Judith Alyek

Bisangiddwa ku Wikipedia

Judith Alyek (yazaalibwa 8 Ogw'ekkumi 1971) munnabyabufuzi mu Uganda era nga ye mubaka omukyala mu disitulikiti y'e Kole mu Palamenti ya Uganda ey'ekkumi. Ono mmemba w’ekibiina kya National Resistance Movement kye yavuganya ku tikiti ye mu kulonda kwa bonna okwa 2016. Era akola nga ssentebe ku kakiiko akakola ku siriimu n’endwadde ezikwatagana nabyo.

Mu palamenti ey’ekkumi n’emu aweereza ku kakiiko akavunaanyizibwa ku mikisa egy’enkanankana.

Gyenvudde n'Okusoma[kyusa | edit source]

Judith Alyek yasomera mu pulayimale ku ssomero lya Atan Primary School mu Disitulikiti y'e Kole . Wakati wa 1987 ne 1990, yasomera mu St. Catherine SS e Lira okusoma O Levels era n’afuna UACE okuva mu Dr. Obote College, Boroboro mu 1993.

Emirimu[kyusa | edit source]

Ebyafaayo by’emirimu gya Alyek mu bujjuvu biibino:

Obwammemba[kyusa | edit source]

Akolera ku mulimu guno ogwongezeddwaako ogwa Palamenti ya Uganda:

  • Ssentebe – Akakiiko akakola ku siriimu n’endwadde ezikwatagana nabyo
  • Memba – Akakiiko k’ebyobusuubuzi
  • Memba – Akakiiko k’ebyobulamu
  • Memba – Ekibiina ekigatta abakyala mu palamenti ya Uganda (UWOPA) [1]
  • Memba – Board y’akakiiko ka Uganda Aids Commission
  • Omuyambi – WEEREZA Uganda [2]
  • Memba – Ekibiina ky’ensi yonna ekitumbula ebyobulamu n’ebyenjigiriza (IUHPE)

Okulwanirira eddembe ly’obuntu[kyusa | edit source]

Nga ssentebe w’akakiiko akavunaanyizibwa ku siriimu n’endwadde ezikwatagana nabyo, asabye abasajja okukeberebwa akawuka ka siriimu mu ngeri ey’ekiragiro. Ono era asaba abakulembeze b’ebitundu okubeera abasaale nga balaga embeera yaabwe ey’akawuka ka siriimu ng’ekyokulabirako eri abantu be bakulembera.

Mu July wa 2017, yaleeta ekiteeso ky’okussa mu nkola enkola n’amateeka gonna agakwata ku baana. Yasabye wateekebwewo ekitongole ekigenda okwanguyiza okulondoola n’okussa mu nkola eddembe ly’abaana

Oluvannyuma lw'okufa kwa Dickens Okello mu 2018, yasaba bammemba ba palamenti okuva mu kitundu ky'e Lango okwetegereza n'okuteesa ku bikolwa ebirina okukolebwa ku "Abayindi abavunaanibwa okutyoboola eddembe ly'abantu b'e Lango."

Obufumbo[kyusa | edit source]

Mu 2017, Alyek yeewozaako nti yali mufumbo eri Richard Odongo era n’awakanya ebyali byogerwa omumyuka w’omukulu w’ekika ky’ekika kye Inomo nti Ambrose Eger mu kiseera ekyo eyali omugenzi yali bba.

Laba ne[kyusa | edit source]

Ebiyungo eby’ebweru[kyusa | edit source]

Ebijuliziddwa[kyusa | edit source]