Jump to content

Kololo Senior Secondary School

Bisangiddwa ku Wikipedia

Kololo Senior Secondary School (Kololo SSS), ssomero lya siniya erisomesa abayizi ku mutendera ogwa O'level (siniya esooka okutuuka eyokuna) wamu n'ogwa A'level (Siniya ey'okutaano okutuuka ku yomukaaga). Essomero lino liyambibwako gavumenti mu nkola ya bonna basome owa siniya era nga lisomesa abayizi abawala nabalenzi nga abayizi bonna basoma bava waka (teririna bisulo by'abayizi). Essomero lino lisangibwa mu kibuga Kampala, Uganda era omubala (Motto) gwalyo guvuga nti “LEAD KINDLY LIGHT” [1]

Ekizimbe ekiddukanyizibwamu emirimu gya Kololo SSS

Endagiriro

[kyusa | edit source]

Essomero lino lisangibwa ku lusozi Kololo, mu Kampala, ekibuga ekisinga obunene era nga kyekibuga ekikulu ekya Uganda . Kololo SSS esalagana n'oluguudo Lugogo Bypass mu buvanjuba, Nviri Lane mu bukiikaddyo bw’obuvanjuba, Malcolm X Avenue mu maserengeta, wamu n'oluguudo Mackenzie Vale mu bugwanjuba n'amambuka. Okutuuka ku ssomero kino omuntu atambula kilomita nga 3 okuva mu masekati g'ekibuga kampala nga adda mu mambuka g'ekibuga kino. Ensengeka z'essomero ku maapu ze zino:0° 20' 16.80"N, 32° 35' 52.80"E (Obukiika:0.3380; Obusimba:32.5980).[2]

Ebyafaayo

[kyusa | edit source]

Kololo siniya yatandikibwawo mu mwaka 1954 nga eyitibwa Government Indian Senior Secondary School Kololo era nga okuva olwo okutuukira ddala mu mwaka 1972, abayizi kwossa abakozi b'essomero lino abasinga obunji baali Bayindi . Kino wabula kyakyuuka ouvannyuma lwa Pulezidenti wa Uganda Idi Amin okukaka abantu abava mu Asia okusenguka okuva mu Uganda mu mwaka 1972. Erinnya ly'essomero lino nalyo oluvanyuma lyakyuusibwa okudda ku Senior Secondary School Kololo olwo neritandika okusikiriza abayizi banna Uganda okulyettanira. Oluvanyuma lwa gavumenti ya Uganda okutandikawo enkola ya bonna basome ku mutendera ogwa siniya eyatuumiibwa Universal Secondary Education, essomero lya kololo senior secondary school lyalondebwa ng'erimu ku masomero omwasooka okugezesebwa enkola eno era omuwendo gwabayizi negulinnya kyenkana kwekubisaamu emirundi esatu ku ogwo ogwabeeranga ku ssomero lino.[3]

Mu mwaka 2005 essomero lino lyakozesebwa okutendeka abasomesa ba Ssaayansi ne kubala mu ggwanga lyonna .[4]

Ebyensoma yabayizi

[kyusa | edit source]

Essomero lino lisomesa amasomo agali ku ddala erisookebwako mu siniya liyite Ordinary Level (Siniya1-Siniya 4), wamu n’ago aga omutendera ogwa haaya mu siniya Advanced Level (Siniya 5-Siniya 6).

Abamu ku baasomerayo

[kyusa | edit source]

Laba ne

[kyusa | edit source]

Ebiwandiiko ebijuliziddwa

[kyusa | edit source]
  1. https://www.kololoss.sc.ug/about-us/
  2. https://www.google.com/maps/dir/Kampala/Kololo+Senior+Secondary+School,+Along+Logogo+By-Pass,+Opposite+the+Kensington+Signature+Homes%2FP.O.+Box+711,+Kampala+Logogo+By-Pass,+Kampala/data=!4m8!4m7!1m2!1m1!1s0x177dbc0f9d74b39b:0x4538903dd96b6fec!1m2!1m1!1s0x177dbbba37a0cf35:0x8d91fe25e6831c96!3e0?sa=X&ved=1t:3747&ictx=111
  3. "Archive copy". Archived from the original on 2024-08-08. Retrieved 2024-09-05.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  4. https://businessdirectory.co.ug/listing/kololo-senior-secondary-school/?tab=content
  5. https://iuea.ac.ug/Blog/jacob-oulanyah-passed-away-in-america-at-age-of-57/
  6. https://www.newvision.co.ug/news/1214296/philly-lutaaya-legend-lives
  7. https://www.monitor.co.ug/uganda/business/finance/maggie-kigozi-retired-into-board-meetings-1850202
  8. https://realmuloodi.co.ug/real-muloodi-sudhir-ruparelia-biography/