Jump to content

Jessica Kayanja

Bisangiddwa ku Wikipedia

Jessica Kayanja Musumba omunna Uganda, , afaayo ennyo ku mbeera z'abantu nga ayita mu kuyamba abali mubwetaavu era mutandisi w'emirimu. Amanyikiddwa nnyo nga mukyaala wa Robert Kayanja, omusumba omanyikiddwa ennyo mu Uganda era omutandisi wa Miracle Centre Cathedral.[1][2][3][4][5]

Okusoma kwe

[kyusa | edit source]

Jessica yakola diguli ye esooka okuva ku Makerere University, gyeyafunira diguli mu nkolagana z'ensi mu 1992. Oluvanyuma yakola diguli ey'okubiri mu by'enjiri okuva ku Life Christian University mu 2019 era oluvanyuma yakola diguli ey'okusatu mu by'enjiri okuva ku Life Christian University mu 2021.[6]

Emirimu gye

[kyusa | edit source]

Jessica Kayanja mutandisi wa Girl Power Ministries, ekitongole ekitakola magoba ekiwagira abawala n'abakyala abato okuyita mu kuwabula n'okusomesa. Ekitongole kino kirubirira okuzimba obuvumu n'obumanyirivu mu by'obukulembeze mu bakyala abato era kiyimusiza nnyo obulamu bw'abantu bangi mu Uganda n'ewabweru wayo.[7]

Kayanja yenyigira nemumirimu gya Miracle Centre Cathedral, nga eno omwami we yemusumba omukulu era naye musumba mukkanisa eno. Nga bakolera wamu, bawadde ebitundu ebiteesobola mu Uganda omukisa gw'okusoma n'ebyobulamu. Emirimu egyenjawulo gyebakoze okusobola okukyusa embeera z'abantu mulimu okuteekesa mu nkola pulojekiti ezenjawulo, omuli okuzimba amasomero, okuwa abantu amazzi amayonjo, n'okutandikawo obulwaliro obutono mu byalo.[8][9]

Ebikwata ku bulamu bwe

[kyusa | edit source]

Jessica Kayanja mufumbo ewa Robert Kayanja, era balina abaana basatu.[10][11][12]

Obumanyifu

[kyusa | edit source]

Mu 2016, Jessica Kayanja yalondebwa aba African Gospel Media Awards ng'omu kubakyala 50 ab'okuntiko mu kanisa abakyusiza ebera z'abantu mu Afirika.[13][14]

Ebijulizidwamu

[kyusa | edit source]
  1. https://www.newvision.co.ug/articledetails/129003
  2. https://www.bukedde.co.ug/articledetails/131161
  3. "Archive copy". Archived from the original on 2023-04-11. Retrieved 2024-03-22.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  4. "Archive copy". Archived from the original on 2024-05-23. Retrieved 2024-03-22.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  5. http://mbu.ug/2021/09/17/pastor-jessica-kayanja-shares-insight-on-marriage-and-its-imperfections/
  6. https://girlpowerministries.org/jessica-kayanja/
  7. https://www.monitor.co.ug/uganda/magazines/full-woman/jessica-kayanja-advocating-for-girl-power--1527756
  8. https://girlpowerministries.org/jessica-kayanja/
  9. https://www.ugchristiannews.com/15-christian-women-whose-voices-inspire-lives-in-uganda/
  10. "Archive copy". Archived from the original on 2023-04-10. Retrieved 2024-03-22.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  11. "Archive copy". Archived from the original on 2023-11-28. Retrieved 2024-03-22.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  12. https://thetowerpost.com/2018/01/07/photos-pr-kayanja-wife-jessica-celebrate-25-years-in-marriage/
  13. "Archive copy". Archived from the original on 2023-04-11. Retrieved 2024-03-22.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  14. "Archive copy". Archived from the original on 2023-04-10. Retrieved 2024-03-22.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)