Hilary Onek
Hilary Obaloker Onek yazaalibwa nga 5 ogwokutaano 1948, munnayuganda, Yinginiya ate nga munnabyabufuzi. Ye Minisita wa Relief, Disaster Preparedness and Refugees. mu lukiiko lwa Uganda olukulu. [1]Yalondebwa mu kifo ekyo nga 27 ogwokutaano 2013. Yadda mu kifo kya Tarsis Kabwegyere. Nga ekyo tannakifuna, Hilary Onek yakolako nga Minister for Energy & Minerals, okuva nga 16 ogwokubiri 2009 okutuuka nga 27 ogwokutaano 2011. Ekyo era nga tannakifuna, yakolako nga Minisita w'eby'obulimi, obulunzi n'obuvubi okuva mu 2006 okutuuka mu 2009. Ye mmemba wa paalamenti omulonde owa Lamwo County mu Lamwo Disitulikiti. Yasooka okulondebwa mu paalamenti mu 2001.
Ebyafaayo
[kyusa | edit source]Onek Hilary yazaalibwa nga 5 ogwokutaano 1948, nga ye mwana owokubiri owa Samson Okello Otto, mutabani wa Rwot Damwoy ow'ekika kya Pakala mu Palabek Gem ne Muky. Jera Ayoo, muwala wa Rwot Onyanga, Omwami wa Palabek, omu ku baami omukaaga aba Lamwo County. Ekika kya Pakala kisangibwa mu Gem, Lokung n'ebitundu ebimu ebya South Sudan, ku nsalosalo ya Palabek ne Lokung. Mu nnaku ez'edda, Rwodi oba amaka g'abalangira ba Acholi baategeka obufumbo bw'abaana baabwe.
Mze Samson Okello Otto yali akola mu King's African Rifles (KAR) mu Kenya mu 1946 bwe yafumbirwa Mama Ayoo. Yava mu magye mu 1954 ne yeegatta ku Public Works Department (PWD) e
oluvannyuma n'akola mu bitundu bya Uganda eby'enjawulo, omwali Mubende, Hoima, Soroti ne Moroto. Mze Otto yatambula ne famire ye buli gye yafunanga omulimu.
Okusoma
[kyusa | edit source]Hilary Onek yasomera ppulayimale e Moroto mu Karamoja. Yasomera "O" & "A" mu St. Mary's College Kisubi wakati wa 1965 ne 1970.[3] Wakati wa 1971 ne 1974, Onek yasomera mu Makerere University, ssettendekero esinga obukulu mu Uganda naye yavaamu nga tannaba kutikkirwa. Yeeyongerayo mu People's Friendship University mu Moscow, Russia, gye yasomera okuva mu 1974 okutuuka mu 1979, gye yafuna ddiguli ya Bachelor of Science (BSc) in Civil Engineering ne Master of Science (MSc) in Engineering, nga ayakuguka mu Water Resources & Hydro-technical Structural Engineering.
Okweyongerayo ne Masters ye, yeetaba mu lukungaana mu Moscow Institute of Civil Engineering mu Hydropower Dams & Hydro-technical Structures, wakati wa 1979 ne 1980.
Hilary Onek era alina ne Postgraduate Certificate mu Investiment Appraisal and Management okuva mu Harvard University, mu Cambridge, Massachusetts, United States wakati wa 1994 ne 1997, yafuna ne Postgraduate Certificate endala mu Public-Private Partnership in Utility Management okuva mu Institute For Public-Private Partnerships, mu Washington, DC. Wakati wa 1998 ne 2000, yagenda e Makerere University n'atikkirwa ne ddiguli ya Master of Business Administration, (MBA). [4]
Bye yakugukamu
[kyusa | edit source]Yakuguka mu bino wammanga:
- Bachelor of Science (BSc) in Civil Engineering – Moscow University – 1977
- Master of Science (MSc) in Civil Engineering, majoring in Water Resources Engineering & Hydro-Technical Structures[5]– Moscow University – 1979.
- Master of Business Administration (MBA) – Makerere University – 2000
- Chartered Engineer omuwandiise mu Uganda – alina obuyinza okussa omukono ku biwandiiko by'ekikugu, n'okuwa amagezi g'ekikugu ku nsonga za Civil Engineering.
