Lilian Mary Nabulime
Lilian Mary Nabulime (yazaalibwa 22 Ogwekkuminebiri 1963) munna Uganda omusomesa ku yunivasite e Makerere era awunda ebiyiiye.Ebimu ku biyiiye bye bifulumiziddwa era nebyolesebwa mu myoleso egyenjawulo mu Uganda kwossa negyo egiri ku ddaala lyensi yonna. [1]
Ebimukwatako
[kyusa | edit source]Nabulime yazaalibwa mu kibuga Kampala, mu masekkati ga Uganda mu mwaka 1963. Okusoma yakutandikira ku ssomero lya Nkoni Girls’ Primary school gye yamalira ekibiina ekyomusanvu. Oluvannyuma yagenda ku ssomero lya Makerere College School okusoma emitendera gya siniya gyombi. Oluvannyuma yeegatta ku yunivasite e Makerere era natikkirwa diguli ye esooka mu mwaka 1987. Yeeyongera okusoma era nafuna diguli eyokubiri mu misomo gyokusiiga, okukuba ebifanaanyi kwossa okuwunda ebiyiiye oku ku yinivasite e Makerere ate yyo diguli eyokusatu (PhD) najisomera ku Newcastle University natikkirwa mu mwaka 2007. [2]
Emirimu gye
[kyusa | edit source]Nabulime musomesa ku ttendekero li 'College of Engineering, Design, Art and Technology (CEDAT)' e Makerere ku yunivasite era nga yakulirako ekitongole kyabasoma okuwunda ebiyiiye. Ebiyiiye bye abikola nga akozesa ebintu ebya bulijjo nga ssabbuuni, obusengejja, engoye, endabirwamu, ebyuma, ebitundu by’emmotoka n’ebintu ebirala ebikozesebwa mu bulamu obwabulijjo okutuusa ku bantu obubaka obukwata ku nsonga ezibakwatako nga endwadde, ekikula ky’abantu, ensonga z’obutonde bwensi nokwongera okwolesa amakulu agali mu kuwunda ebiyiiye okusukka kwekyo omuntu kyalaba obulabi.[3] [4]
Byatuuseeko nobuwanguzi bwe
[kyusa | edit source]- Engule ya Commonwealth Fellowship Award e Bungereza (2012) [5]
- Robert Sterling Fellowship, Vermont Studio Center , USA (2011)
- African Stones Talk Sculpture Symposium (AST), Kenya (2011)
- British Academy International Visiting Fellowship 2009 [6]
- ROLS UK (2009 and 2008) and; Commonwealth Fellowship Award, UK (1997).
Ebiwandiiko ebikozesebwa
[kyusa | edit source]- ↑ https://cedat.mak.ac.ug/staff-profiles/lilian-mary-nabulime/
- ↑ https://research.ncl.ac.uk/sacs/projects/Nabulime.html
- ↑ http://observer.ug/lifestyle/54921-lillian-nabulime-addresses-girl-child-in-exhibition.html
- ↑ https://www.newvision.co.ug/new_vision/news/1421303/nabulime-bold-beautiful-art-lights
- ↑ http://www.monitor.co.ug/artsculture/Reviews/Using-Art-to-talk-about-HIV-AIDS/691232-1465994-liu2au/index.html
- ↑ http://devnet.org.nz/sites/default/files/DevNet%20Art2014.pdf