Jump to content

Chris Baryomunsi

Bisangiddwa ku Wikipedia

Chris Baryomunsi (yazaalibwa nga 9 Ogwekkumineebiri, 1969). Munnauganda omusawo w'abantu, omukugu mu by'okubala abantu era munnabyabufuzi. Ye Minisita w'amawulire, Tekinologiya n'okulung'amya eggwanga mu Kabineeti ya Uganda. Yaliko Minisita omubeezi ow'ebyamayumba mu Kabineeti ya Uganda. Yalondebwa mu kifo kino nga 6 Ogwomukaaga, 2016.[1] Okuva nga 1 Owokusatu, 2015 okutuuka nga 6 Ogwomukaaga 2016, yaweerezaako nga Minisita omubeezi owa guno na guli mu minisitule y'ebyobulamu.[2][3]

Chris Baryomunsi

Baryomunsi ye mubaka mu Paalamenti owa Kinkizi County East era mmemba mu kibiina ekiri mu buyinza ekya, National Resistance Movement.(NRM)[4]

Obuto bwe n'okusoma kwe

[kyusa | edit source]

Baryomunsi yazaalibwa ku kyalo Murama ekisangibwa e Nyakishenyi mu Disitulikiti y'e Rukungiri. Kitaawe ye Mugenzi Aloysius Mpungirehe n'e nnyina, omugenzi Rosaria Kamayangi.

Mu 1971, Chris nga wa myaka 2 gyokka egy'obukulu, bazadde be baasenguka ne badda e Kayungwe - Rugyeyo ekiri mu Disitulikiti kati eyafuuka ey'e Kanungu. Baryomunsi yasomera mu Kayungwe Primary School oluvannyuma ne yeegatta ku St. Paul's Seminary, Kabale ku ddaala lya Siniya erisooka (O-Level) n'erya A-Level. Yaweebwa ekifo mu Makerere University, nga ye Yunivasite esiga obunene n'obukadde mu Uganda n'asomayo eby'okutabula eddagala ly'abantu. Mu 1995, yatikkirwa Diguli eya Bachelor of Medicine and Bachelor of Surgery. Mu 1997, yatikkirwa Dipulooma mu by'okubala abantu, era mu 1998 yafua Diguli eya Master of Arts in demography, nga byonna yabisomera Makerere. Mu 2003, yatikkirwa Dipuloma mu kujjanjaba n'okukwatamu abalwadde ba siriimu (HIV/AIDS) okuva mu University of Brighton.[4] Mu 2016, yatikkirwa Diguli eyookusatu mu busawo eya PhD in Public Health okuva mu Atlantic International University, USA.[5]

Emirimu egy'obusawo

[kyusa | edit source]

Okuva mu 1995 okutuuka mu 1998, yali akola ng'omusawo ku ddwaliro ekkulu e Mulago. Okuva mu 1999 okutuuka mu 2002, yakolakong'muwi w'amagezi ku by'okuzaala ow'ekibiina kya Deutsche Gesellschaft für Internationale Zusammenarbeit. Oluvannyuma yaweereza obuvunaanyizibwa bwe bumu mu kibiina kya UNFPA wakati wa 2002 ne 2006. Era yakolako ng'omusomesa w'abasawo mu Makerere University wakati wa 2000 ne 2006.[4]

Olugendo lwe olw'ebyobufuzi

[kyusa | edit source]

Baryomunsi olugendo lwe olw'ebyobufuzi yalutandikira mu Siniya ya St. Paul's Seminary wakati wa 1988 ne 1990 nga yaweereza nga akulira ebyenjigiriza mu ssomero mu kiseera ekyo.

