Linda Agnes Auma

Bisangiddwa ku Wikipedia

Linda agnes Auma munayuganda munnabyabufuzi era omubaka, akiikirira abantu ba disitulikiti y’e Lira ng’omubaka omukyala ukyala omubaka mu palamenti mu palamenti ya Uganda, gye yayingira ku tikiti ey'ataalina kibiina. Auma ye minisita omubeezi ow’ekikula ky’abantu n’eby'obuwangwa era omumyuka wa ssentebe w’olukiiko lw’abakyala mu ggwanga. [1] Era ye yali omubaka wa pulezidenti (RDC) owa disitulikiti eye Amuru.

Obulamu obwasooka n’okusoma[kyusa | edit source]

Auma muwala w'omugenzi major general David Oyite Ojok, akulira eggye lya Uganda National Liberation Army (UNLA)mu kisanja eky'okubiri eky'obwapulezidenti obwa Dr Apollo Milton Obote .

Auma yafiirwa kitaawe nga wa myaka 2. Oyite Ojok yafiira mu kabenje k'ennyonyi nnamunkanga mu 1983 ng'agenda mu misoni okwekenneenya enkulaakulana y'ekibiina ky'abayeekera abayeekera, National Liberation Army (NRA) ekyakulemberwa Yoweri Kaguta Museveni, oluvannyuma eyawamba obuyinza mu 1986.

Auma era yafiirwa nnyina nga wa myaaka 8, ekyamuleka nga mulekwa ajudde era obuto bwe n’obulamu bwe bwalimu obwavu n’ennaku. Auma yasoma ng’ayambibwako bamuzira kisa, era Yazaala muwala we omubereberye ku myaka 16.

Ku myaka 26 egy’obukulu. Auma nga maama wa baana 2 yaddayo okusoma okumaliriza emisomo gye egya O'level era ebisale by'essomero byasasulwa pulezidenti Yoweri Museveni, eyali omulabe wa kitaawe.

Oluvannyuma yakola kkoosi ya satifikeeti mu kubala ebitabo n’afuna dipulooma mu by’obusuubuzi n’oluvannyuma n’akola diguli esooka mu by’obusuubuzi.

Emirimu[kyusa | edit source]

Auma yayingira eby'obufuzi ng’avuganya n’afuuka ssentebe w’abavubuka mu munisipaali y’e Lira wansi w’olukiiko lw’abavubuka mu ggwanga, oluvannyuma mu 2006 yalondebwa ku bwakansala w’abavubuka ku divizoni y’amasekkati mu lukiiko lwa munisipaali y’e Lira.

Mu 2016 yanoonya ekifo ky’omubaka omukyala owa munisipaali y’e Lira ku tikiti ya National Resistance Movement kyokka n’awangulwa mu kamyuufu. Joyce Ongom owa Uganda People's Congress (UPC) yali wakuwangula ekifo ky'omubaka wa Palamenti.

Oluvannyuma lw’okulonda kwa Uganda okwa 2016, Auma yalondebwa pulezidenti Museveni ku bwa RDC wa disitulikiti y’e Amuru.

Mu kudduka mu kulonda kwa Uganda okwa 2021, Auma yawangula Florence Angina mu kalulu ka pulayimale mu kibiina kya NRM, kyokka obuwanguzi bwe bwasazibwamu oluvannyuma lw’okuddamu okubala obululu.

Florence Angina yalangirirwa ku bwa NRM bendera ku kifo ky’omukyala omubaka wa Palamenti e Lira, kino kyawalirizza Auma okwesimbawo ku bwannamunigina era okukkakkana nga ye muwanguzi mu kulonda kwa bonna.

Mu palamenti ya Uganda, Auma aweereza ku kakiiko akavunaanyizibwa ku butonde bw’ensi n’eby'obugagga eby’omu ttaka. Aweereza n’omuwandiisi w’okubunyisa amawulire mu kibiina ekigatta ababaka ba Palamenti y’abakyala ekya Uganda Women Parliamentary Association (UWOPA).

Obulamu bubwe[kyusa | edit source]

Muwala wa Aumas omukulu Shakila Among Meenyi yatikkirwa engule ya Miss Lira mu 2017. Era ye yali ffeesi ya Lango Cultural Heritage era mu 2020 yatikkirwa engule ya Miss Tourism Northern Region. Shakila Among era akiikirira abavubuka b’e Lira ku city council y’e Lira.

Ebijuliziddwa[kyusa | edit source]

  1. Cite error: Invalid <ref> tag; no text was provided for refs named :0