Jump to content

Lukia Isanga Nakadama agamba nti

Bisangiddwa ku Wikipedia
Nakadama Rukia Isanga.

Lukia Isanga Nakadama, oluusi nga bawandiikibwa Rukia Isanga Nakadama, munnayuganda musuubuzi, musomesa era munnabyabufuzi. Mu kiseera kino ye mumyuka wa Ssaabaminisita wa Uganda ow'okusatu era Minisita atalina kifo kyankalakkalira, okuva nga 9 June 2021.

Ekyo nga tannatuuka, yaliko Minisita omubeezi ow’ekikula ky’abantu n’eby'obuwangwa mu kabineti ya Uganda . Yalondebwa ku kifo ekyo mu 2006. Mu nkyukakyuka ya kabineti eya 16 February 2009, n’eya 27 May 2011, yasigaza ekifo kino ekya kabineti. Era ye mubaka omulonde mu Palamenti (MP) ku kifo ky'omubaka w'abakyala mu disitulikiti y'e Mayuge . Azzenga addamu okulondebwa mu kifo ekyo okuva mu 2001.

Gyenvudde n'Okusoma

[kyusa | edit source]

Isanga Nakadama yazaalibwa nga 2 Febwali 1970. Yakulira mu maka agalimu abakyala abangi, nga wa mukaaga ku baana 12 aba nnyina. Kitaawe yalina abakyala abalala babiri. Yasomera mu Nabisunsa Girls School, essomero lya gavumenti, erisangibwa mu Nakawa Division mu bukiikakkono bw’obuvanjuba bwa Kampala, ekibuga ekikulu ekya Uganda . Yafuna satifikeeti mu by’obusomesa, nga 1999 tannatuuka, okuva mu ttendekero ly’eby'enjigiriza ly’abasomesa e Kyambogo (ITEK), kati eri mu yunivasite y’e Kyambogo, emu ku yunivasite za gavumenti munaana mu Uganda, okutuuka mu February 2015. Alina ne dipulooma mu Customs Clearing & Forwarding, gye yafuna mu 2000. Dipulooma ye mu by’enjigiriza yafuna mu 2004, okuva mu yunivasite y’Obusiraamu mu Uganda (IUIU). Era alina diguli ya Bachelor of Arts mu Public Administration okuva mu IUIU.

Emirimu

[kyusa | edit source]

Nga 2001 tannatuuka, yakolako ng’omusuubuzi era ng’omusomesa mu ssomero erya Hassantourabi mu Disitulikiti y’e Mayuge. Yasooka kulondebwa mu Palamenti mu 2001, ng’omubaka w'abakyala mu disitulikiti gy'asibuka eye Mayuge . Mu 2006, yaddamu okulondebwa okusigala ng'akiikirira ekitundu kye kimu. Yalondebwa ku kifo kya kabineti ky'alimu kati mu 2006.

Ebimukwatako

[kyusa | edit source]

Rukia Nakadama wa nzikiriza y’Obusiraamu . Mufumbo eri Hajji Daudi Isanga. Ono wa kibiina ky’eby'obufuzi ekya National Resistance Movement .

Laba ne

[kyusa | edit source]

Ebijuliziddwa

[kyusa | edit source]

Ebiyungo eby’ebweru

[kyusa | edit source]