Elioda Tumwesigye
Elioda Tumwesigye Munnayuganda munnabyabufuzi, musawo era munoonyereza ku ndwadde n'eddagala lyazo. Aweerezza nga Minisita w'ebya Sayansi,tekinologiya n'ebyobuyiiya mu kakiiiko akakulu akakulembera Uganda okuva mu Gwomukaaga gwa 2016.[1] Okuva mu Gwokusatu 2015 okutuuka mu Gwomukaaga 2016, yeeyali Minisita W'ebyobulamu.[2]
Tumwesigye abadde mukiise omulonde mu paalamenti nga akiikirira abantu ba Munisipaali y'eSheema mu Disitulikiti y'eSheema, okuva mu 2018.[3] Okuva nga 25 Ogwomusanvu, 2013 okutuuka nga 28 Ogwokubiri 2015, yaweereza nga Minisita W'ebyobulamu mu wofiisi y'omukulembeze w'eggwanga (kalabaalaba w'obuvunaanyizibwa obwenjawulo).[4] Oluvannyuma yakuzibwa naaweebwa ekifo kya Minisita W'ebyobulamu mu ggwanga nga 1 Ogwokusatu 2015,[5] nga wano yajjuza kifo ekyali ekikalu okuva nga 18 Ogwomwenda, 2014.[6]
Obuto bwe n'okusoma kwe
[kyusa | edit source]Tumwesigye yazaalibwa mu Disitulikiti y'eSheema nga 5 Ogwokuna 1964. Bazadde be beeba Yekonia ne Edinance Kasyamutwe, nga ono ye mwana waabwe ow'okubiri. Yasomerako ku ssomero lya Ntare School na eno gyeyamalira siniya ey'okuna,mu 1981, era nga gyeyamalira ne siniya ye ey'omukaaga era nga eno yalondebwa ku kifo Ky'akulira Abayizi era mu kumaliriza ebigezo bye ebya siniya ey'omukaaga yeeyali omuyizi akutte ekifo eky'osatu mu ggwanga mu baali baayitidde waggulu. Yafuna Diguli Mu By'eddagala ne Diguli Mu Kulongoosa abantu okuva ku Makerere University mu 1990. Bweyali e Makerere, yatandika Ekibiina Ekigatta abayizi okuva e Sheema, nga kino kyali kikyaliwo ne mu Gwokusatu gwa 2015. Yalondebwa ne ku ky'omuwandiisi mu KIbiina ky'ebyobulamu mu kisulo kya Yunivaasite eky'abalenzi. Mu 1997, yafuna Diguli Ey'okubiri mu kunoonyereza ku ndwadde n'eddagala nga eno yagisomera ku Case Western Reserve University.[7]
Emirimu gye egyasooka
[kyusa | edit source]Okuva mu 1990 okutuusa mu 2001, yali akolera mu Kitongole Ky'ebyeddagala mu Uganda nga yali akolera ku ludda olukola ku misomo gy'okunoonyereza ku ndwadde n'eddagala lyazo. Mu 2001, yeesimbawo okuvuganya ku kifo mu paalamenti okukiikirira ekitundu ky'amambuka g'essaza lya Sheema mu Disitilikiti y'eSheema, nga yali wansi w'akibiiina ky'eby'obufuzi ekya National Resistance Movement. Yayitamu era naddamu naalondebwa mu 2006 ne 2011.[7]
Obunoonyereza bwe
[kyusa | edit source]Ebbanga lyeyamala nga musawo era omunoonyereza ku ndwadde n'eddagala, alina kinene kyeyagasse ku by'obulamu nga ayita mu kunoonyereza kwe naddala ku ndwadde ezisiigibwa nga ziyita mu mpewo, nga ebizuuliddwa ebizikwatako bingi bifulumiziddwa mu biwandiiko ebisinga obulungi mu nsi yonna. Ebimu ku biwandiiko bye mulimu; engeri embeeera ezibeera mu nkwatagana y'abantu n'engeri abantu gyebeetabulamu bweyamba endwadde eziyita mu mpewo okukwata abantu nga ziyita mu kuliraanagana ennyo: okunoonyereza kuno yakukolera mu Bukiikakkono bw'amaserengeta ga Uganda. Okunoonyereza kuno kwayambako okuwa ebibeera mu nkwatagana z'abantu era n'embeera zaabwe mu bitundu ebyenjawulo mu mbeera ya Africa.