Justine Lumumba Kasule

Bisangiddwa ku Wikipedia



Justine Lumumba Kasule Munnayuganda Omusomesa ate nga Munnabyabufuzi. Ye Ssabawandiisi w'ekibiina kya National Resistance Movement, ekibiina ky'ebyobufuzi ekiri mu buyinza mu Uganda. Yalondebwa mu kifo ekyo nga 23, Ogwekkuminebiri 2014, ng'adda mu bigere bya Amama Mbabazi[1]. Nga oggyeeko ekyo, yakolako nga Omukubiriza wa gavumenti mu Kabinenti ya Uganda okuva mu gwokutaano 2011 okutuuka mu Gwekkuminebiri 2014. Justine Lumumba Kasule yaweerezaako nga Mmemba mu Paalamenti akiikirira abakyala mu Disitulikiti y'e Bugiri okuva mu 2001, okutuuka lwe yalekulira mu Gwekkuminebiri 2014[2]

Obuyigirize bwe[kyusa | edit source]

Yazaalibwa mu Disitulikiti y'e Bugiri nga 22 Ogwekkuminogumu 1972. Yasomera St. Anthony Senior Secondary school mu Nkokonjeru mu misomo gye egya O-level. Oluvanyuma y'akyusa n'adda ku St. Joseph's Secondary School e Naggalama gye yamalira emisomo gye egya A-level. Mu 1993, yafuna ekifo mu Yunivasite y'e Makerere gye yatikkirwa Diguli eya Bachelor of Arts ne Dipuloma mu byenjigiriza, mu 1996[3][4].

Emirimu gye[kyusa | edit source]

Okuva mu 1996 okutuuka mu 1997 yakolako nga omusomesa. Okuva mu 1997 okutuuka mu 1998, yali akola nga kaliisoliiso w'amasomero mu Disitulikiti gy'azaalibwa. Okuva mu 1998 okutuuka mu 2001, yakola nga Ofiisa omukulu mu Minisitule y'ebyanjigiriza. Mu 2001, yalondebwa mu Paalamenti ku ttiketi ya National Resistance Movement, okuweereza ng'omubaka akiikirira abakyala b'omu Disitulikiti y'e Bugiri. Yaddamu n'alondebwa okuva mu 2001 okutuuka mu 2014, lweyalekulira okufuuka Ssaabawandiisi w'ekibiina ky'ebyobufuzi ekiri mu buyinza ekya National Resistance Movement[5][6], yalondebwa nga Omukubiriza wa Gavumenti mu Gwokutaano 2011 ng'adda mu bigere bya John Nasasira.[7][8]

Ebirala by'oyinza okufaako[kyusa | edit source]

Mukyala mufumbo era nga muzadde wa Balenzi babiri. Mukyala mukatoliki.[9]

Laba na bino[kyusa | edit source]

  • Kabinenti ya Uganda
  • Paalamenti ya Uganda

Ebijuliziddwaamu[kyusa | edit source]

 

  1. https://ugandaradionetwork.com/a/story.php?s=69819
  2. "Archive copy". Archived from the original on 2023-10-15. Retrieved 2021-08-19.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  3. "Archive copy". Archived from the original on 2023-10-15. Retrieved 2021-08-19.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  4. "Archive copy". Archived from the original on 2023-02-10. Retrieved 2021-08-19.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  5. "Archive copy". Archived from the original on 2023-10-15. Retrieved 2021-08-19.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  6. "Archive copy". Archived from the original on 2021-09-23. Retrieved 2021-08-19.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  7. "Archive copy". Archived from the original on 2023-02-10. Retrieved 2021-08-19.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)
  8. https://www.facebook.com/notes/the-new-vision/comprehensive-list-of-new-cabinet-appointments-dropped-ministers/10150208384704078/
  9. "Archive copy". Archived from the original on 2023-02-10. Retrieved 2021-08-19.{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link)

Ebijuliziddwamu eby'ebweru[kyusa | edit source]