Emirimu
[kyusa | edit source]Hilary yatandika omulimu gwe ogwa Yinginiya nga ali mu ssetendekero. Yakola nga Kiyambi ku Site Engineer, Nurek 305m Hydropower Dam Construction, Tajikistan (USSR), wakati w'ogwokutaano n'ogwomunaana 1977. Wakati w'gwokutaano n'ogwomunaana 1978, yakola nga Kiyambi wa Site Engineer 280m Inguri Hydropower Concrete Arc-Dam Construction, mu Republic of Georgia mu Soviet Union.
Mu budde bwe yamala mu Moscow Institute of Civil Engineering Hydro-technical Engineering Laboratory, yeetaba mu kutegeka pulojeki z'ebweru.
- Yeeaba mu kutegeka kwa Kabur 80m Hydropower Dam in Syria
- Yali mmemba ku ttiimu eyategeka amabibiro g'amasannyalaze ana ku Andes Ranges in Peru, South America
- Yakola okugezesa okwenjawulo ku ku busobozi bw'ettaka ery'ebika eby'enjawulo erikozesebwa mu mabibiro mu mbeera ez'enjawulo n'okussaawo ebigobererwa ba Yinginiya.
- Yakola empapula ezisoba mu kkumi ku misomo egikwata mu kuzimba amabibiro.
Mu 1980, Hilary yakomawo e Uganda n'afuuka omusomesa e Makerere University mu Department of Technology, teaching Water Resources Engineering and Hydro-technical Structural Engineering. Yakola ku mirimu gy'abayizi, yakola okunoonyereza ku River Nile ne ku migga gya Uganda emiralal. Okunoonyereza kwe kwalagibwa mu misomo gy'amasannyalaze egyawagirwa National Research Council n'ebibiina ebirala. Yasigala e Makerere okutuusa mu 1983.
Mu 1982, yalondebwa nga Chief Engineer ku National Water and Sewerage Corporation. Omulimu gwe mu NWSC gw'alimu okuzimba amaterekero g'amazzi, okutumbula sitaasoni, n'okutambuza amazzi mu Kampala n'ebibuga ebirala mu Uganda. Mu kusiima emirimu gye, ab'obuyinza baamukuza ku kifo kya Managing Director wa NWSC mu 1983.
Bwe yali akola mu NWSC, emirimu gy'amazzi ne suwegi egyali mu Kampala, Jinja ne Entebbe mwokka gy'agaziyizibwa ne mu bibuga ebirala omuli Mbale, Tororo, Masaka, Mbarara, Kasese, Fort Portal, Gulu ne Lira. Yateekawo enteekateeka eya wamu okukola ku nkulaakulana entono n'ennene n'ekirowoozo eky'okufuula NWSC ekitongole ky'amazzi ekisinga mu kitundu. Wakati wa 1984 ne 1998, yaateekawo enkulaakulana ne pulogulaamu etendeka abantu okubeerawo nga beekulaakulanya mu kibiina. Yalabirawo enkola ey'okukozesa internal management information system (MIS) ne digitized geographical information system (GIS), nga kino kiyamba okukola ku ba kasitoma obulungi. Yazuula enkola ya Public-Private Partnership mu NWSC nga afuula omusolo okuba nga gukungaanyizibwa bantu. Kino kyayamba nnyo mu biseera bye kubanga omusolo gwakubisibwamu emirundi ebiri. Mu 1987, Hilary yeetaba mu kuddamu okutegeka enzimba ya Mnafwa Water Works, omulimu guno tegwatambula bulungi era ne gugwa. Kino kyava mu kupangisa muzimbi okuva ebweru eyakola ebitaliimu. Yakolako nga Managing Director wa NWSC okutuusa mu 1998.
Wakati wa 1998 ne 2001, yakola nga nakyemalira, omukugu eyeebuzibwako mu kkampuni ya EOM Services Limited, nga akola nga eyeebuuzibwako mu bifo bya Human Resources Management, Investment Appraisals and Management, Water Supply ne Structural Engineering.