[8] Omulimu ogwakolebwa okutangira okubuna kw'akawuka akaleeta Mukenenya, obwetangize mu baagalana nga omu mulwadde ate nga omulala mulamu mu Uganda. Okunoonyereza kuno kwayongera okukakasa nti embeera eyokumira eddagala okwetangira akakwuka wamu n'okwekuuma byali bisoboka bwe baakola okugezesa mu kalwaliro akatono mu Uganda, era okwekuuma kweyongera nnyo oluvannyuma lw'ekikolwa kino.[9] Olwokuba n'obusobozi bw'okuwa abakyala abaalina obuzibu n'obutaffaali obubayamba okuzaaala eddagala eriziyiza okufuna akawuka ery'okunywa nga libayamba okwewala akawuka ka Mukenenya: okwekenneenya kwakolebwa oluvannyuma lw'okunoonyereza okwo eri abaagalana ab'enjawulo nga bakozesa eddagala ery'okugezesa wabula nga si lyerijjanjabira ddala akawuka mu kunoonyereza kwebaalimu. Ebyafunibwa mu kunoonyereza kuno byayongera okubayamba okukakasa nti eddagala ery'okunywa mu bakyala lisoboka okubaweebwa okwetangira akawuka nga tebakeberwa mirundi mingi.[10] Waaliwo emikisa mitono egy'okufa kw'emisuwa mu nsigo nga kino kiva ku kwegatta mu basajja naabakazi.okunoonyereza kwazuula nti eddagala eriziyiza okufuna akawuka ery'okunywa erya FTC-TDF lyali terikola butereevu ku ndwadde za misuwa okumala emyezi abirimwena, n'ensonga y'okujjanjaba emisuwa teyateeberezabwa kuba nnyangu yaakujjanjaba.[11] Obujjanjabi ku bwetangize mu bakazi b'embuto ne bannakawere mu kugezesa okwayitibwa B+: Mu myezi kkumineebiri baakola okunoonyereza mu bibuga bya South Africa ne mu byalo nya Uganda.[12] Waaliwo okubuulirira abantu wamu nookukeberwa okwakolebwa ebyali bikwata ku Kawuka ka Mukenenya era baakomola naabasajja mu Uganda: Kuno kwali kugezesa.[13] Eddagala erikendeeza ku maanyi gaakawuka kano lyalwawo okukola mu bafumbo okwali omulwadde noomulamu mu.[14] Oluvannyuma waaliwo ekkomo mu kugaba eddagala ly'okugezesa era ne batandika okugaba eddagala erijjanjabira ddala era baafuna obubaka okuva eri akakiiko akatambuza nti lyali likola: Ebyali mu kunoonyereza ku ddagala ly'abaagalana eriyamba okutangira okukwatibwa Akawuka.[15] Ebyava mu kutambula nju ku nju nga babuulirira abantu nookubakebeza n'engeri gyekyayambamu okukendeeza okutulugunyizibwa mu bwongo wamu nookwewala omumala geegatta mu bantu. : Okunoonyereza okwamala akabanga mu Uganda.[16] Obujjanjabi obutangira okukwatibwa kw'akawuka ka Mukenenya mu basajja naabakazi abeegatta naabantu abeekikula ekimu wamu naabeekikula ekimu.[17] Omukwano gukolawo ki? okunnyonnyola obwetangize mu baagalana okuli omu nga mulwadde omu nga mulamu ku ddagala ly'okunywa eriyamba okujjanjaba akawuka akaleeta Mukenenya.