Florence Namayanja

Bisangiddwa ku Wikipedia

  Florence Namayanja (yazaalibwa nga 04 Ogwekkumi, 1960) mukyala Munnayuganda munnabyabufuzi eyali omubaka omukyala akiikirira Bukoto y'omu buvanjuba mu Disitulikiti y'e Masaka. Yali muwagizi wa kibiina kya Democratic Party wabula kati yeeyunga ku kibiina kya National Unity Platform.[1] Mu Paaliyamenti ey'ekkumi n'emu, yeesimbawo okuvuganya nga omukulembeze wa LC 5 owa Masaka City wansi w'ekibiina kya National Unity Platform newankubadde akalulu kaamumegga. Ye yawangula entebe y'obwa Mayor bwa Masaka city oluvannyuma lw'okumegga banne be yavuganya nabo omusanvu omwali n'omusuubuzi omugagga, Lwasa Emmanuel n'obululu 28,824.

Ebyafaayo n'obuyigirize bwe[kyusa | edit source]

Namayanja yazaalibwa omugenzi John Kisomose Mukasa n'omukyala Pirajiya Namatove era mwana wa kutaano mu maka ag'abaaana omunaana. Certificate ya Siniya eyookuna yagifunira ku ssomero lya Masaka S.S.S mu 1978 era oluvannyuma yeeyunga ku bibiina eby'emisana n'ekiro eby'abakulu eby'e Makerere okufuna Certificate ya Siniya eyoomukaaga era yagifuna mu 2003. Yafuna Certificate mu kulungamya abakozi ba gavumenti mu 2004 ne Certificate mu bukulembeze n'obuddukanya mu 2005 okuva mu Uganda Management Institute.[1] Mu 2007, yeegatta ku Makerere University okufuna degree ye esooka mu Industrial and Organisational Psychology[2] mu mwaka gwe gumu, (2007) yaweebwa certificate mu Building Communities of Character okuva mu Character Training Institute, Oklahoma.[3]

Emirimu gy'akoze[kyusa | edit source]

Yaliko omukulu ku National Water and Sew.Corp (1981-1994). Oluvannyuma yaweebwa omulimu ng'omu ku b'akakiiko ku Ssomero Ly'abasawo e Mulago (2008-2009) n'e ku kakiiko ka Kyambogo University (2006-2011).[4]Mu mwaka gwe gumu (2006-2011), yaweereza nga mmemba ku kakiiko ka National Water & Sewerage Corporation. okwongerezaako ku ebyo, yali Kkansala wa LC5 (2001-2006) era yaweerezaako nga omumyuka wa Mayor w'ekibuga Kampala (2006-2011).[1]

Obuweereza bwe mu by'obufuzi[kyusa | edit source]

Okuva mu 2011 okutuuka mu 2016, yali mukiise mu Paaliyamenti y'e Uganda ey'omwenda n'ey'ekkumi yafuna obuweereza obulala mu Paaliyamenti y'e Uganda ku kakiiko ka Natural Resources, ne ku kakiiko ka Commissions, State Authorities & State Enterprises.[1]

Obulamu bwe obw'ekyama[kyusa | edit source]

Yayawukana n'omwagalwa we. Ayagala okunoonyereza ebintu ebipya, n'okukola emikwano emipya. Munnalotale (Rotary)era mukulembeze w'abakyala ba DP (Head of DP Women League).

Obutakkaanya[kyusa | edit source]

Florence Namayanja ne Dr Abed Bwanika, bammemba b'ekibiina ki National Unity Platform - baakwatibwa mu bwegugungo obwaddirira okukwatibwa kwa Robert Kyagulanyi Ssentamu eyakwatira ekibiina ekyo kaada y'obwa Pulezidenti. Bakwatibwa wamu ne Evan Kanyike eyakiikirira ekibiina kya NUP mu kuvuganya ku ky'obubaka bwa Paalamenti obwa Bukoto y'omu buvanjuba okwo kw'ossa ne Juliet Kakande Nakabuye ey'esimbawo okukiikirira abakyala e Masaka ne kaada y'ekibiina ekyo ne bavunaanibwa okukukuma mu bantu omuliro awamu n'okusaasaanya ebirwadde ebikambwe, wansi w'akawaayiro 171 ak'etteeka lya Penal Code Act.[5] oluvannyuma baateebwa ku kakalu.

Laba era[kyusa | edit source]

  • Olukalala lw'abakiise mu Paalamenti y'e Uganda ey'ekkumi
  • Alintuma Nsambu
  • Masaka District
  • Olukalala lw'abakiise mu Paalamenti y'e Uganda ey'omwenda
  • Paaliyamenti ya Uganda
  • Omubaka wa Paalamenti
  • National Unity Platform

Ebijuliziddwamu[kyusa | edit source]

  1. 1.0 1.1 1.2 1.3 {{cite web}}: Empty citation (help)
  2. "Archive copy". Archived from the original on 2021-04-29. Retrieved 2023-03-11.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  3. "Archive copy". Archived from the original on 2021-04-29. Retrieved 2023-03-11.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  4. "Archive copy". Archived from the original on 2021-04-29. Retrieved 2023-03-11.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  5. Cite error: Invalid <ref> tag; no text was provided for refs named :1