Mary Begumisa

Bisangiddwa ku Wikipedia

Mary Begumisa (yazaalibwa mu 1976) munnabyabufuzi mu Uganda era omukyala omubaka wa palamenti. Ofiisi gye yafuna oluvannyuma lw’okulondebwa ng’Omubaka omukyala owa disitulikiti y’e Sembabule mu kulonda kwa Uganda okwa 2021 mu January.

Ono mmemba w’ekibiina ky’ebyobufuzi ekiri mu buyinza ekya National Resistance Movement .

Okusoma[kyusa | edit source]

Mary yamaliriza emisomo gye egya pulayimale (PLE) mu Lwebitakuli primary school, n’amaliriza Uganda Certificate of Education (UCE) mu by’enjigiriza ebya wansi ku Bukulula secondary school e Masaka . Essomero gye yamalira eddaala elya Uganda Advanced Certification of Education (UACE). Begumisa yatikkirwa mu yunivasite y'e Makerere n'afuna diguli esooka mu by'obulamu .

Omulimu[kyusa | edit source]

Omulimu gwa Mary gwatandika okutambula mu 2000, oluvannyuma lw’okulondebwa ng'akulira e Ggombolola mu disitulikiti y’e Rakai . Oluvannyuma lw'okutikkirwa mu yunivasite y'e Makerere mu 2003, yalekulira n'asalawo okwenyigira mu bizinensi y'okulambulza n'okutambuza ng'ali ne bba Wilbur Begumisa era oluvannyuma ne batandikawo ekibiina kya Gorilla Trek Africa Adventure Safaris

Laba ne[kyusa | edit source]

Ebiwandiiko ebikozesebwa[kyusa | edit source]

Ebiyungo eby’ebweru[kyusa | edit source]