[18] Abantu baabulijjo abaakozesebwa okuyambako okubuulirira abaagalana okuli omulamu n'omulwadde okunywerera ku ddagala eriyambako ku Kawuka mu nsi za Africa eziriraanye eddungu Sahara: okunoonyereza okw'ekikugu.[19] Okunywerera ku ddagalaeritangira okufuna akawuka: Okunoonyereza okutono okwali ku kugezesa okwakolebwa ku baagalana okuli omulwadde n'omulamu mu Buvanjuba bwa Africa. Okunoonyereza kuno kwalaga nti okunywerera ku ddagala kwali kutono nga kino kyali kiva ku kwegatta, okunywa omwenge, obuto mu myaka, n'obuwanvu bw'ekiseera ky'okumira eddagala.[20] Abalala balina obuzibu bw'okugaana okumira eddagala mu balwadde abafunye Akawuka akaleeta Mukenenya, nga kyazuulwa mu kugezesa okutono okwakolebwa mu kalwaliro akatono nga kwali kulaba emmira y'eddagala ku muntu omu oba ababiri.[21] Okutulugunyizibwa mu baagalana wamu nookunywerera ku kumira eddagala mu bakyala Abafirika mu mukwano ogulimu omulwadde n'omulamu: Okunoonyereza okwasigala kugenda mu maaso ku nsonga ezo.[22]
Laba na bino
[kyusa | edit source]- ↑ https://web.archive.org/web/20161007121926/http://www.monitor.co.ug/blob/view/-/3235304/data/1345443/-/3o16hn/-/Museveni%27s+cabinet.pdf
- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2021-01-14. Retrieved 2024-09-05.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ https://www.monitor.co.ug/News/National/Tumwesigye-wins-Sheema-municipality-MP-race/688334-4685446-5e33vcz/index.html
- ↑ http://www.newvision.co.ug/news/645425-new-health-minister-tumwesigye-reports-for-work.html
- ↑ https://web.archive.org/web/20170709092825/http://www.monitor.co.ug/blob/view/-/2639388/data/956667/-/oq6gpdz/-/cabinet.pdf
- ↑ https://web.archive.org/web/20150510084444/http://www.newvision.co.ug/news/659918-ruhakana-rugunda-new-prime-minister.html
- ↑ 7.0 7.1 https://web.archive.org/web/20151023184532/http://www.parliament.go.ug/mpdata/mps.hei?p=f&n=t&details=t&j=270.000000&const=Sheema+County+North&dist_id=108.000000&distname=Sheema
- ↑ https://www.ncbi.nlm.nih.gov/pmc/articles/PMC5896105
- ↑ https://journals.lww.com/00126334-201408150-00009
- ↑ https://www.ncbi.nlm.nih.gov/pmc/articles/PMC5649365
- ↑ https://academic.oup.com/jid/article-lookup/doi/10.1093/infdis/jiw125
- ↑ https://www.ncbi.nlm.nih.gov/pmc/articles/PMC7441010
- ↑ https://www.ncbi.nlm.nih.gov/pmc/articles/PMC3521653
- ↑ https://journals.lww.com/00126334-201408010-00014
- ↑ https://journals.lww.com/00126334-201406010-00015
- ↑ https://www.ncbi.nlm.nih.gov/pmc/articles/PMC3499790
- ↑ https://www.ncbi.nlm.nih.gov/pmc/articles/PMC3770474
- ↑ https://journals.lww.com/00126334-201204150-00006
- ↑ https://doi.org/10.1007/s10461-014-0899-4
- ↑ https://www.ncbi.nlm.nih.gov/pmc/articles/PMC3769210
- ↑ https://academic.oup.com/jid/article-lookup/doi/10.1093/infdis/jiu677
- ↑ https://journals.lww.com/00126334-201611010-00012