Jalia Bintu

Bisangiddwa ku Wikipedia

Jalia Bintu era amanyiddwa nga Bintu Lukumu Ngonzi Abwooli Jalia (yazaalibwa 20 Ogw'Okutaano 1967) mukyala munnabyabufuzi mu Uganda era omukozi wa mubantu/ omusomesa ali mu kibiina ky'eby'obufuzi ekya National Resistance Movement . Ye mubaka omukyala akiikirira disitulikiti y’e Masindi [1] abadde mu Palamenti ya Uganda ey’omunaana, ey’omwenda, n’ey’ekkumi . [2]

Gyenvudde w'eby'enjigiriza[kyusa | edit source]

Yamaliriza satifikeeti ey’obusomesa ku ddaala ery'okubiri mu1985 okuva mu National Institute of Education, Makerere University oluvannyuma n’awandiisibwa okufuna satifikeeti y’obusomesa ku ddaala ery'okusatu mu Institute of Teacher Education Kyambogo n’agimaliriza mu 1989. Yeegatta ku Institute of Teacher Education Kyambogo mu 1993 okusoma dipulooma mu by’enjigiriza. [2] Mu 1999, yamaliriza diguli esooka mu Arts okuva mu yunivasite y’e Makerere n’akomawo okukola diguli ey'okubiri mu peace and conflict studies mu 2005 okuva mu yunivasite y’emu. [2]

Obulamu obwasooka[kyusa | edit source]

Okuva mu 1986 okutuuka mu 1988, yaweereza ng’omusomesa mu ssomero lya Army Barracks Public School oluvannyuma n’ayingira mu Kamurasi Teachers College wakati wa 1993 ne 1994 ng’omusomesa. Yaliko omumyuka wa ssentebe w’ekibiina ekigatta ababaka ba Palamenti abakyala mu Uganda (2004-2006). [2] Yakolera mu Palamenti ya Uganda ng’omumyuka wa ssentebe, akakiiko akavunaanyizibwa ku bukiiko, obuvunaanyizibwa mu mateeka n’ebitongole bya gavumenti (COSASE) mu (2001-2004) era nga ye ssentebe, akakiiko akavunaanyizibwa ku mikisa egy’enkanankana (2006-2008). [2] Mu 2008, ye yali omutunuulizi mu nteeseganya z’emirembe e Juba . [2] Jalia yaweerereza ku mirimu egiwerako nga mmemba mu kakiiko k’eggwanga ak’okwebuuza ku bantu aba Fast-Tracking East African Federation (2007), kaminsona mu kakiiko ka Palamenti (2011-2013), era nga ssentebe, Parliamentarians SACCO mu Palamenti ya Uganda (2015 okutuusa kati). [2]

Emirimu gy’ebyobufuzi[kyusa | edit source]

Okuva mu 2001 n’okutuusa kati, abadde mubaka wa Palamenti mu Palamenti ya Uganda . Nga ali mu Palamenti ya Uganda, Jalia azze akola emirimu egy’enjawulo nga mmemba ku kakiiko akavunaanyizibwa ku kubala ebitabo bya gavumenti n’akakiiko akavunaanyizibwa ku by’obulimi. [2]

Ono yalondeddwa mu babaka ba Palamenti abali wansi w’ekibiina kya NRM abamaze ebisanja bibiri n’okusoba mu Palamenti kyokka ne balemererwa okufuna bendera y’ekibiina ne bawangulwa mu kulonda kwa 2021-2026. Teyasazeewo mu kulonda ebbago ly’etteeka erikyusa ssemateeka, eririmu akawaayiro akagenda okuggyawo ekkomo ku myaka. Bintu yagambye nti agenda kusooka kwebuuza ku bantu be nga tannaba kukwata kifo ku nsonga eno.

Obulamu bwe[kyusa | edit source]

Mufumbo. Ayagala nyo Okusoma ebitabo, okuzannya netball, emisinde, okuyimba n’okuzina. [2] Era ayagala nyo kuyamba abetaavu, okusimba emiti n’okutumbula okusomesa omwana omuwala. [2]

Laba ne[kyusa | edit source]

Ebiyungo eby’ebweru[kyusa | edit source]

Ebiwandiiko ebikozesebwa[kyusa | edit source]

  1. Cite error: Invalid <ref> tag; no text was provided for refs named :1
  2. 2.00 2.01 2.02 2.03 2.04 2.05 2.06 2.07 2.08 2.09 Cite error: Invalid <ref> tag; no text was provided for refs named :0