Ekitengejjo

Bisangiddwa ku Wikipedia

Ekitengejjo (English: flotation). Omulamwa gwa Sayansi ogw'ekitengejjo guva ku kikolwa kya kutengejja (to float).

Etteeka ly’ekitengejjo ligamba nti “enzitoya eri mu kutengejja eba eseetudde obuzito bwayo obw’ekitengejjeso kw’etengejjeza.

"A floating body displaces its own weight of the fluid in which it floats". Kino kitegeeza nti ng’ekintu kibbikiddwa oba nga ky’ebbise mu kitengejjeso (fluid), ensukumawaggulu (upthrust) ku kintu eba yenkana n’obuzito bw’ekitengejjeso ekiseetuddwa.

Etteeka lya Kitengejjo lyesigamye ku “Omugereeso gwa Akimedizi” (Archimedes' Principle).

Singa oddira ekipapajjo ky’omuti ekikalu n’okikanyuga mu mazzi, kikka wansi okutuuka nga kiseetudde amazzi agenkanankana n’obuzito bwakyo.Kino bwe kimala okubeerawo, ekipapajjo kino kisigala kitengejja ku mazzi gano. Omugereeso gwa Akimedizi n’etteeka ly’ekitengejjo binnyonnyola sayansi ow’enjawulo buli muntu gw’alaba ng’agenda mu maaso mu bulamu obwa bulijjo.

Omusumali gwa kkalwe (iron nail) gubbira (gukka) mu mazzi so ng’ate emmeeri eya kkalwe ne sitiiru etengejja. Kino kiva ku fakikya nti emmeeri erimu omuwulenge (omuwaatwa) ogujjula empewo etazitowa nnyo, ekifuula obukwafuwavu bwayo okuba wansi w’obukwafuwavu bw’amazzi.

Emmeeri ekka mu mazzi okutuuka ku buwanvu nga obuzito bw’amazzi g’eseetudde bwenkanankana n’obuzito bwayo. Olw’okuba obukwafuwavu bw’amazzi ga ssemayanja businga ku bw’amazzi ag’emigga, emmeeri ekka kitono mu mazzi ga semayanja. Eno y’ensonga lwaki emmeeri eddako waggulu katono ng’eyingidde amazzi ga semayanja okuva mu mazzi g’omugga.

Era olw’okuba obukwafuwavu bw’amazzi ga semayanja buli waggulu kiba kyangu okuwugira mu mazzi ga semayanja okusinga okuwugira mu g’ennyanja n’emigga agalina obukwafuwavu obuli wansiko. Okusinziira ku tteeka lino ery’ekitengejjo, “empalirizo ensukumira waggulu” (buoyancy) ereetera ekintu okusigala waggulu ku mazzi, eba erina okuteeka empalirizo ku buzito bw’ekintu, ekitegeeza nti byombi birina ekipimo ky’empalirizo kye kimu.

Kino kitegeeza nti ekintu ekyebbise ekitundu mu mazzi, kitengejja mu kitengejjeso nga empalirizo esukumira waggulu ekiriko yenkanankana n’obuzito bw’ekintu.

Mu butuufu ekintu kyonna okusobola okutengejja mu kitengejjeso, obukwafu bwakyo buteekwa okuba nga butono okusinga obw’ekitengejjeso(fluid). Eky’okulabirako, olubaawo oba omuzira ogw’enkalubo (solid ice) byombi birina obukwafuwavu bwa wansi okusinga amazzi. Ekibajjo kya kkalwe eky’enkalubo kikka mu mazzi kubanga obukwafuwavu bwa kkalwe buli waggulu okusinga obw’amazzi. Kyokka ekikulungo ekya kkalwe ekirina ekisenge ekitono nga munda kirimu volima y’empewo emala ewagamiddemu kitengejja ku mazzi. Kino kiva ku kuba nti empewo ewagamiddemu essizza ekigero ky’obukwafuwavu eky’ekikulungo (sphere) kino eky’olubaati olwa kkalwe.

Ate era ekintu ekimu kiyinza okukka mu kakulukusi emu ate ne kigaana mu kakulukusi endala. Eky’okulabirako ekibajjio ky’enkalubo ekya kkalwe kikka mu mazzi naye mu makyule kiba kitengejja ekitundu. Kino kiba kitegeeza nti makyule alina obukwafuwavu bunene okusinga amazzi.

Template:Charles Muwanga