Jump to content

Etheldreda Nakimuli-Mpungu

Bisangiddwa ku Wikipedia
Dr Etheldreda Nakmuli Mpungu

Etheldreda Nakimuli-Mpungu (yazaalibwa mu 1974) Ppulofeesa, munoonyereza, Mukugu mu by'amadagala era Musawo wa bwongo mu Kitundu mu ssomero ekikwasaganya Eby'obwongo ku Ttabi mu ssomero erikwata ku Byeddagala mu Makerere University mu Uganda. Okunoonyereza kwe okusinga kuli mu kujjanjaba obulwadde bw'obwongo nga kuyita mu kwogerezaganya mu bantu abayamba oba psychotherapy nga eddagala erisooka ery'abantu abalina Akawuka ka siriimu abalina obunnyikivu. Y'omu ku bataano abaafuna awaadi yaElsevier Foundation Award eyawebwa abakyala abaakatandika okukola mu bya Saayansi ebikwata ku Nkulaakulana ya Saayansi akwata mu Bitonde, wamu nookuteekebwa ku lukalala lw'abakyala ekikumi abaalondebwa BBC mu 2020.

Okusoma kwe

[kyusa | edit source]

Nakimuli-Mpungu yatikkirwa mu Busawo Bw'amadagala ku Makerere University mu Ttabi lya Saayansi W'obulamu 1998.[1] Bwe yamala okutegeeza maama we ku nsonga eno, yamuddamu nti “Kale, kirungi. naye okimanyi nti sikirungi kubeera bubezi musawo kyokka, ogenda ew'omusawo naatakuyamba yadde okuwona. Njagala obeere omusawo oyo akola abantu obulungi".[2] Omulimu gwe gw'atandikira Kampala, gye yasooka okukolera mu Kitundu ky'okulongoosa ebiseera ebyo nga akola mu baana.[2] Okuva mu 2001 okutuusa 2012 yali akolera mu sayidi yaabalwadde b'obwongo eButabika National Referral Mental Hospital.[1] Mu 2006, yeeyongerayo n'emisomo gye mu By'obwongo ku Makerere University mu College of Health Sciences era yafuna awaadi ya MA.[1] Mu 2012, yafuna awaadi eyitibwa doctorate in psychiatric epidemiology nga yagifunira mu Johns Hopkins University.[1]

Omulimu gwe

[kyusa | edit source]

Bwe yali akolera e Butabika Hospital, Nakimuli-Mpungu yasisinkana abalwadde bangi aba Siriimu abaamutuukirira nga balina ebizibu by'obwongo.[2] Nakimuli-Mpungu yagamba nti, "mu budde buno, tewali yali amanyi ngeri yaakubayamba oba eky'okubakolera", nga akkaatiriza nti "waaloiwo ekiriwoozo nti abantu bano tabasobola kuwona".[2] Yakola okunoonyereza okukwe era naakomekkereza nti abalwadde ba Siriimu balina emikisa mingi okusangibwa n'Obunnyikivu olw'okusosolebwa abantu ababeetoolodde.[2] Akabonero akamu ku bulaga kino kuliko obuteefaako,ekitegeeza nti abantu bano bayinza obutamira ddagala.[2] Nakimuli-Mpungu yawulira nga weetaagisa okubaawo okwenyigiramu abantu babiri okujjanjaba obulwadde buno, nayeb tewaaliwo kiwandiikiddwa kyonna ku nsonga eno ekyalina okutandikirwako okuwa obujjanjabi.[2]

Nakimuli-Mpungu yatongoza Ppulogulaamu y'okunoonyereza okulaba ekisoboka mu kujjanjaba obulwadde nensonga endala ezigenderako. Ol'wensonga nti amalwaliro agasinga mu Uganda tegalina nsimbi n'okutendekebwa kw'abasawo abalina okukola ku nsonga eyo, Nakimuli-Mpungu essiira yalissa ku kukozesa enkola ey'okuteeka abalwadde mu bibinja okusobola okubatuusaako obujjanjabi. Mu kugezesa yasooka kukozesa abalwaddde 150 nga balina Siriimu n'obunnyikivu. Abasawo baabaawulamu ebibinja bibiri : Ekimu kyalina Nakimuli-Mpungu nga omusawo ate endala nga za ku ka lwaliro. Mu ankola eyo, emiwendo gy'okwennyikira gyagenda gikendeera era oluvannyuma lw'enkola eno neziggwawo.

Okunoonyereza kuno okwasooka kwavaamu ppulogulaamu ennene eyatandika mu 2016.[3] Mu kuddingana enkola eyo, abalwadde,1140 bajjanjabibwa mu malaliro agasukka mu 40 okwetooloola Amambuka ga Uganda.[4] Abeetabamu nate baabagabanyamu ebibinja bibiri: ekitundu ekimu kyafuna obujjanjabi obujja mu nkola zabwe, abalala baafuna okusomesa ku Siriimu okwawamu.[4] Obujjanjabi ku mulundi guno bwabawebwa abasawo abatendeke nga baabatendekera wiiki munaana mu musomo gwebaafuna.[4] Ekibinja ekyo ekyafuna obujjanjabi buno kyalaga okukendeera mu Kwennyikira noobubonero obulala okusinga ebibinja ebirala okugeza akabonero ka PTSD,beeyongera okumira eddagala, baakendeeza okunywa omwenge, neebirala.[4] Ebyavaamu ebirungi bino byasinga nnyo mu balwadde abasajja.[4]

