Esther Mayambala Kisaakye
Esther Mayambala Kisaakye munnamateeka munna Uganda era omu ku balamuzi abatuula ku kooti ensukkulumu mu Uganda okuva mu mwezi ogw'omusanvu 2009. Kisaakye yamenya likoda y'omulamuzi akyasinze okulondebwa nga muto mu myaka okutuula ku kooti ya Uganda ensukkulumu ku mya 49 gyokka mu mwaka 2009[1][2]
Obuto bwe n'emisomo
[kyusa | edit source]Esther Kisaakye yazaalibwa nga 18 Ogwolubereberye 1960. Okusoma yakutandikira ku ssomero lya Kyanja Church of Uganda Nursery School gyeyava okwegatta ku Wampewo Primary mu mwaka 1965 Kisaakye era yasomerako nemumasomero amalala ku mutendera gwa pulayimale okuli Ntinda Pulayimale, ne Kibuli demonstration gyeyamaliriza omutendera guno. Omutendera gwa siniya yagusomera ku kololo senior secondary school, Wanyange girls school e Jinja kwossa ne Trinity College Nabbingo mu disitulikiti ye Wakiso.[3] [4]
Nga amaliriza emisomo gya siniya Kisaakye yegatta ku Makerere yunivasite mu Kampala okusoma diguli esooka mu byamateeka era nga ye muyizi wamateeka eyasinga banne bonna mu mwaka 1981 yagenda ku ttendekero lya bannamateeka erya Law Development Centre mu Kampala okusoma dipulooma mu mateeka. Kisaakye alina ne diguli eyokubiri mu mateeka nga eno yo yajisomera ku Georgetown University Law Center mu kibuga Washington DC mu gwanga lya Amerika era nga eno gyeyasomera ne diguli eyokusatu mu byamateeka eya Doctor of Juridical Science ekimufuula omu ku bakyaala abayivu ddala mu nsonga zamateeka.[5][6][7]
Emirimu gye
[kyusa | edit source]Nga amaliriza emisomo gye Kisaakye yasooka kukolera yunivasite e Makerere nga omusomesa wamateeka era nga eno gyeyava okulondebwa nga omulamuzi. Kisaakye yakolako ng'amyuka sentebe w'ekitongole ekigatta bannamateeka abakyala mu ggwanga ekya Association of Women Lawyers.[8]
Yakolako nga memba w'olukiiko olufuzi lw'ekitongole ekivunaanyizibwa ku kulwanyisa ekirwadde kya mukenenya mu ggwanga ekya Uganda AIDS Commission era yali omu kubatandiisi b'ekitogole ekya Strategic Litigation Coalition.[8] Mu mwezi Gwokuna 2013 Esther Kisaakye yalondebwa okukulira ekitongole ekigatta abalamuzi abakyala mu ggwanga ekya National Association of Women Judges in Uganda.[9]
Okugenda mu buwanganguse
[kyusa | edit source]Mu mwezi Gwekuminogumu 2024 amawulire mu Uganda gafuluma nga galaga nga Kisaakye bweyali awanganguse okuva mu ggwanga Uganda nagenda mu nsi etayogerwa. Okuwanganguka kwa Kisaakye kwakakasibwa bannamateeka be nga bagamba nti kino omuntu waabwe yakikola olwokuba nga obulamu bwe bwali mu matigga.[10][11] Bino byajjawo oluvannyuma lwa Kisaakye okwekengera nti obulamu bwe bwali mu katyabaga singa tava Uganda era nga banji ku banna Uganda kino bakissa ku bukuubagano Kisaakye bweyayina n'esigga eddamuzi oluvanyuma lw'okulemesebwa okusoma ensala ye mu musango gw'ebyokulonda Robert Kyagulanyi gweyali awaabye mu kooti ensukkulumu oluvanyuma lw'okuwangulwa Yoweri Museveni mu kalulu kabonna ak'omwaka 2021. Kisaakye yategeeza nga fayiro eyalimu ensalaye eyawukana ne balamuzi banne ku kooti eno bweyali 'ebuziddwawo' ku biragiro ye byeyategeeza nti byali bya Ssaabalamuzi wa Uganda era akulira ku kooti ensukkulumu Alphonse Owinyi-Dollo.[12] Ebigambo bya Kisaakye byaviirako omukulembeze w'eggwanga okuteekawo akakiiko okunoonyereza ku neeyisa ya Kisaakye n'okusobola okuzuula amazima ku byeyali ayogedde.[13][14]Mu mwezi Gwomusanvu omwaka 2023 Omulamuzi Kisaakye yateekamu okusaba nga ayagala awummule emirimu gy'obulamuzi wabula omukulembeze wa Uganda okusaba kwe yakugaana.[15][16][17]
Ebiwandiiko ebijuliziddwa
[kyusa | edit source]- ↑ https://observer.ug/news/headlines/75729-dr-esther-kisaakye-fascinating-life-of-the-unconventional-judge#google_vignette
- ↑ https://peoplepill.com/people/esther-mayambala-kisaakye/
- ↑ https://www.monitor.co.ug/uganda/news/national/justice-esther-kisaakye-why-i-fled-uganda-4846708
- ↑ https://peoplepill.com/people/esther-mayambala-kisaakye/
- ↑ https://observer.ug/news/headlines/75729-dr-esther-kisaakye-fascinating-life-of-the-unconventional-judge#google_vignette
- ↑ https://www.monitor.co.ug/News/Education/688336-714346-kdcwrv/monitor.co.ug
- ↑ https://peoplepill.com/people/esther-mayambala-kisaakye/
- ↑ 8.0 8.1 https://www.monitor.co.ug/News/Education/688336-714346-kdcwrv/monitor.co.ug
- ↑ https://medium.com/@princemulindwaisaac/profiling-the-justices-of-the-supreme-court-the-career-side-b3a3d0e02bc9
- ↑ https://www.monitor.co.ug/uganda/news/national/justice-esther-kisaakye-why-i-fled-uganda-4846708
- ↑ https://www.nowviba.com/templates/article/Supreme-Court-Judge-Esther-Kisaakye-Speaks-Out-on-Running-to-Exile/7208
- ↑ https://www.independent.co.ug/justice-kisakye-gives-dissenting-judgement-in-kyagulanyis-case/
- ↑ https://www.monitor.co.ug/uganda/news/national/why-justice-kisakye-fled-to-exile-4832924
- ↑ https://www.monitor.co.ug/uganda/news/national/tanzanian-to-lead-tribunal-to-probe-justice-kisaakye-4839850
- ↑ https://nilepost.co.ug/judge/180036/where-are-you-going-museveni-refuses-judge-to-retire-early
- ↑ https://redpepper.co.ug/museveni-rejects-justice-kisakyes-early-retirement/132950/
- ↑ https://www.monitor.co.ug/uganda/news/national/museveni-rejects-early-retirement-for-kisaakye-4442694