Haruna Kasolo Kyeyune
Haruna Kasolo Kyeyune munnabyabufuzi mu Uganda . Ye Minisita omubeezi mu avunaanyizibwa ku byensimbi mu kabineti ya Uganda Obuvunaanyizibwa bwe mu minisitule eno ey'ebyensibi obusinga bukwata ku ssente entonotono ezikozesebwa mu byobusuubuzi oba bizinensi entonno mu lungereza ekiyitibwa Microfinance . Yalondebwa ku kifo ekyo nga 6 Ogwomukaaga 2016. [1] Kasolo era yaliko omubaka mu palamenti akiikirira Kyotera County mu disitulikiti ye Rakai mu Palamenti ya Uganda ey’ekkumi (2016–2021). [2] Mu kulonda kwa bonna okwaliwo mu Uganda mu mwaka 2021, John Paul Mpalanyi Lukwago munna Democratic Party (DP) yamuwangula era bwatyo Kasolo nafiirwa ekifo mu palamenti nga omubaka omulonde yadde nga ne palamenti y'ekkumi nemu atuula olw'ekifo kye nga minisita.[3] [4] Kasolo nga minisita amannyiddwa nnyo olwokubunyisa entekateeka za gavumenti naddala ezo eziri mu minisitule y'ebyensimbi okugeza nga emyooga ne Parish Developemnt Model (PDM) ssako n'okuba omu ku bateesa ku pulogulaamu y'ebyobufuzi ebeera ku TV ya NBS buli lwakubiri nga eno eyitibwa NBS Barometer.[5][6][7][8][9]
EBIRALA EBIMUKWATAKO
Hajji Kasolo nga ojjeeko okuba munna byabufuzi musajja mufumbo era mukyala we ye Dr. Ruth Aisha Biyinzika.[10][11] Kasolo era omu ku basuubuzi abatutumufu mu Uganda ne mu bbendo bendo lye Masaka era nga ye nnanyini wooteri ya Solo Hites esangibwa mu kibuga masaka.[12][13]
Laba ne
[kyusa | edit source]Ebiwandiiko ebijuliziddwa
[kyusa | edit source]- ↑ https://web.archive.org/web/20161007121926/http://www.monitor.co.ug/blob/view/-/3235304/data/1345443/-/3o16hn/-/Museveni%27s+cabinet.pdf
- ↑ https://web.archive.org/web/20160527141255/http://www.parliament.go.ug/new/index.php/members-of-parliament/members-of-parliament
- ↑ https://www.independent.co.ug/ex-officio-ministers-take-oath-in-parliament/
- ↑ https://www.independent.co.ug/kyotera-nup-dp-supporters-released-on-bail/
- ↑ https://www.independent.co.ug/minister-kasolo-sets-deadline-for-emyooga-defaulters/
- ↑ https://presidentialinitiatives.go.ug/minister-haruna-kasolo-urges-enforcement-of-emyooga-loan-repayments/
- ↑ https://www.monitor.co.ug/uganda/news/national/govt-to-delete-rich-people-from-pdm-beneficiary-lists-4777172
- ↑ https://www.independent.co.ug/minister-kasolo-orders-banks-to-refund-pdm-account-opening-fees/
- ↑ https://nilepost.co.ug/news/216660/minister-kasolo-raises-concern-over-poor-implementation-of-pdm-in-buvuma
- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2024-06-19. Retrieved 2024-09-27.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ https://satisfashionug.com/inside-min-haruna-kasolo-psfus-dr-ruth-aisha-biyinzikas-plush-traditional-wedding/
- ↑ https://blizz.co.ug/7655/Micro-Finance-Minister-Haruna-Kasolo-Launches-Own-Four-Star-Hotel-in-Masaka-City--Solo-Hites-Hotel
- ↑ https://scribe.co.ug/here-are-the-faces-behind-hotel-ownership-in-masaka-city-what-drives-their-progress/