Irene Mulyagonja

Bisangiddwa ku Wikipedia

Irene Mulyagonja Kakooza yazaalibwa Irene Mulyagonja, munayuganda munnamateeka era omulamuzi w'e Uganda eyalondebwa okubeera ku kkooti ejulirwamu mu Uganda nga 4 Ogwekkumi 2019.

Yali kaliisoliiso wa gavumenti, okuva nga 12 Ogwokuna 2012 okutuuka nga 4 Ogwekkumi 2019. Yaweereza ng'omulamuzi mu kkooti enkulu eya Uganda okuva mu 2008 okutuuka mu 2012.

Ebyafaayo[kyusa | edit source]

Yazaalibwa mu 1963, mu kibuga Jinja, mu kitundu ky'ebuvanjuba bwa Uganda. Kitaawe yali yinginiya w'ebizimbe era, eyalina kkampuni ye ey'okuzimba, ate nnyina yali musomesa w'essomero lya pulayimale. Yakulira mu maka ag'ekika ekya waggulu ag'abaana 13 nga bana ku bbo baazaalibwa naye, ate munaana baali baana ba kitaawe okuva mu baganzi be abalala.

Okusoma[kyusa | edit source]

Yasomera mu Naranbhai Road Primary School, mu kibuga Jinja, emyaka 7 egya pulayimale. Yasomera mu Mount Saint Mary's College Namagunga ku madaala aga O-Level ne A-Level. Yaweebwa ekifo mu Yunivasite ya Makerere, yunivasite y'eggwanga esinga obunene mu Uganda, okusoma amateeka, n'afuna diguli esooka mu mateeka. Alina ne dipulooma mu by'amateeka, gye yafuna okuva mu Law Development Centre, mu Kampala. Diguli eya Master of Arts in Counseling yamuweebwa Makerere University. Alina ne dipulooma mu mateeka g'abakyala, okuva mu University of Zimbabwe.

Emirimu egyasooka[kyusa | edit source]

Mu 1989, yafuna omulimu ng'omuyambi w'omusomesa mu Law Development Centre, n'aweereza mu kifo ekyo okutuusa mu 1993. Yakola ne kkampuni bbiri ennene mu Kampala, omuli Muliira and Company Advocates, gye yasisinkanira omwami we. Bwe yava mu kkampuni eyo mu 1996, ye ne mukozi munne omulala, Eva Luswata Kawuma, baatandikawo Kakooza and Kawuma Advocates, ekitongole ky'abakyala. Ekitongole kyasasulwa ekitongole kya Non Performing Asset Recovery Trust (NPART), okuva mu 1997 okutuuka mu 2006 Trust lwe yaggalwawo.

Work as a judge[kyusa | edit source]

Mu 2008, ku myaka 45, Mulyagonja yalondebwa ku kkooti enkulu eya Uganda. Yaweereza mu kitundu kya Jinja okumala emyaka ebiri n'ekitundu. Oluvannyuma yaddamu n'aweebwa ekifo mu kitongole ky'eby'obusuubuzi mu kkooti enkulu, n'alinnyisibwa ku kifo ky'omumyuka w'omukulembeze w'ekitongole ky'eby'obusuubuzi mu Kkooti Enkulu, mu kiseera we yalondebwa nga Kaliisoliiso wa gavumenti, mu 2012. Mu Ogw'ekkumi 2019, yalondebwa okutuula ku kkooti ejulirwamu mu Uganda, ng'a bw'alindirira okukakasibwa Palamenti ya Uganda.

Okukola nga kaliisoliiso wa gavumenti[kyusa | edit source]

Nga 12 Ogwokuna 2012, yalondebwa nga Kaliisoliiso wa gavumenti ow'okuna, okuva mu 1986, ng'adda mu bigere bya Augustine Ruzindana, Jotham Tumwesigye, ne Faith Mwondha.

Amaka[kyusa | edit source]

Irene Mulyagonja yafumbirwa John Baptist Kakooza, era bombi balina abaana basatu.

Laba era[kyusa | edit source]

Ebyawandiikibwa[kyusa | edit source]


Enkolagana ez'ebweru[kyusa | edit source]