Elizabeth Nantale Mulondo

Bisangiddwa ku Wikipedia
Nantale Elizabeth Mulondo
Yazaalibwa Ogw'oluberyrberye 31, 1989 (emyaka 34)

Ensi ye Munnayuganda
Obutuuze Uganda
Emyaka mwakoledde ennyo 2008 — leero
Amanyikiddwa mu Misono
Website https://princesselizabethnantale.wordpress.com

Nantale Elizabeth (yazaalibwa nga 31 Gatonnya 1989) mumbejja mu Bwakabaka bwa Buganda, obwakabaka obwaliwo okuva edda era nga bumanyifu okutuusa leero mu Uganda. Muzzukulu wa Ssekabaka Daudi Chwa II.

Obuto bwe[kyusa | edit source]

Nantale yazaalibwa mu Nairobi mu 1989 nga yazaalibwa omugenzi, Omulangira Fredrick David Mulondo, mutabani w'omulangira George William Mawanda chwa,  mutabani wa Daudi Chwa II. Omulangira George William yakiikiriraUganda mu kutikkirwa kwa Nnabakyala Elizabeth Ow'okubiri ku ntebe era ye Munnayuganda yekka eyawebwa omukisa okubeera mmemba ku kkiraabu ya Marylebone Cricket Club (MCC) esangibwa ku Lords cricket ground, eky'amuviirako okutandika kkampeyini y'okutandikawo neeya Africa eya African Cricket club.[1] Elizabeth alina bannyina mukaaga era nga ye muwala yekka.

Elizabeth yasomerako ku Lohana Academy Primary School, erisangibwa e Kololo, Buganda Road High School ne Winston Standard Academy. Oluvannyuma lw'okumaliriza siniya, yafuna Diguli e Makerere University, yafuna Diguli nga yasomera ku IATA institute, mu ssomo ly'okukola ttiketi zennyonyi nookutereeza ebifo by'abakulu era yafuna ne Diguli mu By'okwewunda oba Cosmetology.

Obulamu bwe[kyusa | edit source]

Elizabeth ali mu by'emisono, okumodola n'okwolesa. Yali ne mu Floss magazine ku lupapula olusooka mu 2008 bwe yali omwolesi weemisono. Atera nnyo okubeera mu kwolesa emisono mu bifo ebyenjawulo mu Uganda ne South Africa ne White party e Dubai.[2]

Omumbejja Nantale ku Awaadi za Abryanz Style & Fashion Awards eza 2017

Mu 2013 ne 2014, Nantale yawaliriza bannamawulire okumulaba bwe baamugwako nga ali noomugagga w'omu Kampala Dick Kizito atava mu mivuyo.[3] Ensisinkano zabwe ezaali ezookumu ate nga yalinga ayambadde mu ngeri esikiriza yaviirako okussa ebituli mu famire ye n'abantu. Kino ky'amuviirako okulumba bannamawulire naabategeeza nga eyali muganzi we bweyali agenderera okumuswaza era nti yeeyapangisa abaali bakuba ebifaananyi ebyo. Ababiri bano baamala nebaddamu. Abeera nnyo ne ffamire y'aKabaka ku mikolo nga ogw'amazaalibwa ge.

Omumbejja Nantale owookubiri okuva ku kkono ki mazaalibwa ga Kabaka.

Laba na bino[kyusa | edit source]

Ebijuliziddwa[kyusa | edit source]

  1. http://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1037833/mawanda-deserves-gold
  2. "Archive copy". Archived from the original on 2020-01-31. Retrieved 2023-03-23.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  3. "Archive copy". Archived from the original on 2020-01-31. Retrieved 2023-03-23.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)