi b'abakatuliki baawangulwa era ne kiba nga baalina okudda mu ssaza lya Buddu.[4]

Uganda yafuuka ettwale lya Bungereza mu1893.[5] Kino nga kiwedde, Abangereza batta ku bigere ku nsonga ezeekuusa ku Kabaka Mwanga II owa Buganda.[6] Mu Gwomusanvu 1897 Abangereza baakitegeera nti waaliwo okwegugunga okwali kulukiddwa naye oluvannyuma Mwanga n'asalawo obutalwenyigiramu, yogaayoga ng'addukidde Buddu. Omuntu omulala yatuuzibwa ku nnamulondo wadde nga Mwanga yalina abawagizi abawerako abaali bawakanya obufuzi bw'abaamatwale. [7] Mu Gwekkumineebiri 1897 waaliwo akanyoolagano mu Buddu n'oluvannyuma ne kafuuka akeegugungo nga wayiseewo omwaka gumu. Mwanga oluvannyuma yawanika mu Gwokuna gwa 1899.[6]

Omulimu gw'okubunyisa obukatuliki[kyusa | edit source]

Amangu ddala ng'olutalo luwedde mu 1892, omuminsani omu ku ludda lw'abakatuliki amanyiddwa nga Henri Streicher yatandikawo ekitebe ky'e Villa Maria mu Buddu okusobola okubunyisa enzikiriza y'ekikatuliki.[4] Ku nkomerero y'Ogwokutaano 1892 Antonin Guillermain n'abaminsani abalala babiri baatandikawo ekitebe ekirala ekimanyiddwa nga Notre-Dame de l'Equateur mu Buddu, ekitunuuliraganye n'ekizinga Ssese mu bukiikakkono bw'ennyanja Nalubaale.[8] Mu mwezi Gwokubiri 1897, Streicher yafuulibwa vviika w'omu bukiikakkono bw'e Nyanza (Vicar Apostolic of Northern Victoria Nyanza).[9] Ekitebe kye ekikulu yakissa e Villa Maria.[4] Abakungu bonna abaali bakyuse ne badda mu bukatuliki badda mu Buddu, olwo Streicher n'aba nga ye mukulembeze eyali abatwala. Ekyambalo kya Streicher kyaliko amabala agafaanana n'ago agabeera ku kyambalo ky'abaana b'eŋŋoma. Abakungu baaweerezanga abaana baabwe ne baweereza ng'abambowa mu kkooti ye.[4]

Mu mwaka gwa 1902, ekibiina ky'abasiisita kyatandika omulimu gwakyo mu Buddu. Omwaka gwa 1907 gugenda okutuuka ng'abawala 140 bamaze okukyusibwa era ng'abamu baagala na kufuuka banaani. Ekigo kyazimbibwa mu mwaka gwa 1908 ate mu 1910 ne tufuna abakazi abasatu abaasooka okufuuka abanaani. Omwaka gwa 1926 gugenda okutuuka ng'ekigo ekyo (ekyalina ekitebe ekikulu mu Buddu) kikuleberwa munnayuganda, Mama Cecilia Nalube (Mother Ursula.) era nga ye munnayuganda eyasookera ddala okufuna ekifo ekyo [10] Buddu yafuuka entabiro y'obukatuliki mu Africa. Ssaabasumba omuddugavu eyasookera ddala era eyatikkirwa mu mwaka gwa 1939, yali w'e Buddu.[11]

Ebijulizo[kyusa | edit source]