Jump to content

Elizabeth Mwesigwa

Bisangiddwa ku Wikipedia

Template:SDcat

Elizabeth Mwesigwa
Personal information
CountryUganda Yuganda
Born (1992-03-10) 10 March 1992 (age 32)
Iganga District, Uganda
Women's singles SL3
Women's doubles SL3–SU5
Mixed doubles SL3–SU5
Highest ranking11 (WS 1 January 2019)
15 (WD with Ritah Asiimwe 3 October 2022)
20 (XD with Hassan Mubiru 8 November 2022)
Current ranking12 (WS)
15 (WD with Ritah Asiimwe)
20 (XD with Hassan Mubiru) (15 November 2022)
Medal record
Women's para-badminton
Representing Uganda Yuganda
African Championships
Gold medal – first place 2022 Kampala Women's singles
Gold medal – first place 2022 Kampala Women's doubles
Silver medal – second place 2018 Kampala Women's singles
Bronze medal – third place 2022 Kampala Mixed doubles

Elizabeth Mwesigwa yazaalibwa ng'enaku z'omwezi 10, mu mwezi ogw'okusatu, mu mwaka gwa 1992, nga munayuganda eyeenyigira oba azannya omuzannyo gwa badminton ogw'abalina obulemu ku mubiri, nga asengekebwa mu namba emu, ku mutendera gwa SL3. Yawangula omudaali gwa zaabu mu mpaka za Uganda eza badminton w'abaliko obulemu ez'ensi yonna mu mwaka gwa 2018. Okutuuka mu mwezi ogw'okubiri, mu mwaka gwa 2020, yali asengekeddwa ab'ekibiina ekitwala omuzannyo gwa badminton munsi yonna nga namba 12 munsi yonna mu mutendera gwa SL3 ogw'abakyala abazannya badminton w'abalina obulemu ku mubiri, worldwide in the Women's para-badminton SL3 .[1]

Ebimukwatako neby'enjigiriza

[kyusa | edit source]

Mwesigwa yazaalibwa ngomwana eyali asooka ku baana omukaaga Godfrey Kakaire beyali alina, mu Naigobya, mu disitulikiti y'e Iganga.[2] Yazaalibwa ng'alina obulemu obwamuviirako okulemala amagulu gombi wansi w'amaviivi. Oluvannyuma lw'okumulongoosa emikono gy'ombi mu Tororo, Mwesigwa yaddayo e Iganga, ng'era yasomera ku Iganga Infants School gyeyava okugenda ku Pride Academy Iganga, ng'eno gyeyava mu mwaka gwa 2009 oluvannyuma lw'okumaliriza P.7 (PLE).[2][3] Mu mwaka gwa 2010, yadda mu Kam[2]pala, neyeegata ku Naguru High School, wabula n'avaayo mu mwaka gwa 2011, mu taamu eyali esooka eya S.2.[2]

Oluvannyuma yeewanirira ng'omutembeeyi nga tanaba kusenga kugenda Kigali, ekibuga kya Rwanda mu mwaka gwa 2012.[3]

Eby'emizannyo

[kyusa | edit source]

Mu mwaka gwa 2013, Mwesigwa yaleetebwa mu byemizannyo nga bayita mu basketball, bweyali abeera mu Kigali ekibuga kya Rwanda.[2] Ng'akomyewo mu Kampalamu mwaka gwa 2015, yeenyigira mu muzannyo gwa basketball gwebaazannya nga nga bali ku bugaali bw'abalemanga tanaba kugenda kusoma koosi eyamala wiiki namba ne Richard Morris, omungereza eyali atendeka omuzannyo gw'okuzannya badminton w'abalina obulemu ku mibiri.[2] Yatandika okwenyigira mu kuzannya bandiminto w'abalina obulemu ku mibiri, okutendekebwa okuyita mu mwaka gwa 2015 okutuusa mu 2016, ng'oluvannyuma yeetaba mu mpaka zze ezaali zisooka eza (Uganda Para-badminton International) mu mwaka gwa 2017, ng'era yawangulirao omudaali gwa zaabu.