Eby'obufuzi
[kyusa | edit source]Hilary Onek yeetaba mu by'obufuzi mu 2001, nga ali mabega wa National Resistance Movement (NRM). Ykola nnyo mu kunoonya akalulu ka National Resistance Movement (NRM) muj Acholi sub-region wakati w;omwezi ogusooka n'ogw'okusatu 2001. Yeesimbawo ku bw'obubaka bwa paalamenti akiikirira Lamwo konsitituensi era nga yawangula mu gwomukaaga 2001. Yaddamu n'alondebwa ku kifo kye kimu mu gwokubiri 2006, n'era ku kibiina kya NRM. Yalondebwa nga Minisita w'eby'obulimi, okulunda n'okuvubamu gwomukaaga2006, okutuuka mu gwokubiri 2009[6]. Nga Minisita w'okulima n'okuvuba, yakubiriza abantu okukozesa obulungi obutonde bw'amazzi mu East Africa.[7] Nga 16 ogwokubiri 2009 Hilary Onek yalondebwa ku bwa minisita wa Energy and Mineral Resources, okutuuka mu gwokutaano 2011.[8] Mu kukyusa obukulembeze nga 27 ogwokutaano 2011, yaweebwa obwa Minisita wa Internal Affairs.
Onek y'omu kw'abo abavunaanibwa okulya enguzi okuva ku makolero g'amafuta. Amafuta g'obummonde Tullow Oil kigambibwa nti yasasula Onek enguzi nga ababaka abalala tebannalaba kwenyigira mu saga. Nga oggyeeko amasimu agaakubirwa, looya Severino Twinobusingye, yasobola okuwangula omusango era n'alagira Attoney General okulekera awo n'okuyimiriza amasimu ag'egoba ku mulimu.[9]
Nga bagoberera okuteebereza okulala okwagwawo okwava mu musango gwa Tullow oil n'ebiralal, baasaba boongere okunoonya obukakafu obulaga nti waaliwo obuli bw'enguzi.[10]
Bizinensi
[kyusa | edit source]Hillary Onek musajja munnabizinensi. Ye yatandikawo Kitgum Bomah Hotel mu Kitgum ne Gulu Bomah Hotel mu Gulu. Kitgum hetel ye wooteri eyookuna mu Northern Uganda erina ekidiba ekiwugirwamu, nga oggyeeko (a) Paraa Lodge (b) Chobe Lodge, zonna mu Murchison Falls National Park ne Acholi Inn e Gulu.[11]
Obukulembeze mu paalamenti
[kyusa | edit source]Okuva mu 2001, Onek akoze mu bifo bya aalamenti bino wammanga:
- Committee on Natural Resources – Ssentebe w'akakiiko(2001–2002)
- Committee on Legal & Parliamentary Affairs – Mmemba (2001–2003)
- Committee on Science and Technology – Mmemba (2003–06)
- Committee on the Humanitarian Situation in Northern Uganda – Mmemba(2004–2005)
Obukulembeze obulala
[kyusa | edit source]Abaddeko omukulembeze mu bifo bino:
- Ku Saint Mary's College Kisubi – (1965–1970)
- Yeetabye mu by'ensoma n'emizannyo. yakola nga House prefect mu Mugwanya House okuv mu 1967 okutuuka mu 1968. Yalondebwa nga ssentebe w'akakiiko k'essomero mu 1967, nga akola nga okutuuka mu 1968. Yaddamu n'alondebwa mu 1969 okutuuka mu 1970. Yali mmemba wa National Union wa abayizi ba Uganda (NUSU) okuva mu 1969okutuuka mu 1970 nga akola nga oukulwa w'okubala ne Physics. Mu kiseera ekyo, yali ssentebe wa St Mary's High School Social Club. Okuva mu 1969 okutuuka mu 1970, yali kapitaani wa basket team y'essomero. Yakola nga mmemba mu mirimu gy'essomero egiwera nga okubuuka, okuva mu 1967 okutuuka mu 1970.
- Mu Makerere University – (1971–1974)
- Yakola nga omuwandiisi wa NUSU okuva mu 1971 okutuuka mu 1972. Yakola nga kapitaani wa Mitchel Hall basket team okuva mu 1971 okutuuka mu 1973. yali ku kakiiko ka Students' Progressive Political Camp era yanoonyezanga abayizi obuwagizi
- Mu Moscow University – (1974–1979)
- Omukulembeze w'abayizi ba Uganda Student Union nga akola okuva mu 1977 okutuuka mu 1979. Mu gwokubiri 1979 yategeka okwekalakaasa kwa Ligya embassy mu Moscow eri Idi Amin.