Mu 2020 yabadde Ppulofeesa, munoonyereza,era omukugu mu byeddagala mu Kitundu Ky'obujjanjabi bw'obwongo mu Ttabi ly'essomo Ly'obusawo mu byeddagala ku Makerere University.[5]

Ebirabo bye

[kyusa | edit source]
  • The International ASTRAZENECA/APIRE Young Minds in Psychiatry Award, 2005.[6]
  • The International Fulbright Science & Technology Award, 2007.[6]
  • Presidential National Independence Medal of Honor, Uganda, 2016.
  • Elsevier Foundation Award for Early Career Women Scientists in the Developing World in Biological Sciences, 2016.[6]
  • BBC's annual most influential 100 Women list, 2020.[7]

By'afulumizza

[kyusa | edit source]
  • 'Effectiveness and cost-effectiveness of group support psychotherapy delivered by trained lay health workers for depression treatment among people with HIV in Uganda: a cluster-randomised trial' (co-authored) in The Lancet (February, 2020).[8]
  • 'Group support psychotherapy for depression treatment in people with HIV/AIDS in northern Uganda: a single-centre randomised controlled trial' (co-authored) in Lancet HIV (May, 2015).[9]
  • 'Depression, alcohol use and adherence to antiretroviral therapy in sub-Saharan Africa: a systematic review' (co-authored) in Aids Behaviour (November, 2012).[10]
  • Urgently seeking efficiency and sustainability of clinical trials in global health. (co-authored) in The Lancet Global Health (May, 2021)[11]
  • Health-related quality of life among patients with bipolar disorder in rural southwestern Uganda: a hospital based cross sectional study. (co-authored) in Health and quality of life outcomes (2021).[12]
  • Long-Term Effect of Group Support Psychotherapy on Depression and HIV Treatment Outcomes: Secondary Analysis of a Cluster Randomized Trial in Uganda. In Psychosomatic Medicine (2022).[13]
  • Black American maternal prenatal choline, offspring gestational age at birth, and developmental predisposition to mental illness. Schizophrenia Bulletin (2020).[14]
  • The impact of group counseling on depression, post-traumatic stress and function outcomes: A prospective comparison study in the Peter C. Alderman trauma clinics in northern Uganda. In Journal of Affective Disorders.[15]
  • How COVID-19 has fundamentally changed clinical research in global health. In The Lancet Global Health (2021).[16]
  • Association of task-shared psychological interventions with depression outcomes in Low- and Middle-Income Countries: A systematic review and individual patient data meta-analysis. In JAMA Psychiatry (2022).[17]
  • The role and challenges of cluster randomised trials for global health. In The Lancet Global Health (2021).[18]
  • Effectiveness and cost-effectiveness of group support psychotherapy delivered by trained lay health workers for depression treatment among people with HIV in Uganda: a cluster-randomised trial. In The Lancet Global Health (2020).[19]
  • Mental health interventions for persons living with HIV in low- and middle-income countries: a systematic review. In Journal of the International AIDS Society (2021).[20]
  • Prevalence and factors associated with depression symptoms among school-going adolescents in Central Uganda. In Child and Adolescent Psychiatry and Mental Health (2016)[21]

Ebijuliziddwa

[kyusa | edit source]
  1. 1.0 1.1 1.2 1.3 "Archive copy". Archived from the original on 2022-11-08. Retrieved 2023-03-24.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  2. 2.0 2.1 2.2 2.3 2.4 2.5 2.6 https://text.npr.org/467804655
  3. https://www.mqmentalhealth.org/research/the-effects-of-group-support-psychotherapy-delivered-by-lay-health-workers-on-depression-among-persons-living-with-hiv-in-northern-uganda/
  4. 4.0 4.1 4.2 4.3 4.4 https://www.aidsmap.com/news/feb-2020/group-psychotherapy-led-lay-health-workers-can-dramatically-improve-depression-people
  5. "Archive copy". Archived from the original on 2020-12-05. Retrieved 2023-03-24.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  6. 6.0 6.1 6.2 https://theconversation.com/profiles/etheldreda-nakimuli-mpungu-234565
  7. https://www.bbc.com/news/world-55042935
  8. (e387–e398). {{cite journal}}: Cite journal requires |journal= (help); Missing or empty |title= (help)
  9. (e190–e199). {{cite journal}}: Cite journal requires |journal= (help); Missing or empty |title= (help)
  10. http://link.springer.com/10.1007/s10461-011-0087-8
  11. https://www.ncbi.nlm.nih.gov/pmc/articles/PMC8424133
  12. (84). {{cite journal}}: Cite journal requires |journal= (help); Missing or empty |title= (help)
  13. (914–923). {{cite journal}}: Cite journal requires |journal= (help); Missing or empty |title= (help)
  14. {{cite web}}: Empty citation (help)
  15. (78–84). {{cite journal}}: Cite journal requires |journal= (help); Missing or empty |title= (help)
  16. (e711–e720). {{cite journal}}: Cite journal requires |journal= (help); Missing or empty |title= (help)
  17. (430–443). {{cite journal}}: Cite journal requires |journal= (help); Missing or empty |title= (help)
  18. (e701–e710). {{cite journal}}: Cite journal requires |journal= (help); Missing or empty |title= (help)
  19. (e387–e398). {{cite journal}}: Cite journal requires |journal= (help); Missing or empty |title= (help)
  20. (e25722). {{cite journal}}: Cite journal requires |journal= (help); Missing or empty |title= (help)
  21. (39). {{cite journal}}: Cite journal requires |journal= (help); Missing or empty |title= (help)

Endagiriro endala

[kyusa | edit source]

Lua error: Invalid configuration file.