Mu mwaka gwa 2018, Mwesigwa yawa gula omudaali gwa zaabu mu mpaka z'amawanga ga Afrika eza badminto w'abaliko obulemu nga zino zaali mu Kampala, ekibuga kya Uganda, oluvannyuma lw'okuwangula omunaigeria Gift Ijeoma Chukwuemeka mu mutendeka gw'abakzi ogwa fayinolo za SL3l.[4]

Mu mwaka gwa 2019, yaddamu naakiikirira Uganda mu mpaka za Fazza-Dubai Para-Badminton International ezaali ez'omulundi ogw'okubiri.

Okusunsula mu banaagenda mu mizannyo gya Olympics

[kyusa | edit source]

Mu mwaka gwa 2019, Mwesigwa yali omu ku kibiinja ky'abantu 5 okuva mu Uganda abaazannya mu mpaka z'ensi yonna eza TOTAL BWF ezaali za badminton w'abaliko obulemu ezaategekebwa mu kibuga Basel, ekya Switzerland.[5][6] Yali ku mutendeka S3LB ogw'abakazi mu kibinja B , abakazi mu mutendera gwa SL3 ogw'ababiri, nga yali akwataganye ne Asha Kipwene Munene wamu n'ababiri abaali batabudwamu omukyala n'omusajja, ng'eno baamugata ne Paddy Kasirye gwebaali babwatagana nabo.[7]

Omubaka wa palamenti ya Ugamda yali yeeyamye okuwaayo doola za ssente za Amerika 10,000, ezaali ez'okumuyamba okwetaba mu mpaka zino ezaali zigenda okubeera mu ggwangalya Thailand, Bufalansa, Australia ne Japan ezaali zigenda okumuyamba okufuna obubonero okukiika mu mizannyo gya olympics egya 202 ezaatabibwamu abalina obulemu ku mubiri.[8][9]

Ebimuwereddwa, n'okumusiima

[kyusa | edit source]

Mu mwak gwa 2019, Mwesigwa yasiimibwa n'ekitiibwa kya ''Tigress Honoree'' ab'ekibiina kya ''Malengo Foundation'' mungeri y'okumusiima okubeera omunayuganda eyangula omudaali gwa zaabu mu mpaka za badminton w'abaliko obulemu ezaaliwo mu mwaka gwa 2018.[10]

By'atuuseeko, oba by'awangudde

[kyusa | edit source]

Empaka z'okulukalo lwa Afrika

[kyusa | edit source]

Ez'abakazi ng'azannya omu bulu ludda

Omwaka Ekifo Gweyali azannya gwagwa gutya Byeyawangula
2018[lower-alpha 1] Ekisaawe ky'e Lugogo eky'omunda, nga kisinaanibwa mu Kampala mu ggwanga lya Uganda Rose Nansereko 21–11, 21–12 Feeza
Naomi Sarpong 21–16, 21–6
Gift Ijeoma Chukwuemeka 7–21, 18–21
2022 Ekisaawe ky'e Lugogo eky'omunda, nga kisingaanibwa mu Kampala, mu ggwanga lya Uganda Uganda Rose Nansereko 21–9, 22–20 Zaabu

Abakazi abazannya ababiri buli ludda

Omwaka Ekifo Gweyali azannya naye Gweyali attunka naye Gwagwa gutya Ebyavaamu
2022 Ekisaawe ky'e Lugogo eky'omunda, nga kisingaanibwa mu Kampala, mu ggwanga lya Uganda Ritah Asiimwe Sumini Mutesi

Rose Nansereko

21–11, 21–16 Zaabu

Nga babatabise

Omwaka Gyebaali bazannyira Gweyali azannya naye Bebaali bazannya Gwagwa gutya Byebawangula
2022 Ekisaawe ky'e Lugogo eky'omunda, nga kisingaanibwa mu Kampala, mu ggwanga lya Uganda Hassan Mubiru Prince Mamvumvu Kidila okuva e DR. Congo

