Jump to content

Idah Nabayiga

Bisangiddwa ku Wikipedia

Idah Nabayiga (yazaalibwa nga 14 Ogw'ekkuminoogumu ogwa 1979). Munnabyabufuzi Omunnayuganda era nga ye Mukyala akiikirira Disitulikiti y'eKalangala mu Paalamenti ya Uganda ey'ekkumi. Munnakibiina kya National Resistance Movement era nga mu kalulu ka 2016 konna yali wansi wakyo.

Ebyafaayo bye[kyusa | edit source]

Idah Nabayiga yazaalibwa mu Disitulikiti y'eKalangala.

Okusoma kwe[kyusa | edit source]

Idah Nabayiga yasomera ku ssomero lya Memere Primary School . Mu 1994, yayingira essomero lya St. Henry's Buyege Secondary School nga eno gyeyasomera siniya yonna. Oluvannyuma yagenda ku ssettendekero wa Makerere University mu 2003, era eno yafunayo Diguli mu Busomesa. Idah Nabayiga alina ne Satifikeeti mu Mateeka agakwata mu kuddukanya ebifo nga eno yagiggya ku Kifo awakolerwa amateeka ga Uganda mu 2008. Mu 2011, yafuna Dipulooma Eyaabamaze okusomako mu Kuyiga Okukwasaganya Abantu era nga eno yagiggya ku Ttendekero lya Uganda Management Institute. Ensangi zino ali mu kusoma Diguli Ey'okubiri mu Kukola n'okutuusa enkola za gavumenti era nga eno ali mu kugisomera mu ttendekero lyerimu.[1]

Emirimu gye[kyusa | edit source]

Nga tannaba kuyingira byabufuzi, Idah Nabayiga yali akola mu kukulaakulanya ebitundu era nga yali akolera mu gavumenti yaaawansi ku Disitulikiti wakati wa 2006 ne 2012. Oluvannyuma, wakati wa 2012 ne 2015, yaweereza nga Addukanya abakozi era nga akolera mu kifo kyekimu.

Idah Nabayiga yasomerera busomesa era nga ne mu paalamenti eyekkumi yali ku kakiiko K'ebyensoma N'ebyemizannyo.[2]

Obutabanguko bweyalimu n'obulwanirizi bweddembe[kyusa | edit source]

Idah Nabayiga yoomu ku Bakiise mu Paalamenti abali wansi w'ekibiina kya National Resistance Movement abagambibwa okuwakanya ekiteeso ky'omusolo ku ssente ezitambulizibwa ku masimu ekyali kiteeseddwa omukulu w'eggwanga, Yoweri Kaguta Museveni mu 2018[3]

A newspaper poll in 2017, listed Idah Nabayiga yafulumira nnyo mu mpapula z'amawulire nga omu ku Bakiise mu Paalamenti abaali bawakanya ekiteeso eky'okwongerayo emyaka gy'omukulembeze w'eggwanga.[4] Kigambibwa nti yalekulira akalulu olw'okutya okumutuusaako obuzibu okuva eri abalonzi.[5]

Akoze erinnya mu kuwakanya nookugaana ebya Gavumenti ya Uganda okugaana okwogera ku nsonga Y'amagye g'eggwanga okuyisa okukozesa obukambwe obuyitiridde ku bavubi ku Nyanja Nalubaale brutality against fishing.[6][7]

Obulamu bwe[kyusa | edit source]

Idah Nabayiga mukyala mufumbo.[2]

Mu 2016, yasiattuka akabenje k'emmotoka oluvannyuma lw'emmotoka mweyali okugwa neeyeefuula.[8]

Ebijuliziddwa[kyusa | edit source]

  1. https://www.parliament.go.ug/mp_database/profile.php?mid=334
  2. 2.0 2.1 https://www.parliament.go.ug/mp_database/profile.php?mid=334
  3. https://theinsider.ug/index.php/2018/10/03/nrm-mps-who-defied-museveni-on-mobile-money-tax-listed/
  4. https://observer.ug/special-editions/56240-age-limit-battle-who-is-winning.html
  5. "Archive copy". Archived from the original on 2020-12-08. Retrieved 2023-03-24.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  6. https://www.softpower.ug/govt-denies-updfs-involvement-in-brutality-against-fishing-communities/
  7. http://capitalradio.co.ug/parliamentarians-want-updf-fishing-communities/
  8. https://www.monitor.co.ug/News/National/Kalangala-MP-motor-crash/688334-3388482-ki8k7/index.html