Enteekateeka z'ekikugu
[kyusa | edit source]- Member, Board of Directors Management Training and Advisory Center, Uganda – 1982 to 1985
- Member, Board of Directors Reconstruction and Development Corporation, Uganda – 1987 to 1989
- Member, Board of Directors Civil Aviation Authority of Uganda – 1991 to 1997
- Executive Board Member, Technical Committee of International Water Supply Association (IWSA) – 1989 to 2000
- Corporate Member, Uganda Institute of Professional Engineers (UIPE) – 1989 to Present[12]
- Registered (Chartered) Engineer in Uganda – 1989 to Present
Ebitabo by'awandiise
[kyusa | edit source]Wammanga bye binu ku bitabo n'empapula ze yawandiikanga ze yalaganga mu misomo egyenjawulo.
- "Elastic Beam on Flexible Foundation", Trud UDN – Moscow – March 1977
- "On the Mechanical Strength of Soil in Dam Structure", Trud MICI – Moscow – May 1980
- "Analysis of Stressed-strained Conditions and Structural Failure of Railway Embankments". Work done for Uganda Railways Corporation. – December 1980
- "Exploitation of Lake Levels for Hydropower in Uganda" Paper presented at Energy Workshop and published by the Uganda National Research Council. – July 1981
- "Dimension Analysis in Engineering – A research and modeling tool". Paper presented to staff and postgraduate students at the Faculty of Technology, Makerere University. – March 1982.
- Co-Authored: "Water Pricing Experiences, An International Perspective". Editors: Ariel Dinar & Ashok Subramanian. World Bank Technical Paper Number 386. – 1997
- "Water Utility Research: National Water and Sewerage Corporation Uganda". 23rd WEDC Conference – Durban, South Africa. – September 1997.
- "Public-Private Partnership: National Water and Sewerage Corporation, Uganda". 24th WEDC Conference – Islamabad, Pakistan. – September 1998.
- "Poor Design of Kiira Extension at Jinja Dam and Resultant Excessive Discharge of Water for Power Generation, The Main Cause of Dropping Lake Victoria Levels" Paper presented, as the main theme at Abraham Waligo Memorial Lecture organized by Uganda Institute of Professional Engineers. Faculty of Technology, Makerere University, Kampala. September 2004.
- "Challenges and Opportunities to Agricultural Transformation: Option for Increasing and Sustaining Agricultural Growth and Development in Sub-Saharan Africa". Keynote Address, World Agricultural Forum, St. Louis, Missouri, United States. – 7 to 10 May 2007. Partly due to the impact of this keynote address, the next World Agricultural Forum was for the first time held in a location other than St. Louis, Missouri. The 10th World Agricultural Forum (WAF), was held in Kampala, Uganda in 2008.
Laba
[kyusa | edit source]- Cabinet of Uganda
- Parliament of Uganda
- Lamwo District
Ebijuliziddwa
[kyusa | edit source]- ↑ https://www.newvision.co.ug/news/653889-uganda-to-negotiate-return-of-refugees.html
- ↑ https://web.archive.org/web/20140513105014/http://www.parliament.go.ug/mpdata/mps.hei?p=f&n=t&details=t&j=230&const=Lamwo++County&dist_id=114&distname=Lamwo
- ↑ https://en.wikipedia.org/wiki/New_Vision_(newspaper)
- ↑ https://www.monitor.co.ug/News/National/-/688334/1387194/-/aw2iglz/-/index.html
- ↑ https://web.archive.org/web/20140513163006/http://www.newvision.co.ug/D/8/26/392697
- ↑ https://web.archive.org/web/20141211112501/http://www.newvision.co.ug/D/8/12/501695
- ↑ https://web.archive.org/web/20140513190321/http://www.newvision.co.ug/D/8/220/507172
- ↑ https://www.ogj.com/drilling-production/article/17275558/uganda-wants-all-of-its-oil-refined-domestically
- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2021-09-05. Retrieved 2021-09-05.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ https://allafrica.com/stories/201303180239.html
- ↑ https://web.archive.org/web/20140513213531/http://www.newvision.co.ug/D/8/30/417304
- ↑ https://web.archive.org/web/20140513182814/http://www.newvision.co.ug/D/8/12/684745