Grania Rubomboras
Grania Rosette Makatu Rubomboras (eyali Grania Makatu) Munnayuganda omulongooserezi w'amasanyalaze era corporate executive. Ye Offiisa wa Programme, Power Project eya Nile Equatorial Lakes Subsidiary Action Program, esangibwa mu Kigali, Rwanda, eyo gyakilembera enkulaakulana z'amasanyalazze ne Dipaatimenti y'ebyobusuubuzi.[1]
Ebimukwaatako n'emisomo
[kyusa | edit source]She yazaalibwa mu Uganda era n'asoma emisomo gya pulayimale mu masomero g'abulijjo. Yasomera Gayaza High School, nakuguka mu Essomabuzimbe (Physics), essomabuziba (Chemistry) n'Ebyokubala (Mathematics).[2] Yasoma enongooserezi (engineering) mu Yunivasitte y'e Makerere, n'atikibwa ne Diguli ya Sayansi mu nongooserezi z'amasanyalaze mu 1978.[2] Oluvanyuma, yafuna diguli ya Masters mu kudukanya ebya Buzinensi, okuva mu Makerere University Business School.[3] Alina diguli ya Masters mu bya Sayansi mu Kudukannya Puloojekitti, eyamuweebwa Yunivasitte ya Boston.[2]
Emirimu
[kyusa | edit source]Oluvanyuma lw'akiseera nga tali mu Uganda, Rubomboras yegatta ku kitongole kati ekitakyaakola ekya "Uganda Electricity Board" mu 1992.[2] Yayambuka nga ayita mu rank okutuuka mu kifo kya Managing Director, mu 2003 .[4][5] UEB bweyagalwaawo mu 2004, Rubomboras yamala emyaaka egiwerako nga Manager w'enteekateeka za Puloojekiti mu "Rural Electrification Agency, eyo jye yali alkulira Dipaatimenti eteekateeka". [<span title="This claim needs references to reliable sources. (September 2017)">citation needed</span>]
Mu mirimu gye nga regional project manager wa Nile Equatorial Lakes Subsidiary Action Program, Interconnection of Electric Grids Project, n'oluvanyuma nga omukulu wa Power Development ne dipaatimenti y'ebyobusuubuzi. Dipaatimenti ye evunaanyizibwa ku bikolwa bittaano: 1. Okukwataganya entabuza y'amasanyalazze ga Burundi, the Democratic Republic of the Congo, Kenya, Rwanda ne Uganda. 2. Enkulaakulana ya Rusumo Hydroelectric Power Station 3. Emisomo gy'okwetegereza entabuza n'ensaasanya y'amasanyalaze ekiteekedwaawo okugatta ega Tanzania ku ga Zambia. 4. Enkulaakulana y'okusaasanya amasanyalaze wakati wa Uganda ne Democratic Republic of the Congo era 5. Enkulaakulana y'ensaasaana ya masanyalaze ga Uganda - South Sudan.[2]
Obulamu bwe
[kyusa | edit source]Rubomboras maama w'abaana babbiri – omuwala ayittibwa Emily n'omutabani ayittibwa Albert.[2]
Ebirala
[kyusa | edit source]Mu Gwokutaano 2017, Rubomboras yasiimbibwa ku lwe mirimu gye mu kuteekateeka national electricity grid networks ez'amawanga 5 zi mmemba za Nile Basin Initiative, omuli: Burundi, Democratic Republic of Congo, Kenya, Rwanda ne Uganda. Okusiimibwa kwaali ku mukolo gw'omwaaka ogwa "African Utility Week Power Industry Awards" ogwategekebwa mu Cape Town, South Africa, nga 17 Ogwokuttaano 2017.[1][6][7]
Laba na bino
[kyusa | edit source]Ebijuliziddwa
[kyusa | edit source]- ↑ 1.0 1.1 "Archive copy". Archived from the original on 2019-05-14. Retrieved 2024-04-24.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ 2.0 2.1 2.2 2.3 2.4 2.5 http://www.spintelligentpublishing.com/Digital/ESI-Africa/issue2-2016/html5/index.html?page=80&noflash
- ↑ "Archive copy" (PDF). Archived from the original (PDF) on 2010-12-20. Retrieved 2024-04-24.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ https://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1266508/ueb-assets-earn-sh3b
- ↑ https://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1102208/ueb-spends-usd30m-stations-upgrade
- ↑ http://www.monitor.co.ug/News/National/Umeme--National-Water-recognized-in-continental-awards/688334-3910056-p7wjv8/index.html
- ↑ https://web.archive.org/web/20170926042215/http://www.african-utility-week.com/AUW-Awards-2017-finalists