Martha Chewe okuva mu Zambia

21–12, 7–21, 9–21 Omudaali gw'eKikomo

Empaka za badminto w'abaliko obulemu eza BWF World Circuit (1 runner-up)

[kyusa | edit source]

Empaka za badminto w'abaliko obulemu eza BWF World Circuit, omutendera ogw'okubiri 2, edaala erisooka 1, 2 n'eryo 3 z'empaka ezaakirizibwa ab'ekibiina ekidukanya omuzannyo gwa badiminton munsi yonna okuva mu mwaka gwa 2022.[11][12]

Omukazi ng'azannya omu buliu ludda

Omwaka Empaka Edaala gweyali azannya Gwagwa gutya Kyeyawangula
2022 Uganda Para Badminton International Edaaa lya kusatu Charanjeeti Kaur okuva mu gwanga lya Buyindi 8–21, 9–21 Yakwata kyakubiri

Empaka z'ensi yonna (engule emu)

[kyusa | edit source]

Ezizaanyibwa abasajja ababiri buli ludda

Omwaka Empaka Gweyali azannya naye Opponent Zagwa zitya Beebaali bazannya Ebyavaamu
2018[lower-alpha 2] Uganda Para Badminton International Mary Margaret Wilson okuva mu ggwanga lya Scotland Zinabu Issah okuva mu ggwanga lya Ghana

Naomi Sarpong okuva mu ggwanga lya Ghana

21–4, 21–7 Baaziwangula
Cristance Moffouo ne Jacqueline Carole Ntsama nga bombi nzaalwa za Cameroon 21–5, 21–5
Gift Ijeoma Chukwuemeka ne Chinyere Lucky Okoro okuva mu ggwanga ly'e Nigeria 21–12, 21–11
Khadija Khamuka ne Rose Nansereko enzaalwa za Uganda 21–19, 21–5

Laba ne

[kyusa | edit source]
  1. {{cite web}}: Empty citation (help)https://bwfpara.tournamentsoftware.com/ranking/player.aspx?id=23592&player=3520389
  2. 2.0 2.1 2.2 2.3 2.4 2.5 {{cite web}}: Empty citation (help)https://www.monitor.co.ug/Magazines/Life/Elizabeth-Mwesigwa-disability-excel--para--badmintion-Kampala/689856-5150094-dsc7kiz/index.html
  3. 3.0 3.1 {{cite web}}: Empty citation (help)https://web.archive.org/web/20210312202445/https://www.goodnewskla.com/mwesigwa-defied-disability-to-become-national-champ/
  4. {{cite web}}: Empty citation (help)https://bwfpara.tournamentsoftware.com/sport/player.aspx?id=E5B5A3A1-E640-4DB3-A047-B5A9BDD4776A&player=49
  5. {{cite web}}: Empty citation (help)https://web.archive.org/web/20210119110814/https://badmintonuganda.org/index.php/para-badminton/90-para-badminton-world-championships-2019
  6. {{cite web}}: Empty citation (help)https://web.archive.org/web/20210312203134/https://www.botswanaonlinenews.com/uganda-para-badminton-players-strive-for-paralympics-despite-limitations/
  7. {{cite web}}: Empty citation (help)https://www.paralympic.org/feature/uganda-rise-para-badminton
  8. {{cite web}}: Empty citation (help)https://www.parliament.go.ug/news/2093/parliament-donates-us10000-paralympics-star
  9. {{cite web}}: Empty citation (help)http://ugandaradionetwork.com/story/mps-donate-ugx-43m-to-para-badminton-star
  10. {{cite web}}: Empty citation (help)https://www.pmldaily.com/features/celebrity/2019/04/malengo-foundation-recognises-exceptional-women-with-disabilities.html
  11. {{cite news}}: Empty citation (help)https://corporate.bwfbadminton.com/news-single/2021/06/03/para-badminton-tournament-structure-bids-for-tournaments-2022-onwards
  12. {{cite news}}: Empty citation (help)https://bwfpara.tournamentsoftware.com/