Charles Peter Mayiga

Bisangiddwa ku Wikipedia

  Charles Peter Mayiga (Yazaalibwa nga 1962) Munnayuganda, Munnamateeka, Mukulembeze mu Bwakabaka era muwandiisi wa bitabo. Ye katikkiro wa Gavumenti ya Kabaka eya Buganda, nga buno Bwakabaka obuli mu Ssemateeka wa Uganda eriwo. Mayiga okutuuka mu kifo kino yalondebwa Ssaabasajja Kabaka wa Buganda, aliko,Ronald Muwenda Mutebi II, mu Gwokutaano 2013, ng'adda mu bigere bya John Baptist Walusimbi.[1][2]

Ebimukwatako[kyusa | edit source]

Charles Peter Mayiga yazaalibwa mu kyalo ky'e Kasanje, mu muluka gw'e Kabonera, mu Disitulikiti y'e Masaka, mu Masekkati ga Uganda. Bazadde be ye Ssaalongo Cyprian Mukasa ne nnyina Nnaalongo Rebecca Kyese Mukasa. Yasomera Butale Primary School ne mu Nkoni Primary School. Eddaala lya Siniya erya wansi yalisomera mu St. Henry's College Kitovu. Kyokka oluvannyuma ne yeegatta ku St. Mary's College Kisubi gye yatuulira S6. Alina Diguli mu mateeka eya Bachelor of Laws (LLB), gye yafunira mu Makerere University, Yunivasite ya Uganda esinga obunene n'obukadde mu za Gavumenti. Alina ne Dipuloma mu kukola amateeka eya Diploma in Legal Practice, gye yasomera ku ttendekero ly'ebyamateeka erya Law Development Center, mu Kampala, ekibuga kya Uganda ekikulu.[3]

Emirimu gye[kyusa | edit source]

Okuva mu 1987, Mayiga abadde akolera wamu n'abantu abakulu mu Bwakabaka bwa Buganda, era abeebuuzibwako eby'ensonga ekyamuyamba ennyo okumanya n'okutegeera ennono n'empisa mu Buganda.

Nga 4 Ogwomusanvu 1991, ng'Obwakabaka bwa Buganda bwetegekera okuzzibwawo, Mayiga yalondebwa okubeera omuwandiisi w'olukiiko lw'abakulu abaalondebwa okuteekateeka n'okuzzaawo ennono z'Obuwangwa bw'Abaganda n'Okuzzaawo obukulembeze bw'Obwakabaka. Oluvannyuma ekitiibwa kino kyakyuka n'afuuka omuwandiisi ssetteeserezo wa Buganda ayitibwa Lukiiko oluvannyuma lw'okuzzibwawo kw'Obwakabaka. Obwakabaka bwe bwazzibwawo mu 1993, Mayiga yalondebwa okubeera Minisita w'amawulire era omwogezi w'Obwakabaka omutongole. Yaweereza mu kifo kino okutuusa lwe yalondebwa ku Bwatikkiro wa Buganda mu Gwokutaano, 2013.[4][5]

Nga tannalondebwa nga Katikkiro, Mayiga yali agaanyi ebifo ebisukka mu bibiri (2) ebyali bimuweereddwa mu Gavumenti eya wakati - Gavumenti ya Uganda.[6]

Ebimukwatako eby'omunda[kyusa | edit source]

Mayiga munnamateeka mu kkampuni ya Buwule and Mayiga Company Advocates, esangibwa mu Kampala, ekibuga kya Uganda ekikulu era ekibuga ekisinga obunene mu Uganda. Yawasa Margaret Mayiga, eyasomerako ku Trinity College Nabbingo, okuva mu 1987.[3] Ye muwandiisi w'ekitabo ekiyitibwa King On The Throne, ekinnyonnyola emyaka 16 egyasooka (1993–2009) egy'obufuzi bwa Kabaka Muwenda Mutebi II owa Buganda.[7] Mayiga era yawandiika Buganda ku Ntikko, ekitabo ky'Oluganda ekiraga empagi z'Obwakabaka ettaano. Ekitabo kino kyafulumizibwa nga 29 Ogwokutaano 2013, olunaku lwennyini lwe yaweebwa obuyinza obujjuvu mu kifo ky'Obwakatikkiro wa Buganda. Mu 2017, Mayiga yafulumya ekitabo kye ekyokusatu, ekiyitibwa Uganda:7-Key Transformation Idea, ekinnyonnyola ebirowoozo musanvu ebisobola okuyamba ensi ezikyakula okwebbulula.[8]

Laba nabino[kyusa | edit source]

Ebijuliziddwa okuva wabweru wa Wikipediya[kyusa | edit source]

Olukangaga olulaga Bakatikkiro bwe bazze beddiring'ana[kyusa | edit source]

Template:S-start Template:S-bef Template:S-ttl Template:S-aft Template:S-end

  1. http://www.newvision.co.ug/news/643006-katikiro-mayiga-chairs-his-first-cabinet-meeting.html
  2. http://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1333039/-support-buganda-katikiro
  3. 3.0 3.1 {{cite web}}: Empty citation (help)Margaret Ziribaggwa, and Anthony Ssempereza (11 May 2013). "Kabaka Alonze Mayiga Ku Bwakatikkiro (The King Has Appointed Mayiga As Prime Minister)". Bukedde.co.ug (Luganda). Archived from the original on 20 February 2015. Retrieved 20 February 2015.
  4. http://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1321669/mayiga-choice-katikkiro
  5. "Archive copy". Archived from the original on 2017-09-08. Retrieved 2022-11-25.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  6. "Archive copy". Archived from the original on 2022-11-25. Retrieved 2022-11-25.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  7. http://www.africabookclub.com/?p=338,King
  8. "Archive copy". Archived from the original on 2017-09-08. Retrieved 2022-11-25.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)