Jump to content

Flavia Anglin Senoga

Bisangiddwa ku Wikipedia

Flavia Anglin Senoga era nga amanyiddwa nga Flavia Senoga Anglin Munnamateeka omunnayuganda era omulamuzi ku kkooti enkulu mu Uganda . Yalondebwa mu kkooti eyo pulezidenti Yoweri Museveni, nga 14 ogwokussatu 2011. [1]

Ensibuko n’obuyigirize

[kyusa | edit source]

Yatikkirwa mu ttendekero ly'amatekka ku Makerere University, yuniva site ya gavumenti esinga obunene era esinga obukadde mu Uganda, n’afuna diguli mu mateeka, circa 1973. Omwaka ogwaddako, yaweebwa Dipuloma mu by’amateeka okuva mu kitongole kya Law Development Center, mu Kampala, ekibuga ekikulu ekya Uganda.

Emirimu

[kyusa | edit source]

Nga tannalinnya ku ntebe, Mukyala Senoga ye yali Omuwandiisi omukulu mu kkooti enkulu mu Uganda, omukyala eyasooka okuweereza mu kifo ekyo. [2] Yali atandise nga omulamuzi weddala erissoka, nga ekyo tekinnatuuka. [2]

Ku kkooti enkulu, yasindikibwa mu divizoni ez’enjawulo okutuusa lwe yalondebwa ng’omumyuka w’akulira ekitongole ekivunaanyizibwa ku buzzi bw’emisango. [3] Nga tebannaba kugabanya misango, omulamuzi Senoga yaweereza mu kitongole kya Executions and Bailiffs Division mu kkooti enkulu, ng’omumyuka w’akulira ekitongole ekyo. [4] Yakyusibwa n’atwalibwa mu kitongole ekivunaanyizibwa ku buzzi bw’emisango mu gwomunaana 2017. [5]

Mu misango gy’akubirizza, mulimu State vs Muhammad Ssebuufu naabala, era eyitibwa "Pine Murder Case", omutunzi w'emmotoka n'abalala mwe bavunaanibwa okuwamba kasitoma ne bamukuba okutuusa lw'afa, olw'okulemererwa okusasula ebbanja lya bukadde bwa Uganda 9 (US$2,500). [6]

Ebirala by’olina okulowoozaako

[kyusa | edit source]

Omulamuzi Flavia Anglin Senoga mmemba ku lukiiko olufuzi olw'ekitongole ekitali kya magoba ekya Agency for Accelerated Regional Development ( AFARD ), ekigenderera okutumbula embeera z'obulamu bw'abantu b'omu bbendobendo erya West Nile . [7]

Laba nabino

[kyusa | edit source]

Ebijuliziddwa

[kyusa | edit source]
  1. http://mobile.monitor.co.ug/News/2466686-1124478-format-xhtml-h43s04/index.html
  2. 2.0 2.1 http://www.haguetalks.com/speaker/flavia/
  3. http://www.judiciary.go.ug/data/incourt/16/The%20Honorable%20Judges%20of%20The%20High%20Court.html
  4. "Archive copy". Archived from the original on 2018-08-04. Retrieved 2024-09-03.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  5. http://www.monitor.co.ug/News/National/10-High-Court-Judges-transferred/688334-3960418-9773x1/index.html
  6. https://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1470498/pine-murder-flops
  7. https://afard.net/about-afard