Bwe yali mu Makerere University ng'emyaka gya 1990 gitandika, ye yali omuwandiisi wa ofiisi y'ebyensimbi mu kibiina ky'abayizi Abafirika abasoma obusawo (Federation of African Medical Students' Association) era omuwandiisi wa ofiisi y'ebyensimbi mu kibiina kya Makerere University Medical Students’ Association. Mu 2005, yalondebwa okubeera omuwi w'amagezi ku Siriimu n'emiwendo gy'abantu (United Nations Population Fund HIV/AIDS) mu kibuha Harare. Yasuulawo ekifo kino mu 2006 asobole okwesimbawo mu kuvuganya okw'ababaka ba Paalamenti okwa 2006. Yavuganyiza ku tiketi ya NRM nga kandideeti mu kulonda kwa Kinkiizi County East constituency mu Disitulikiti y'e Kanungu era n'ayitamu.[4] Era yalondebwa nga pulezidenti w'omukago gwa African Parliamentarians Forum on Population and Development. Mu Paalamenti, yaweereza ku kakiiko ka Social Services Committee ne ku kakiiko ka Health and HIV/AIDS Committee. Era yaweerezaako nga kaminsona wa Paalamenti akiikirira NRM mu Paalamenti ya Uganda okuva mu Gwomukaaga, 2011 okutuuka mu Gwokuna, 2014.[6] Nga 1 Ogwokusatu 2015, yalondebwa okubeera Minisita omubeezi owa guno na guli mu Minisitule y'ebyobulamu.[7] Nga 6 Ogwomukaaga 2016, yalondebwa okubeera Minisita omubeezi ow'amayumba.[8]

Ebirala

[kyusa | edit source]

Amanyiddwa okubeera omuntu eyeerowooleza atatya kwawukana ku abalala kye balowooza yadde abo abaawukanya endowooza n'ekibiina kye.[9][10]

Aweerezzaako mu bifo bino wammanga:[6]

  • Omumyuka wa ssentebe w'akakiiko ka HIV/AIDS and Health Committee, mu Paalamenti
  • Ssentebe wa boodi ye AIDS Information Centre
  • Omuwi w'amagezi omukugu ku Siriimu (HIV and AIDS), GTZ.
  • Omuwi w'amagezi ku Pulogulaamu ya, United Nations Population Fund
  • Mmemba w'akakiiko ka Paalamenti aka bajeti
  • Pulezidenti w'omukago gwa African Parliamentarians Forum on Population and Development[11]
  • Pulezidenti wa Rotary Club y'e Kabarole

Personal details

[kyusa | edit source]

A Mukiga by ethnicity,[12] he was born and raised in a Roman Catholic family.  His father converted to Catholicism in the early 1950s, despite having been raised in a Protestant household. 

Baryomunsi is married to Fosca Twebaze and they have two children.[6]

Emboozi ze, emboozi ez'akafubo n'ebiwandiiko by'afulumizza

[kyusa | edit source]

Laba na bino

[kyusa | edit source]

Ebijuliziddwamu

[kyusa | edit source]

Ebijulizo

[kyusa | edit source]
  1. "Archive copy" (PDF). Archived from the original (PDF) on 2016-10-07. Retrieved 2021-08-15.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  2. "Archive copy" (PDF). Archived from the original (PDF) on 2017-07-09. Retrieved 2021-08-15.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  3. "Archive copy". Archived from the original on 2021-08-15. Retrieved 2021-08-15.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  4. 4.0 4.1 4.2 4.3 "Archive copy". Archived from the original on 2021-04-27. Retrieved 2021-08-15.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link) Cite error: Invalid <ref> tag; name "Profile" defined multiple times with different content
  5. https://www.watchdoguganda.com/news/20170225/14091/photos-minister-baryomunsi-graduates-with-a-phd-from-atlantic-international-university.html
  6. 6.0 6.1 6.2 "Archive copy". Archived from the original on 2015-04-02. Retrieved 2021-08-15.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link) Cite error: Invalid <ref> tag; name "Ambition" defined multiple times with different content
  7. "Archive copy". Archived from the original on 2018-10-26. Retrieved 2021-08-15.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  8. https://www.scribd.com/doc/314964607/New-Cabinet
  9. "Archive copy". Archived from the original on 2021-08-15. Retrieved 2021-08-15.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  10. http://allafrica.com/stories/201411031730.html
  11. https://www.advancefamilyplanning.org/two-family-planning-champions-appointed-ministers-uganda
  12. https://web.archive.org/web/20150402161619/http://www.newvision.co.ug/D/8/459/580304