Maurice Peter Kagimu Kiwanuka
Maurice Peter Kagimu Kiwanuka munnabyabufuzi mu Uganda. Ye mutabani w'eyali ssaabalamuzi omugenzi Benedicto Kiwanuka.[1] Yali mukiise mu paalamenti ya konsituwense y'e Bukomansimbi disitulikiti y'e Masaka. Kino kyaliwo nga disitulikiti y'e Kalungu, Lwengo, ne Bukomansimbi District tezinnaba kususumbulwa ku disitulikiti y'e Masaka enkadde.
Obuvo n'ebyensoma bye
[kyusa | edit source]Kagimu yazaalibwa Benedicto Kiwanuka Maxensia Zalwango nga 22 Mutunda 1961,[2] mu ddwaliro ly'eNakasero mu Kampala, Uganda, era yali wa munaana mu baana bebaazaala.[3]yasomera ku Mugwanya Preparatory School e Kabojja mu 1967 okuva mu kibiina ekisooka okutuuka mu kyokuna.[4] wabula ebibuuzo ebyakamalirizo eby'ekibiina ekyomusanvu yabituulira ku Savio Junior School e Kisubi mu 1971.
Yawandiisibwa mu Nyenga Minor Seminary mu 1974, mu Buikwe okuva mu siniya esooka okutuuka mu y'okubiri, era oluvanyuma yeegatta ku Kisubi Seminary okuva mu siniya eyookusatu okutuuka mu yookuna. Yeegatta ku St. Henry’s College Kitovu mu1978, wabula olw'olutalo lwa 1979,[5] yamalayo omwaka gumu gwokka oluvannyuma ne yeegatta ku St. Mary’s College Kisubi okumaliriza siniya eyoomukaaga.[4]
Nga amalirizza okusoma siniya, Kagimu yafiirwa ekiruubirirwa kye eky'okusoma obusaaseeredooti kye yava asoma asoma diguli mu by'enfuna e Makerere University wakati wa 1980 okutuusa 1983[4] ne diguli mu bwekenneenyi bwabantu n'embeera zaabwe (philosophy) gye yasomera mu Yunivasite ya Urbanian mu Roma e Italy mu mwaka gwa 1984-1987.[4] Alina ne diguli eyookubiri mu by'enzirukanya ya bizinensi gye yafunira mu University of Liverpool, mu U.K.[4]
Emirimo gye
[kyusa | edit source]Nga avudde e Makerere University, yaweebwa omulimo mu banka ya Uganda nga akulira ekiwaayi ekikolagana n'ebyenvungisa ya sente engwira ne mu National Housing and Construction Corporation nga senkula wabula oluvannyuma yaddayo mu busaaseredooti. Oluvannyuma yeegatta ku baminsani b'e Verona abaali mu disitulikiti ye Gulu gye yalabira ensibuko y'omumpembe Kony n'obulumbaganyi bwe obwasooka we yabeerera ku Alokolum Major Seminary mu 1987[4]. Mu 1989, Kagimu yayingira ebyobufuzi[4] Yawangula ekifo ky'okukiikirira abakiise b'essaza ly'e Bukomansimbi ne yeegatta ku BannaUganda abalala mu kubaga Ssemateega w'eggwanga Uganda empya.[4] Mu mwaka gwa 2002 okutuusa mu 2006, Yali mukiise mu Paalamenti ya Ugandan okukiikirira konsituwensi y'e Bukomansimbi.[4] Yaweerezaako nga minisita omubeezi alondoola enkola n'enzirukanya y'emirimu mu ofiisi ya pulezidenti okuva 2001 okutuusa 2006.[4]
Yaweerezaako nga omukiise wa Uganda e Switzerland era yakola nga omukwanaganya ow'enkalakkalira wa Uganda mu kitongole kya United Nations, ekya World Trade Organisation n'ebitongole by'ensi yonna nga birina obusinziiro mu Geneva. Yaweerezaako nga omubaka wa Uganda e Switzerland okutuuka mu January wa 2016 bwe yakyusibwa nazziibwa e Nigeria.[6][4]
Ebijuliziddwa
[kyusa | edit source]- ↑ https://www.ugandainfo.com/uganda/government/presidents/benedicto-kiwanuka/
- ↑ https://www.ungeneva.org/en/news-media/presentation-of-credentials/2009/07/new-permanent-representative-uganda-presents
- ↑ https://www.monitor.co.ug/uganda/magazines/life/kagimu-kiwanuka-sought-priesthood-but-found-politics-1680308
- ↑ 4.00 4.01 4.02 4.03 4.04 4.05 4.06 4.07 4.08 4.09 4.10
{{cite web}}
: Empty citation (help) - ↑ https://www.monitor.co.ug/uganda/magazines/people-power/war-in-uganda-coverage-of-the-1979-liberation-war-1697838
- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2022-09-24. Retrieved 2022-09-24.
{{cite web}}
: CS1 maint: archived copy as title (link)