Kenneth Kakuru
Kenneth Kakuru yali munnamateeka munnayuganda, era eyaliko omulamuzi wa kkooti ejulirwamu eya Uganda okuva mu 2013 mu mwaka 2023 lweyafa. Kakuru yafiira mu ddwaliro lya Aga Khan e Nairobi mu Kenya era nga yafa bulwadde bwa Kookolo.[1] [2][3]Kakuru yayogerwako nga omulamuzi eyali omwesimbu era atalyanga nguzi era nga mu kukola emirimu gye yesigamanga nnyo ku kwagala kwa Katoonda. [4][5]
Ensibuko n’obuyigirize
[kyusa | edit source]Kenneth Kakuru yazaalibwa omwami Rev Eliakim Kamujanduzi n'omukyala Roza Kamujanduzi mu mwaka 1958. Kakuru nga amaliriza emisomo gya pulayimale ne siniya yeyunga ku yunivasite e Makerere, gyesomera amateeka era nattikirwa diguli ya Bachelor of Laws (LLB). Oluvannyuma yatikkirwa diguli eyookubiri mu mateeka (LLM)okuva mu yunivasite yemu. Dipuloma ye mu by'amateeka esobozesa munnamateeka okuwoza emisango mu kooti yajisomera ku ttendekero lya banna mateekea erya Law Development Center, mu kibuga kya Uganda ekikulu Kampala.. Kakuru nga ojjeeko okuba munna mateeka era yali munnabyanjigiriza nga alina ne diguli eyookubiri mu mu kuteekateekera ebyenjigiriza n'okubikulakulanya mu lungereza eyitibwa Masters of Arts in Educational Policy Planning and Development nga yajisomera ku yunivasite e Kyambogo .[6] [7]
Emirimu gye
[kyusa | edit source]Kakuru ye yali omutandisi era munnamateeka omukulu mu Kakuru & Company Advocates. kkampuni ya bannamateeka esangibwa mu Kampala nga eno yajitandikawo mu mwaka 1987. Kakuru era yamanyika nnyo nga munnamateeka omulwanirizi w'obutonde bwensi era nemukuwaaba emisango egigasa abantu bonna naye nga tebayina busobozi bugenda mu kooti. [4] Kakuru ye era ye mutandisi Greenwatch Uganda ekibiina ky'obwa nnakyewa ekirwanirira obutonde bwensi era nga yakikulembera okutuusa lweyafa ekitongole ekitali kya magoba ekirwanirira obutonde bw’ensi. [4] [8]
Nga Omulamuzi
[kyusa | edit source]Kakuru yalondebwa ku bulamuzi mu mwaka 2013 era agenda okufa mu mwaka 2023 nga obulamuzi mu kooti ejulirwamu abukoledde emyaka 10.[9] Omulamuzi Kakuru asinga kujjukirwa nnyo olwensala ye mu musango ogwawabwa mu kooti ya ssemateeka mu mwaka 2018 banna Uganda abamu bwebali bawakanya ekya palamenti okukola ennongosereza mu ssemateeka wa Uganda ezajja ekkomo ku myaka gy'omuntu okwesimbawo ku bwa Pulezidenti. Ennongosereza eno oluvannyuma yasobozesa Pulezidenti wa Uganda Yoweri Museveni okuddamu okuvuganya ku bwa Pulezidenti mu kalulu kabonna mu mwaka 2021. Kakuru mu nsala ye yayawukana ne balamuzi banne abalala bana abagamba nti ennongoosereza mu ssemateeka zaali zikoleddwa mu butuufu nga ye agamba nti ennongoosereza zali zireeteddwa mu ngeri emenya amateeka ga Uganda era navumirira nnyo ekikolwa kyamaje ga Uganda aga UPDF okuyingira mu kisenge kya Palamenti awateesezebwa okufulumya ababaka abaali batabuse olwengeri ebbago gyeryali likwatiddwamu. Kakuru era yakkaanya nebalamuzi banne ku kooti eno okugaana okukkiriza palamenti ya Uganda okweyongeza ekisanja okukijja ku myaka 5 kidde ku musanvu nga wano ye ne balamuzi banne baagamba nti palamenti teyayina buyinza kwongezayo kisanja kyayo. Ensala ya Kakuru ye nga omulamuzi omu ku bataano abawuliriza omusango teyasobola kulemesa nnongoosereza mu ssemateeka kugenda mu maaso naye yasanyusa nnyo banna Uganda naddala abo abaali ku ludda oluvuganya gavumenti ya Uganda mu budde obwo.[10][11][12][13][14] Kakuru era yali mmemba w’ekibiina ekigatta bannamateeka ekya mu Uganda ekya Uganda Law Society, ekibiina ekitaba banna mateeka mu buvanjuba bwa ssemazinga Afirika ekya East African Law Society, ekibiina ekitaba bannamateeka abalwanirizi b'obutonde bwensi ki Environmental Law Alliance Worldwide n’ekibiina ekigatta bannamateeka mu nsi yonna ki International Bar Association .
Ebirala
[kyusa | edit source]Kakuru yali kakensa ku Yunivasite ya Uganda Pentecostal University esangibwa mu Fort Portal mu Disitulikiti y'e Kabarole . Era yaliko omu ku basomesa abategeka ebibuuzo ebituulibwa abayizi ku ttendekero lya bannamateeka erya Law Development Center.
Amaka
[kyusa | edit source]Kenneth Kakuru yawasa emirundi ebiri nga okusooka mukyala we yali Winnie Ikiriza Kakuru era nga ono yafa nga 8 March 2009 era bwatoyo mu mwaka 2012 Kakuru yawa Charity Nankunda Kakuru gwe yabeera naye okutuusa okufa[15]
Laba ne
[kyusa | edit source]Ebiwandiiko ebijuliziddwa
[kyusa | edit source]- ↑ https://chimpreports.com/big-story-justice-kakuru-in-critical-condition-at-aga-khan-hospital/
- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2024-09-20. Retrieved 2024-09-20.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ https://www.kfm.co.ug/news/justice-kenneth-kakuru-dies-at-65.html
- ↑ 4.0 4.1 4.2 http://www.monitor.co.ug/artsculture/Reviews/Called-to-the-bench--here-are-the-candidates/691232-1852642-format-xhtml-7ujhk9/index.html
- ↑ https://coufamilytv.co.ug/story/katikkiro-mayiga-eulogizes-justice-kakuru
- ↑ https://aplusfuneralmgt.com/obituary/hon-justice-kenneth-kakuru-2/
- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2024-09-20. Retrieved 2024-09-20.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ http://greenwatch.or.ug/data/mreports/11/Mr.%20Kenneth%20Kakuru%20weds%20Miss.%20Charity%20Nankunda.html
- ↑ https://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1318553/museveni-names-judges
- ↑ https://ulii.org/akn/ug/judgment/ugcc/2021/8/eng@2021-03-18/source
- ↑ http://www.homelandmedia.co.ug/news/obituary-what-you-didnt-know-about-justice-kakuru-the-man-who-stole-entire-age-limit-show-with-baldness/
- ↑ https://chimpreports.com/justice-kakuru-nullifies-entire-age-limit-act-here-are-highlights-of-his-impassioned-judgment/
- ↑ https://www.monitor.co.ug/uganda/news/national/why-justice-kakuru-dissented-on-age-limit--1770694
- ↑ https://constitutionnet.org/news/ugandas-age-limit-petition-constitutional-court-demurs-substance-cautious-procedure
- ↑ http://memorialwebsites.legacy.com/irenekakuru/Subpage.aspx?mod=1