Ritah Asiimwe
Ritah Asiimwe | ||||||||||||||||||||||||||
---|---|---|---|---|---|---|---|---|---|---|---|---|---|---|---|---|---|---|---|---|---|---|---|---|---|---|
Lua error in package.lua at line 80: module 'Module:i18n' not found. | ||||||||||||||||||||||||||
Personal information | ||||||||||||||||||||||||||
Country | Yuganda | |||||||||||||||||||||||||
Residence | Kampala | |||||||||||||||||||||||||
Handedness | Left | |||||||||||||||||||||||||
Women's singles SU5 Women's doubles SL3–SU5 Mixed doubles SL3–SU5 | ||||||||||||||||||||||||||
Highest ranking | 15 (WS SU5) (August 2020) 08 (WD with Elizabeth Mwesigwa 22 March 2024) | |||||||||||||||||||||||||
Current ranking | 19 (WS SU5) (March 2024) | |||||||||||||||||||||||||
Medal record
|
Ritah Asiimwe (yazaalibwa nga 10 ogwomusanvu 1986) Munnayuganda muzannyi w'omuzannyo gwa Badminto era nga ye nnamba emu wa Uganda mu bazannyi abakyala ku ddala lya SU5. Ye namba bbiri wa Africa mu mizannyo gya Badmnton w'abalina obulemu era mu 2020 yafuuka omuzannyi eyasooka okuvuganya mu mpaka za 2020 Summer Paralympics.
Mu Gwokusatu 2024, alina ekifo kya 19 mu nsi yonna ng'omukyala azanya omuzanyo gwa Badminton w'abaliko obulemu ku daala lya SU5 okuva mu kibiina ekitwala omuzannyo guno ekya Badminton World Federation.
Obuto bwe n'emisomo gye
[kyusa | edit source]Asiimwe alina Diguli ye esooka eya bachelor's degree in Development Studies okuva ku Mbarara Yunivasite.
Nga eyaganyurwa mu kibiina ky'abazannyi ba badminton ekya Badminton World Federation nga baali mu nkolagana ne World Academy of Sport (WAoS), yatikkirwa mu University of London ne Satifikeeti endala mu ssomo lya International Sports Management programme 2023 [1]
Ebyemizannyo
[kyusa | edit source]Mu Gusooka 2005, Asiimwe yafiirwa omukono gwe ogw'addyo olw'obulumbaganyi obwamukolebwako era mu kaseera kano akozesa gwa kkono [2][3]. Oluvanyuma lw'okukyalira ab'ekitongole kya Uganda Para Badminton International mu 2018, yasalawo okweyongerayo n'omuzannyo[2].
Nga yali mu kifo kya 15 mu mizannyo gy'abakyala bokka egya SU5 women’s singles, yetaba mu mpaka z'abalina obulemu egya Tokyo 2020 Paralympic Games[4][5]. Yetabye mu mpaka z'emizannyo egy'abaliko obulemu egya African Para-Badminton Championships egyategekebwa mu 2021,2022 ne 2023. Mu 2022, ng'ali wamu ne Elizabeth Mwesigwa, yawangula mu gy'abakyala egya Women's doubles songa mu 2023, ababiri bano bawangula omudaali gw'ekikomo mu women’s doubles SL3-SU5 category.
Laba na bino
[kyusa | edit source]Ebijuliziddwamu
[kyusa | edit source]- ↑ https://development.bwfbadminton.com/whats-new/triumph-beyond-the-court-athletes-shine-as-graduates-of-dual-career-programme
- ↑ 2.0 2.1 https://www.paralympic.org/feature/ugandan-s-ritah-asiimwe-retrains-body-and-mind-after-loss-right-hand
- ↑ https://olympics.bwfbadminton.com/news-single/2021/09/17/paralympics-review-showcasing-extraordinary-abilities
- ↑ https://www.monitor.co.ug/uganda/sports/soccer/paralympics-so-much-to-do-3539122
- ↑ https://www.france24.com/en/live-news/20210901-dream-come-true-for-players-as-badminton-makes-long-waited-paralympics-debut