Florence Muranga

Bisangiddwa ku Wikipedia

Florence Isabirye Muranga munnasayansi w'ebirungo by'emmere, omukungu w'ekitongole, era avunaanyizibwa kuntambula y'emirimu egya buli lunaku mu kitongole ekya Presidential Initiative on Banana Industrial Development (PIBID), pulojekiti ya pulezidenti eyatandikibwawo okutumbula eby'ettunzi bya matooke aga Uganda nga bayitira mu kunoonyereza n'amakolero.

Ebyafaayo n'ebyenjigiriza[kyusa | edit source]

Yazaalibwa mu disitulikiti y'e Mayuge mu 1952, era yagenda mu ssomero lya "Kabuli Primary School" nga gyeyatandikira okusoma pulayimale. Mu ssomero lye erya siniya, yagenda mu ssomero lya Gayaza High School, essomero ly'abawala ery'ekitiibwa erisangibwa mu Gayaza, Wakiso District.

Mu 1975 yamaliriza emisomo gye mu Yunivasite ya Makerere, yunivasite y'eggwanga esinga obunene era ey'edda mu Uganda, n'afuna diguli ya Bachelor of Science ne Dipulooma mu byenjigiriza, gye yafuna mu 1975. Mu 1990, yaweebwa Master of Science in Food Science okuva mu University of Reading mu Bungereza. Oluvannyuma mu mwaka gwa 2000, yafuna diguli ya Doctor of Philosophy mu Biochemistry, okuva mu Makerere University.

Obumanyirivu mu mirimu[kyusa | edit source]

Nga tannawummula, Florence Isabirye Muranga yali Kakensa w'eby'endya ne Biochemistry mu Department of Food Technology and Nutrition ku Makerere University. Ayagala nnyo omutindo gw'emmere ogw'omu bibala by'omubisi, naddala ekika ekiyitibwa matooke. Yafulumya ebiwandiiko bingi ebikwata ku kunoonyereza kwe ku nsonga eno.

Okunoonyereza ku banana[kyusa | edit source]

Mu 2005 Profesa Muranga yasisinkana pulezidenti wa Uganda, Yoweri Museveni, era pulezidenti yakwatibwako nnyo n'okunoonyereza kwa Kakensa. Oluvannyuma lw'emyaka ebiri, pulezidenti yatandikawo ekitongole kya Presidential Initiative on Banana Industrial Development (PIBID) era n'alonda Muranaga nga Senkulu wakyo. Pulogulaamu eno y'emu ku nteekateeka z'okwongera omutindo ku mmere, nga kino kivaamu ebintu eby'enjawulo ebikolebwa mu matooke omuli (a) biscuits (cookies) (b) tooke powder for porridge (c) tooke flour for matooke meal and bread-making (d) matooke chips for snack (e) matooke flakes for cereal and (f) matooke starch and others.

PIBID yassaawo faamu y'amatooke ku ttaka lya yiika 24 (e hekita 10) n'ekkolero ly'omulembe ery'okukoleramu amatooke mu kibuga Bushenyi, mu Disitulikiti y'e Bushenyi mu kitundu ky'ebugwanjuba bwa Uganda.

Amaka[kyusa | edit source]

Florence Muranga yafumbirwa Manuel Muranga mu 1978 era bombi balina abaana babiri.

Ebirala bye balowoozaako[kyusa | edit source]

Mu Noovemba 2016, pulezidenti wa Uganda yalonda akakiiko akanoonyereza ku nsonga z'omu Yunivasite ya Makerere era n'alonda Profesa Florence Muranga ng'omu ku bantu omwenda. Mu 2006, ekibiina kya Management Forum of the British Council, ekisangibwa mu London, United Kingdom, kyalaga nti Profesa Muranga y'omu ku "bakyala abakulu mu 2006". Ng'ali awaka, yawangula ekirabo kya Presidential Scientific Innovation Excellence Award mu 2005/06 Presidential Science Awards olw'omulimu gwe ogw'okusiima ebibala bya matooke.[1] Okuva mu mwaka gwa 2000, Florence Muranga abadde akola ng'omuyambi w'omukulembeze w'ekkanisa ya Saint Francis Chapel, ekkanisa ya Anglican enkulu mu Makerere University campus mu Kampala, ekibuga ekikulu ekya Uganda era ekibuga ekisinga obunene.[1]

Laba era[kyusa | edit source]

Ebyawandiikibwa[kyusa | edit source]

  1. 1.0 1.1 Cite error: Invalid <ref> tag; no text was provided for refs named Ban

Enkolagana ez'ebweru[kyusa | edit source]