Maria Kiwanuka
Maria Kiwanuka (yazaalibwa 12 Ogw'okutaano,1955) munabyanfuna, munabizinensi era munabyabufuzi eyaweerezako nga minisita ow'eby'ensimbi mu kabineeti ya Uganda okuva nga 27 Ogw'okutaano 2011 okutuuka nga 1 Ogw'okusatu 2015.Okuva mu 2015 abadde muwabuzi omukulu owa Pulezidenti wa Uganda ku nsonga z’eby'ensimbi, ng'avunaanyizibwa ku Bretton Woods Institutions.
Ebikulu ebimukwatako
[kyusa | edit source]Nga tannalondebwa ku kabineti, yaliko avunaanyizibwa ebiweerezebwa ku Radio One ne ginaayo Radio Two emanyiddwa nga Akaboozi FM, mu Uganda, nga famire ye y'esinzaamu emigabo emingi. Era yaliko omukiise ku lukiiko olufuzi olwa Aga Khan Foundation (East Africa), Nabagereka Development Trust, Nkumba University, Uganda Development Bank ne Stanbic Bank Uganda Limited .
Yaweereza ku lukiiko olufuzi olwa Stanbic Bank Uganda Limited okuva mu 2009 okutuuka mu 2011. Oluvannyuma lw'okuweereza nga ssentebe w'olukiiko olufuzi mu United Bank for Africa Uganda Limited, okumala emyaka egiwera, Maria yalondebwa ku lukiiko olufuzi olwa Standard Chartered Uganda mu May 2021.
Gyenvudde n'Okusoma
[kyusa | edit source]Yazaalibwa mu Kampala, ekibuga ekikulu ekya Uganda nga 12 Ogw'okutaano 1955. Maria Kiwanuka yasomera mu Gayaza High School, essomero lya siniya ery'abawala bokka, erisangibwa 26 kilometres (16 mi), ku luguudo, mu bukiikakkono bw’obuvanjuba bwa Kampala, yatikkirwa mu 1973. Mu 1974 yayingira yunivasite y’e Makerere, ettendekero lya matendekero aga waggulu erisinga obukadde mu Uganda. Yatikkirwa mu 1977 n’afuna diguli esooka mu by'obusuubuzi ( BCom ). Oluvannyuma yayongera ku misomo gye London Business School mu Bungereza, n’afuna diguli ey'okubiri mu Business Administration (MBA).
Obumanyirivu mu mirimu
[kyusa | edit source]Okutandika nga mu mwaka gwa 1980, yakolera emyaka egisoba mu kkumi ne Banka y’ensi yonna, nga munabyanfuna era omukugu mu by’ensimbi mu bitundu by’obuvanjuba bwa Asia n’obugwanjuba bwa Afrika. Okusingira ddala yakola ku pulojekiti mu Burma, Malawi, Swaziland ne Uganda . Bwe yava mu Bbanka y’ensi yonna, yaddayo mu Uganda gy’azaalwa n’agenda mu bizinensi ez’obwannannyini. Ng’ali wamu n’ab’omu maka ge, yatandikawo bizinensi mu by’okuweereza ku mpewo, okukuba ebitabo, eby’amayumba n'ettaka era ey'ebuzibwako ku by'enfuna. Abadde muwabuzi w'eby'ensimbi eri Nabagereka wa Bugandaokuva ku ntandikwa y’emyaka gya 2000. Mu nkyukakyuka mu kabineti nga 1 Ogw'okusatu 2015 yagyibwa ku kabineti n’alondebwa ng'omuwabuzi wa Pulezidenti omukulu ku by’ensimbi.
Emyaka mingi aweereza nga dayirekita atalina kifo kyankalakalira ku lukiiko olufuzi mu Stanbic Bank Uganda Limited, Agha Khan Foundation, Nkumba University ne Uganda Development Bank. Okuva lwe yava mu kabineti ya Uganda mu 2015, abadde ssentebe w’olukiiko olufuzi olwa United Bank for Africa Uganda Limited. Okuva mu Ogw'okutaano 2022, atuula ku lukiiko olufuzi olwa Standard Chartered Uganda, okuva mu Ogw'okutaano 2021. Mu Ogw'okutaano 2022, Maria Kiwanuka yalondebwa okuba ssentebe w’olukiiko olufuzi mu kkampuni ya Airtel Mobile Commerce Uganda Limited (AMCUL), ekolagana ne Airtel Uganda era nga y'evunaanyizibwa ku kkampuni ya Airtel Money Uganda .
Ebimukwatako
[kyusa | edit source]Mufumbo ne Mohan Kiwanuka, akulira enzirukanya y'emirimu mu kkampuni ya Oscar Industries Limited . Mu 2007, ng’ebula emyaka ena alondebwa ku bwaminisita w’eby'ensimbi, bba yawandiikibwa ng’omu ku bannagagga mu Uganda.