Jamila Mayanja

Bisangiddwa ku Wikipedia

Jamila Mayanja Munnayuganda munnabizinensi era Muyigiriza.

Obulamu bwe obwasooka[kyusa | edit source]

Jamila Mayanja yazaalibwa mu 1988 mu Konge, Buziga mu famire yabaana kumi na bana. Pulayimare yagisomera ku Kitante Primary school, yatuula O-level ne A-level mu 2004 ne 2006 mu Nabisunsa Girls school. Jamila alina Diguli mu kudukanya Bizinensi/okutunda (degree in Business Administration/Marketing) okuva ku Makerere University.[1]

Byafunye[kyusa | edit source]

Mayanja yetabba mu Young African Leaders Initiative [YALI] mu United States mu Gwomunaana 2015.[2] Yalondebwa mu awaadi za young Achiever's awards mu kibinja kya Bizinensi ez'Obutabaganyi (Social Entrepreneurship).[3]

Obukugu bwe[kyusa | edit source]

Jamila Mayanja alina emyaaka mingi mubumanyifu bwokukola n'ebitongole ebikola amagobba n'Obutabaganyi Obwenjawulo (Social Ventures). Bweyali akyasoma diguli ye ku MUBS yaweebwa omulimu okwegata ku ttiimu entunzi emu ku bitongole by'okumukutu (SMS companies) eby'okuntiko mu Uganda eyo jyeyafunira obumanyi nga kakensa mu kutunda.

Mu 2012 yava kumulimu gwe naatandikawo ekibiina kya Smart Girls Uganda ekibiina ky'obutabaganyi ekizaamu amaanyi era ekiwanilila abawala n'abakyaala nga kiyita ntendeka okuzimba obulamu bwaabwe n'obumanyifu mubyenfuna. Smart Girls Uganda elina pulogulaamu ezizaamu amanyi entutumufu eza bawala n'abakyaala nga the Girls with tools skilling program jyebatendekera abakyaala abato mu bikolwa ebisinga okukolebwa abasajja (male dominated non-traditional STEM skills) nga ekinonoozo ky'amasannyalaze ne ky'ekitambuzo( electrical and mechanical engineering). Paka kati nga bayita mu bawala n'ebikozesebwa bayigiriza abawala abasoba mu bikumi bisatu, bayambye okuteeka munkola kikumi mu abiri mu makolerero agaali wo era ne batandika bizinesi kkumi.

Yatandika solar recycled Smart Bag ekikwaata ku nsonga zabakyaala zonna (comprehensive menstrual hygiene kit/back packer0 ne pulogulaamu ezitegekebwa kulw'abakyala mu Uganda ezikoledwa mu matilyo wa upcycled plastic okukola obusawo obutayitamu mazzi era ne solar panel etungiddwa ku nsawo ekyaagyinga balubu ey'okujako n'okuzaako ewa abawala ekitangaala nga buzibye okusoma ebitabo byaabwe. Okutuusa kati, bagabidde abawala abato mu byaalo bya Uganda obusawo obusoba mu mitwaalo esattu.

Jamila yalikko memba wa 2015 Mandela Washington Fellowship for Young African leaders Initiative Alumni,[4] 2021 Duke- UNICEF social innovations fellow, 2022 One young world Ambassador, Award winner Education category 2022 TIAW World of Difference Awards. Jamila kati Mutendesi w'ebintu ebyetoolodde ku bantu (human centered design Coach) ne pulogulaamu ya Aga Khan foundation schools 2030 program ne Awa 2nd winner in the innovations category.

Obulamu bwe[kyusa | edit source]

Mayanja maama w'omwaana omu.

Ebijjulizidwaamu[kyusa | edit source]