Jump to content

Hellen Adoa

Bisangiddwa ku Wikipedia

Hellen Adoa (yazaalibwa 25 January 1977), munnabyabufuzi mu Uganda era akola nga omubaka Omukyala owa disitulikiti eye Serere mu Palamenti ya Uganda ey'ekkumi (2016 okutuuka 2021).

Okuva nga 14 December 2019, mu kiseera kye kimu y'akola nga Minisita w’eggwanga ow’ebyobuvubi, mu kabineti ya Uganda .

Ebyafaayo n'okusoma[kyusa | edit source]

Yazaalibwa mu Disitulikiti y’e Serere, mu kitundu ky’e Teso, mu bitundu ky’obuvanjuba bwa Uganda, nga 25 January 1977. Yasomera mu Kelim Primary School . Yasomera mu Ngora Girls Secondary School, olw’okusoma kwe okwa O-Level, n’atikkirwa ne Uganda Certificate of Education, mu 1992. Mu 1995, yamaliriza emisomo gye egya A-Level mu Ngora High School, n’atikkirwa ne Uganda Advanced Certificate of Education .

Alina dipulooma bbiri; emu mu Business Studies, yaweebwa Victoria Business Institute, Tororo, ate endala ya eri mu Education Management, okuva mu Uganda Martyrs University . Diguli ye esooka, Bachelor of Democracy and Development Studies ne diguli ey'okubiri mu gavumenti ez'ebitundu n'eddembe ly'obuntu, zombi zamuweebwa Uganda Martyrs University.

Omulimu ogwasooka eby'obufuzi[kyusa | edit source]

Okumala emyaka 15, okuva ku ntandikwa ya 2001 okutuuka ku nkomerero ya 2015, Hellen Adoa yaweereza nga dayirekita mu matendekero ag’enjawulo ag’abaana abato, ng’agamu ku go y'omu kubananyini go. Era ye dayirekita mu ssomero lya Halcyon High School .

Omulimu gw’ebyobufuzi[kyusa | edit source]

Yayingira eby'obufuzi bya Uganda bwe yavuganya ku kifo ky'Omubaka Omukyala owa Disitulikitit eye Serere mu 2016. Yalondebwa, era mu kiseera kino ye mubaka wa palamenti omujjuvu owa Disitulikiti eyo ey’e Serere. Awandiika ku kibiina ky’eby'obufuzi ekiri mu buyinza ekya National Resistance Movement .

Nga 14 December 2019, yalondebwa mu kabineti ya Uganda nga minisita w’eby'obuvubi; ekifo kye yalondebwamu omukulembeze w'eggwanga lya Uganda Yoweri Kaguta Museveni. Yalayira nga Minisita omubeezi ow'eby'obuvubi nga 13 January 2020.

Laba ne[kyusa | edit source]

Ebijulizidwa[kyusa | edit source]

Ebiyungo eby’ebweru[kyusa | edit source]