Jane Frances Abodo

Bisangiddwa ku Wikipedia


 

Jane Frances Abodo Munnayuganda, Munnamateeka era Mulamuzi, nga 2 Ogwokuna 2020, yalondebwa ku kya Ssabawabi wa Gavumenti (DPP) mu Uganda. Nga tannaba kutandiko kuwereeza ku buwereeza bwaliko kati , yaweerezaako nga Omulamuzi wa Kkooti enkulu, mu Divizoni ya kooti ey'emisango, okuva mu Gwokubiri 2018 okutuusa mu Gwokuna 2020.[1]

Obuto bwe n'emisomo gye[kyusa | edit source]

Abodo yazaalibwa mu Ttunduttundu lye Karamoja, era nga mwana wa 9 mu baana 62. Alina Diguli mu mateeka okuva ku Yunivasite y'e Makerere, Yunivasite ya Gavumenti esinga obukulu n'obukadde. Era Dipuloma ey'enyongereza mu kutaputa amateeka eya Diploma in Legal Practice, nga yagifunira ku Law Development Centre, mu Kampala.Diguli ye ey'okubiri mu mateeka yamuweebwa aba Trinity College Dublin, mu Ireland.[2][3]

Emirimu gye[kyusa | edit source]

Nga Munnamateeka[kyusa | edit source]

Abodo yaweereza mu ya DPP okumala emyaka munaana nga yatandiika mu 2007. Yatandiika ng'atendekebwa ku ky'omuwaabi wa Gavumenti n'oluvanyuma n'alinyisibwa eddala olw'obuwerezabwe nga yalinyisibwa ku bwa Omuwaabi wa Gavumenti, Omuwaabi wa Gavumenti omukulu, omuyambi w'omuwaabi wa Gavumenti, omuyambi wa Ssabawaabi wa Gavumenti (DPP) okutuuka ku ddaala ly'omuyambi omukulu eri DPP. Mu kaseera kekamu yalondebwa ng'Omulamuzi wa Kkooti enkulu, Abodo yali omuyambi wa DPP eyali ku ddaala lya Siniya era ye yakulemberamu akakiiko akaali kayisa eteeka ly'okulya enguzi mu ofiisi ya DPP.

Ng'Omulamuzi[kyusa | edit source]

Mu Gwokubiri 2018, Abodo yalondebwa ng'Omulamuzi wa Kkooti Enkulu eya Uganda. Yalayizibwa nga 23 Ogwokusatu 2018, omukulembeze w'Eggwanga Yoweri Museveni wa Uganda, mu Maka g'obwa Pulezidenti e Entebbe.[4][5] Yasindikibwa mu Divizoni ekwasaganya emisango egivunanibwa Gavumenti nga yaweereza mu busobozi okutuusa lw'eyalinyisibwa mu kifo ky'alimu kati.

Oluvanyuma lw'okwekenenyezebwa Paalamenti ya Uganda, yadda mu bigerae bya Michael Chibita, eyali alondeddwa mu Kkooti ya Uganda Ensukkulumu mu Gwekkuminebiri 2019.[6]

Ebikwata ku Famire ye[kyusa | edit source]

Jane Frances Abodo mufumbo eri Achia Remegio.

Ebirala ebikulu[kyusa | edit source]

Mu 2015, Abodo yasiimibwa aba Uganda Law Society (ULS) ng'omuwaabi w'omwaka asinze. Mu mwaka ogwo, Kkooti ye yeyasinga okusingisa abantu emisango mu Ggwanga.

Egimu ku misango gy'eyakwasaganya mwalimu ogw'Eggwanga vs Godfrey Wamala Troy. Omusango ogwayindira mu kibuga ky'e Entebbe, Omulamuzi Jane Frances Abodo yasingisa Godfrey Wamala Troy omusango gw'okutta omuntu nga gwali gwekuusa ku kutemulwa kw'omuyimbi Mowzey Radio ng'amanya ge amatuuf yali Moses Ssekibogo. Omuwawabirwa yamusalira ekibonerezo ky'amyka 14 ng'ali mu nkomyo.[7]

Laba na bino[kyusa | edit source]

Ebijuliziddwamu[kyusa | edit source]

Ebijuliziddwamu eby'ebweru wa Wikipediya[kyusa | edit source]