Flavia Tumusiime

Bisangiddwa ku Wikipedia

  Flavia Tumusiime muzanyi wa firimu Munayuganda , omukozi wa Ladiyo ne Ttivi,[1][2] ayogerera ebintu ebyenjawulo ku Ttvi ne Ladiyo, omwogezi w'okumikolo era omuwandiisi wa Enaki 30 eza Flavia.[3] Yali awereza pulogulaamu ku ya (AM-PM Show) ku 91.3 Capital FM ladiyo mu Kampala,[4] yali awereza n'abalala mu pulogulaamu ya Morning @ NTVku NTV Uganda era kweyali asomera amawulire ga NTV Tonight era nga y'ayogerera wa Channel O.[5] yazanyanga Kamali Tenywa (ekifo ekyenkizo) mu muzannyo gw'obutundutundu ku Ttivi ogwa Nana Kagga, Beneath The Lies - The Series okuva mu 2014 okutuusa 2016 era nga yali omu kubakulemberamu okusanyusa abantu mu mpaka za z'omupiira eza Guinness Football Challenge.[6][7]

Emyaaka gye egy'obuto n'obuyigirize[kyusa | edit source]

Tumusiime yazalibwa mu 1989[8] mu Kampala eranga ye mwaana yekka owa Enoch Tumusiime ne Christine Asiimwe, enzalwa ye Kabale, mu bukiika ddyo bwa Uganda.[9] Omutendera gwe ogwa pulayimale yasomera ku St.Theresa Kisubi, oluvanyuma n'agenda ku Kitante Hill Secondary School gyeyasomera emitendera gyombi egya Siniya omutendera gwa "O" ne "A". Nga amaliriza siniya yegenda ku tendekero lya Makerere ery'ebyenfuna erya Makerere University Business School gyeyatikirwa digiri mu by'enfuna ku mutendera gw'ensi yonna "bachelor's degree in International Business".[9][10]

Ttivvi[kyusa | edit source]

Tumusiime abadde muwereza ku ttivi okuva nga yakavubuka. yatandika okuwwereza ku WBS TV pulogulaamu y'abavubuka abakavubuka gyeyawereza nga ne bane abalala okumala emyaaka 4.[1] Wakati wa 2010 ne 2012, yawerezanga pulogulaamu ya K-files ku WBS TV. Okuva mwaaka gwa 2011, abadde y'awereza empaka za Guiness football challenge. Zibadde nga ziwererezebwa ku NTV (Uganda), ITV ne KTN (Kenya). Mukiseera kyekimu abadde omwoogezi wa firimu ku mukutu gwa Channel O.[11] Yaliko omuwereza wa "Big Brother Africa in 2012."[12][13]

Flavia yeyunga ku NTV Ugandanga omusomi w'amawulire ga NTV Tonight mu 2016. yali omu ku bawereza ba pulogulaamu y'okumakya ku NTV gyeyatandiika mu ntandikwa y'omwaaka gwa 2018.

Ladiyo[kyusa | edit source]

Tumusiime yalina obudde butono okuwereza ku ladiyo ya HOT100 FM mu 2006 bweyali nga tananywerera ku Capital FM gyeyamala akaseera.[1][9]

Zi awaadi n'okusimibwa[kyusa | edit source]

 • Young Achievers Awardey'emikutu gy'amawulire ne banamawulire eya 2013
 • Awadi ya feeza eya pulogulamu za ladyo ne Ttivi ez'omasekati g'okumakya eza 2013.[14]
 • Abavuka abakavubuka gwebegwanyiza okubeera nga ye eza 2013 "Buzz Teeniez Awards.

[15]"

 • Omukyaala eyasinga eyasinga okwambala ku mikutu gy'empewo mu mpaka za "Abryanz Style and Fashion Awards 2015"
 • Awaadi y'omukyaala eyasinga okusanyusa ku ladiyo mu 2016.

Firimu zeyalabikiramu[kyusa | edit source]

Pulogulamu z'oku Ttivi[kyusa | edit source]

Year TV Show Role Notes
2018 Morning @ NTV Host
NTV Tonight Anchor
2014 Beneath the lies - The Series Kamali Tenywa Lead role, created by Nana Kagga Macpherson
Reserved (TV Show) Herself - Host Hosting celebrities on her web series
Tusker Twende Kazi Herself - Contestant from Uganda Celebrity
2013 Tusker Project Fame Herself - Auditions Judge Judge at Auditions (Uganda)
Year Movie/Film Role Notes
2010 Irreversable regret
2008 Kiwani: The Movie Pam Played alongside Juliana Kanyomozi as her character's niece

Laba ne bino[kyusa | edit source]

 • Jackie Lumbasi
 • Gaetano Kagwa
 • Nana Kagga Macpherson
 • Natasha Sinayobye

gyebiwanudwa[kyusa | edit source]

 1. 1.0 1.1 1.2 http://www.monitor.co.ug/Magazines/Full-Woman/Flavia-Tumusiime--A-star-glowing-on-account-of-humility/-/689842/1733774/-/g05ukfz/-/index.html
 2. "Archive copy". Archived from the original on 2015-02-19. Retrieved 2022-11-27.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
 3. https://web.archive.org/web/20160322051645/http://www.flaviatumusiime.com/30days.php
 4. "Archive copy". Archived from the original on 2021-11-24. Retrieved 2022-11-27.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
 5. "Archive copy". Archived from the original on 2012-07-04. Retrieved 2022-11-27.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
 6. http://www.sqoop.co.ug/four-one-one/flavia-gets-improved-guinness-deal.html
 7. https://web.archive.org/web/20150210171912/http://flaviatumusiime.com/work.php
 8. https://flashugnews.com/who-is-flavia-tumusiime-biography-age-and-education-of-andrew-kabuuras-wife/
 9. 9.0 9.1 9.2 "Archive copy". Archived from the original on 2017-06-21. Retrieved 2022-11-27.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
 10. http://hotsecretz.blogspot.com/2011/11/all-about-ugandan-flavia-tumusiime.html
 11. "Archive copy". Archived from the original on 2012-01-19. Retrieved 2022-11-27.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
 12. "Archive copy". Archived from the original on 2012-01-19. Retrieved 2022-11-27.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
 13. "Archive copy". Archived from the original on 2012-01-19. Retrieved 2022-11-27.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
 14. https://web.archive.org/web/20150219122828/http://www.theinsider.ug/full-list-of-winners-radio-tv-academy-awards/
 15. "Detail". Archived from the original on 19 February 2015. Retrieved 19 February 2015.

Obuyunzi obwebbali[kyusa | edit source]

 • Flavia Tumusiime on Twitter
 • Flavia Tumusiime at IMDb